TOP

Ebipya ebizuuse ku Aine omukuumi wa Mbabazi

By Joseph Makumbi

Added 9th January 2016

Aine okutandika okumanyika yamala kulwana n’abaserikale bwe yali ne Mbabazi e Jinja mu September 2015.

Aine1 703x422

Aine atamanyiddwaako mayitire

Christopher Aine, omukuumi wa Amama Mbabazi anoonyezebwa yazaalibwa Lt. Col. Julius Ayine omu ku balwanyi ba NRA 41 abaasooka eyafa mu 1993. Amaka gaabwe gali Kashaka mu Mbarara kyokka nnyina ye Nnaalongo Janiffer Namuleme abeera e Semuto.

Aine yazaalibwa mu 1983 ne mulongo munne Ritah Babirye Aine abeera Katooke - Kawempe. Pulayimale yagitandikira Kabwohe mu Nganwa Junior School n’adda mu Lake Mburo SS Kanyaryeru.

Yatuula S6 mu Ngabo Academy e Mbarara gye yava okuyingira Yunivasite ya KIU okusoma amateeka.

Yasomako emyaka ebiri n’ayingira amagye agakuuma Pulezidenti. Okugayingira kyakolebwako Gen. Salim Saleh eyaweerera Aine ne baganda be.

Babirye yategeezezza Bukedde nti emirimu mu magye tegyatambulira Aine bulungi. Oluvannyuma lw’emyaka esatu yawandiikira Gen. Aronda Nyakairima ng’asaba okuwummula era n’akkirizibwa. Amerika yamuwa omulimu gw’obuserikale n’asindikibwa mu Latin Amerika.

Bwe yakomawo yadda e Kashaka gye yatandika ebbaala n’asimba n’olusuku mw’aggya amatooke g’atunda n’okugasuubula ku balimi banne n’agaleeta e Kampala. Yaggulawo edduuka ly’engoye ku kizimbve kya Ham Shopping Grounds e Nakivubo.

Muganda we ayitibwa Michael Mubiru atunda sipeeya mu Ndeba. Yatutegeezezza nti, famire yaabwe bawagizi ba NRM kyokka Aine yasalawo kugenda ne Mbabazi.

 nnyumba ine kwasula e yanja awali omuzigo omuggule Ennyumba Aine kw’asula e Kyanja (awali omuzigo omuggule)

 

Okutandika okumanyika

Aine yamala kulwana n’abaserikale bwe yali ne Mbabazi e Jinja mu September 2015.
Nga December 14, 2015 emmotoka Super Custom yakeera wuwe e Kyanja mu Walufumbe Zooni gy’abeera ne muganzi we Josephine Aguti.

Abasajja nga 10, baava mu mmotoka ne beeyawulamu ababiri ne bayingira ekikomera, abalala ne betooloola ekikomera obutamuwa mukisa kudduka.

Baliraanwa baategeezezza nti, abasajja ababiri abaayingira baamala ekiseera nga bakonkona n’okuyita Aine n’agaana okubaggulira. Oluvannyuma yaggulawo ne bamuyingiza mu mmotoka ne bamutwala. Olwo lwe baasembayo okumulaba.

Aba famire baagambye nti, batunuulidde poliisi okubawa omuntu waabwe. Ku Lwokuna baakedde ku ggwanika e Mulago ne basooka bagaanibwa okuyingira ate, poliisi bwe yazze ne babakkiriza era baabalaze emirambo mukaaga gyokka.

Oluvannyuma poliisi yabatutte e Kireka eno Babirye, Moses Musasizi, Mubiru ne kojja waabwe baggyiddwaako sitatimenti. Baasiibye Kireka okutuusa akawungeezi.
Mubiru yagambye nti, Aine okubula tekisaana kuyingizibwamu byabufuzi. Bw’aba yafa batuwe omulambo tuguziike oba gy’ali atwalibwe mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...