TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Babasanze bamansa eddagala mu ntebe y'omulamuzi okuloga omusango ne babagatta ku basibe

Babasanze bamansa eddagala mu ntebe y'omulamuzi okuloga omusango ne babagatta ku basibe

By Sarah Zawedde

Added 15th January 2016

Alice Nalule 38, ow’omu Ssimbwa Zooni e Bulenga ne Issa Kiwanuka 80, ow’e Busimbi mu Mityana, be baakwatiddwa nga bamansa ebiragala ku ntebe y’omulamuzi James Aremye awuliriza omusango gw’okufera abantu oguvunaanwa Zakarias Ssekiziyivu (bba wa Nalule).

Mansa1 703x422

Omusawo Kiwanuka ne Nalulu mu kaguli ka kkooti.

KATEMBA yabadde mu kkooti ya Buganda Road mu Kampala, omukazi eyazze okuwulira omusango gwa bba bwe yakwatiddwa ne musajjamukulu nga bamansa eddagala mu ntebe y’omulamuzi ne bategeeza nti baabadde basiba musango.

Alice Nalule 38, ow’omu Ssimbwa Zooni e Bulenga ne Issa Kiwanuka 80, ow’e Busimbi mu Mityana, be baakwatiddwa nga bamansa ebiragala ku ntebe y’omulamuzi James Aremye awuliriza omusango gw’okufera abantu oguvunaanwa Zakarias Ssekiziyivu (bba wa Nalule).

Ssekiziyivu avunaanwa emisango 153 nga gyonna gya kufera bantu n’abaggyako ssente ng’abasuubizza okuzizaazaamu amagoba.

Kigambibwa nti, ku lunaku lwe olw’okudda mu kkooti, Nalule, eyabadde n’ensawo y’ekikyala, yakedde nnyo n’omusawo Kiwanuka mu kkooti ya Buganda Road era ne bakkirizibwa okutuula munda kubanga omulamuzi yabadde tannajja.

Nga wayise akabanga katono, Nalule ne Kiwanuka baalabiddwa nga bakukutira okumpi n’entebe y’omulamuzi era omuserikale eyagenze okwetegereza yasanze mulimu ebiragala ebimansiddwaamu.

Yababuuzizza kye babadde bakola ew’omulamuzi ne beegaana nti, tewali.
Omuserikale yayazizza ensawo ya Nalule n’asangamu ebiragala ebyabadde mu ntebe y’omulamuzi.

Baatwaliddwa ku poliisi ya CPS ne baggulwako ogw’okusaalimbira mu kkooti.

BADDA MU KKOOTI

Nga basimbiddwa mu kkooti y’emu eya Buganda Road ku Lwokusatu, Nalule ne Kiwanuka beegaanyi omusango gw’okusaalimba ne basaba omulamuzi Aremye akkirize beeyimirirwe.

Wabula akulira oludda oluwaabi, Patrick Kintho, yasabye omulamuzi abagaane okweyimirirwa ng’agamba nti abantu babiri ku basatu be baalese okubeeyimirira tebalina bisaanyizo. Omu yabadde kitaawe wa Nalule, Aziz Busolo Sekiwumu 90, ow’e Kasangati ne Zaina Najjuuko ne Ashraf Serunkuuma (baganda ba Nalule).

Sekiwumu yagaaniddwa nti, mukadde nnyo ate Najjuuko yabadde talina biwandiiko bituufu bimwogerwako. Wano omulamuzi we yasaliddewo bazzibwe ku limanda e Luzira okutuusa nga January 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabugingonakiwala4 220x290

Nakiwala atadde ku Bugingo obukwakkulizo...

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atadde ku Paasita Aloysius Bugingo obukwakkulizo ku ngeri...

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...

Funanga 220x290

Abaserikale abayambye Amerika okufuna...

OBUMU ku bujulizi Abamerika bwe beesigamyeko okussa nnatti ku Gen. Kale Kayihura, baabuggye mu lipoota eyakolebwa...

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...