TOP

Yaaya azadde omwana mu bboosi we n’amusuula mu kaabuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2016

Nuliati Nabaweesi 18, agamba nti olumu yali ali mu kisenge kye nga yeebase, bboosi we n’amusooberera n’amukozesa era kirabika ku lunaku olwo lwe yafuna olubuto n’atakimanya.Yannyonnyodde poliisi nti abaddenga afunamu obugonvugonvu ebiseera ebimu naye nga takimanyiiko nti alina olubuto.

Mukazi 703x422

Omwana eyazaaliddwa. Ku ddyo ye Yaaya Nuliat Nabaweesi

YAAYA bwe yazadde omwana, yagumye n’amusuula mu kaabuyonjo n’alowooza nti yabadde amusse.

Oluvannyuma poliisi yamukutte n’alaajana nti, “Ekituufu omwana wa bboosi nga mbadde ntya mmami (muka bboosi) okummanya”, omuwala bwe yategeezezza.

Bino byabadde ku kyalo Bulamu okumpi ne Kasangati ku lw’e Gayaza mu maka ga Mw. Geofrey Kaweesi.

Kaweesi yannyonnyodde nti yakomyewo ku Lwokuna ekiro ku ssaawa nga ttaano ng’atamidde n’ayingiza mmotoka mu ggalagi nti kyokka yabadde ava mu ggalagi n’ayita ku mulyango oguyingira mu kisenge ky’omukozi kwe kulinnya mu bintu ebyabadde biseerera yagenze okwetegereza nga musaayi.

Yabuuzizza omukozi omusaayi gye gwabadde guvudde n’amutegeeza nti yabadde afunyeemu obuzibuzibu mu lubuto.

Kaweesi agamba nti yagenze emmanju mu kaabuyonjo kyokka yabadde yaakatuukayo n’awulira omwana akaabira wansi mu kaabuyonjo kwe kufuluma mangu n’akubira poliisi ezikiriza omuliro eyazze mu bwangu abaserikale ne bayanguwa okunnyululayo omwana.

Baamututte e Mulago gye baatandikiddewo okumujjanjaba embeera n’egenda ng’etereera.Kaweesi agamba nti omukozi ono babadde naye ekiseera kitono kyokka tebamulabangako na lubuto lwonna era kyamwewuunyisizza okuzaala omwana n’amusuula mu kaabuyonjo.

Omukozi annyonnyola

Nuliati Nabaweesi 18, agamba nti olumu yali ali mu kisenge kye nga yeebase, bboosi we n’amusooberera n’amukozesa era kirabika ku lunaku olwo lwe yafuna olubuto n’atakimanya.Yannyonnyodde poliisi nti abaddenga afunamu obugonvugonvu ebiseera ebimu naye nga takimanyiiko nti alina olubuto.

Agamba nti olw’okuba gwe mulundi gwe ogusooka okubeera olubuto, obubonero bwalwo bwonna abadde tabumanyi ne lutuuka okukula nga tamanyi nti mweruli.Agamba nti ekiseera kyatuuse n’awulira obulumi nga bususse ate nga mu nnyumba yabaddemu omu.

Yawulidde ng’ayagala okugenda emmanju era bwe yagenze mu kaabuyonjo okusitama yagenze okuwulira ng’omwana avaayo ng’agwa mu kaabuyonjo era ng’akaaba.

Yatidde nnyo kubanga yabadde takimanyi nti alina omwana. Yasazeewo omwana ono okumuleka mu kaabuyonjo afiiremu kubanga yabadde akimanyi nti omuntu yekka gwe yali yeegasseeko naye ye bboosi gwe yabadde tayinza kugamba bya mwana ng’atya mukama we muka nnyinimu eyamuleeta ku mulimu.

Mukyala Kaweesi, Lydia Nalukwago agamba nti bino we byagwiriddewo teyabadde waka, yabadde agenze waabwe kuziika nti kyokka yabadde tannava waka, omuwala ono yamutegeezezza nga bw’awulira obulumi mu lubuto kwe kumulagira anoge ku mujaaja anyweko nga bw’amuleetera amakerenda amire.

Poliisi oluvannyuma yaggye omuwala mu kaduukulu ka poliisi n’emutwala mu ddwaaliro okuyonsa ku mwana we ng’abasawo bwe bagenda mu maaso n’okumujjanjaba.

Wabula omu ku bapoliisi e Mulago yagambye nti beekengedde omuwala ono bwe baamuwadde omwana we amuyonse kyokka ne bamusanga ng’alinga agezaako okumutulugunya ekiraga nti akyalina ekigendererwa eky’okumutta nti era bamutambulizaako nnyo amaaso okulaba nti tatuusa bulabe ku mwana.

Poliisi yategeezezza nti egenda kulinda omwana ono aweze emyezi ebiri egy’obukulu bamuggyeko omusaayi ne Kaweesi bamuggyeko omusaayi gukeberebwe okukakasa oba ye kitaawe wa bebi omutuufu ng’omukozi bw’alumiriza.

Wabula Kaweesi yagambye nti ebigambo by’omuwala by’ayogera talina ky’abimanyiiko kubanga awaka abadde yaakamalawo ekiseera kitono noolwekyo by’ayogerako tabimanyi era tebikwatagana na kiseera ky’amaze ng’abakolera.

Omuwala ono yagguddwaako omusango gw’okugezaako okutta omuntu oguli ku fayiro nnamba 02/08/01/2016 ku poliisi y’e Kasangati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...