TOP

Ssente z’anaazuula Aine ziweze obukadde 65

By Joseph Makumbi

Added 12th January 2016

FAMIRE ya Christopher Aine, kanyama wa John Patrick Amama Mbabazi anoonyezebwa n’abavubuka abeegattira mu bibiina eby’enjawulo bataddewo obukadde 45 eri oyo anaabawa amawulire agakwata ku muntu waabwe.

Aine1 703x422

Christopher Aine

FAMIRE ya Christopher Aine, kanyama wa John Patrick Amama Mbabazi anoonyezebwa n’abavubuka abeegattira mu bibiina eby’enjawulo bataddewo obukadde 45 eri oyo anaabawa amawulire agakwata ku muntu waabwe.

 

Duncan Muramuzi, kitaawe wa Aine omuto yategeezezza eggulo mu lukiiko lwa bannamawulire lwe baatuzizza ku Lumumba Avenue mu maaso ga Padre Pio House nti, beetaaga omuntu waabwe nga mufu oba mulamu.

 

Bwaba yafa bamuziike ate bw’aba mulamu bamuyozeeyoze. Muramuzi yabadde n’abavubuka ba ‘Sauti Ya Vijana’, (Jobless Brotherhood) ekikulemberwa Norman Tumuhimbise ne Uganda Poor Youth Movement ekikulemberwa Zahid Ssempala.

 

Bano baakubisizza ekipande ekinene kwe bawandiise nti; ‘Hunt for Aine begins now’ ebivvuunulwa nti okuyigga Aine kutandika

kati era ne bategeeza nti bataddewo obukadde 45 nga zaakuweebwa omuntu yenna anaabawa amawulire agagenda okubatuusa ku Aine.

 

Kati ziba ziweze obukadde 65 obuteereddwaawo eri omuntu anaabawa amawulire ku Aine kuba poliisi ye yasooka okuteekawo obukadde 20 mu kkaasi.

 

Bano era baataddewo n’ekiwandiiko kye bagamba nti bagenda kukitambuza eggwanga lyonna nga banoonya emikono gy’abantu akakadde kamu egibasemba okutwala ekiwandiiko omuli okwemulugunya ku kubula kwa Aine ewa sipiika wa Palamenti abayambe.

 

Kino kiddiridde olukiiko lwa famire olwatudde e Kashaka mu ggombolola y’e Bubale e Mbarara nnyina wa Aine, Nnaalongo Jenifer

Namuleme n’ategeeza nti ayagala kusisinkana Museveni ku nsonga z’omwana we.

 

Yakukkulumidde Mbabazi obutafaayo ku nsonga za Aine wadde nga y’abadde akulira abamukuuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...

Sese 220x290

Karungi nzaalira omusika tweyanjule...

ALEX Divo ne Lailah Karungi ab’e Ndejje Lubugumu bamaze emyaka ena nga baagalana naye ng’omukwano gwabwe bagamba...