TOP

Ebituli mu ddiiru Kayongo gye yakoze n’Omuzungu

By Ahmed Mukiibi

Added 23rd January 2016

Kkampuni eyatondeddwaawo eyitibwa ‘SSETZA Holdings Ltd’ ng'eno ye yakoze ddiiru ne Bbanka y'omu Zambia eyitibwa Swiss Charge okubawola doola 215, (mu za Uganda obuwumbi 730) okuzimba akatale akali mu mutindo ogw’ensi yonna.

Owino 703x422

Abakozi ba Bukedde lwe baali mu katale ka Owino gye buvuddeko.

EBIPYA bizuuse ku kkampuni eyatondeddwaawo wakati w'Omuzungu enzaalwa ya Canada n'abamu ku bakulira akatale ka St. Balikuddembe nga biraga nti, abasuubuuzi abasoba mu 10,000 abakolera mu katale kano bandiba nga bakuuma lubugo nga lubaale mubbe.

Kkampuni eyatondeddwaawo eyitibwa ‘SSETZA Holdings Ltd’ ng'eno ye yakoze ddiiru ne Bbanka y'omu Zambia eyitibwa Swiss Charge okubawola doola 215, (mu za Uganda obuwumbi 730) okuzimba akatale akali mu mutindo ogw’ensi yonna.

Kyokka okunoonyereza Bukedde kwe yakoze mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB) kuzudde nti kkampuni ya SSETZA Holdings Ltd, ya bantu basatu bokka.

Okusinziira ku kiwandiiko ekiyitibwa ‘Company Form No7’, ekiraga bannannyini kkampuni ne kalonda abakwatako yenna ye;

1 Kayongo Godfrey Nkajja eyazaalibwa nga October 8, 1952 ng'ali ku ndagiriro P.O. Box 10650 Kampala.

2 Gregory Stinson eyazaalibwa nga May 11, 1956 ng'ali ku ndagiriro P.O. Box 6161 Kampala.

3 Kakuba Adams eyazaalibwa nga January 5, 1966 ng'ali ku ndagiriro P.O. Box 10650 Kampala.

Foomu eno yajjuzibwa nga September 4, 2015 kkampuni ya SSETZA lwe yawandiisibwa era foomu eno yakubwako sitampu n'essibwako n'omukuno gwa Allan Kakungulu owa USRB. Kakungulu era ye yassa omukono ne sitampu ya USRB okukaksa nti kkampuni ya SSTEZA ewandiisiddwa mu mateeka.

Waliwo ekiwandiiko Bukedde kye yazudde ng'eraga nti kkampuni eri ku ndagiriro, P.O. Box 6161 Kampala Plot 7, Lourdel Road ku kizimbe kya AHA Tower. Kkampuni eno, okusinziira ku biwandiiko, omulimu gwayo omukulu ogwa kuzimba butale.

Ekiwandiiko ekirala Bukedde kye yazudde mwe muli ebiteeso ebya badayirekita ba kkampuni ya SSTEZA abaatuula nga September 5, 2015 (enkeera lw'olunaku kkampuni lwe yawandiisibwa), ne kisalibwawo okuggulawo akawunta mu bbanka ya Standard Chartered ku ttabi lya Speke Road mu Kampala.

Abantu basatu: Kayongo Godfrey Nkajja, Gregory K Stinson ne Kakuba Adams ne balondebwa mu lukiiko luno okubeera nga be balina okussa emikono nga ssente ziggyibwa ku akawunta. Era ne bakkaanya nti, ceeke zonna eza kkampuni eno zinaassibwako emikono gyabwe abasatu.

Ekiwandiiko kino kyabagibwa bannamateeka ba SSTEZA aba Lex Uganda Advocates, Solicitors, kyokka wadde eng'ekiwandiiko kiraga nti badayirekita baatuula nga September 5, 2015, ekiwandiiko kye kimu kiraga nti badayikita abasatu baakissaako emikono nga August 5, 2015.

Kkampuni ya SSTEZA yatondeddwaawo oluvannyuma lw'okugatta amannya ga kkampuni bbiri; eya St. Balikuddembe Market Stalls, Space & Lock-up Shops Owners Association (SSLOA) ne kampuni ya Ketza ey'Omuzungu Stinson n'abantu abalala basatu Ekiwandiiko Bukedde kye yafunyeeko kkopi kiraga nti mu kkampuni ya SSETZA, aba SSLOA balinamu emigabo 50 ku 100, n'aba kkampuni ya KETZA nabo balinamu emigabo 50 ku 100.

Enteekateeka eno etabudde abamu ku basuubizi abakolera mu katale ka St. Balikuddembe nga balumiriza nti, ssentebe waabwe, Kayongo tabeebuuzangako era tebatuulangako kukkaanya ng'abasuubizi ku nsonga eno.

Ab'ekibiina ky'abamu ku basuubuzi ekiyitibwa ‘Bamufunampola’ abakulirwa Andrew Ssozi beekubide enduulu ewa Pulezidenti Museveni mu bbaluwa gye baawandise nga December 1, 2015 nga kyassiddwaako omukono gw'omumyuka wa ssente Elias Kaddu n'omuwandiisi Enock Katwesigye.

Beemulugunyizza nti Kayongo akukuta n'Omuzungu gwe balumiriza nti, talina ssente z'aleese okussa mu pulojekiti wabula Kayongo amutiitiibya nga yinvesita.

Baagambye nti balina okutya nti, ebyapya by'akatale bye babonaabonedde era bye basasulidde obutitimbe bw'ensimbi ng'abasuubuzi nga bayita mu kusonda Kayongo n'Omuzungu bandibikozesa ng'omusingo okwewola ssente eza bbanka.

KAKUBA AYOGEDDE

Adams Kakuba nga ye muwandiisi wa SSLOA era owa SSETZA eyasangiddwa ne ssentebe Godfrey Kayongo Nkajja yasabye ayogere ku lwa Kayongo n’agamba bwati: “Emyaka ebiri emabega twatuukirirwa kkampuni ya KETZA ng’eyagala okukwatagana naffe okuzimba akatale kano kyokka nga tetusobola kubanga twalina looni mu DFCU.

Aba KETZA baatugamba beewole ssente mu bbanka ya Swiss Guard e Zambia ate olwo nabo bazituwole. Kino kyalabika nga kirimu obuzibu kubanga baali ba kwewola ku magoba ga bitundu 3 ku 100 ate batuwolere ku bitundu 5 ku 100.

Twaweebwa amagezi twegatte tusobole okufuna ssente omulundi gumu. Twatondawo SSETZA okuva mu kkampini zombi tusobole okwewola obukadde bwa doola 50 okusasula ebbanja lya DFCU tufune ebyapa, okwongera okugula ettaka okugaziya ekifo n’okuzimba awanazzibwa abasuubuzi mu kiseera ky’okuzimba akatale.

Twalonda abantu musanvu okuva mu SSLOA okuteeseganye ne KETZA era bye bafuna ne byanjulirwa lukiiko oluddukanya kkampuni yaffe. Bye baayisa baabitwala mu lukiiko lwa bonna olwatuula mu December wa 2015 ne lubiyisa ekitegeeza nti abasuubuzi baali bakkirizza.

Twagabana emigabo 50 ku buli 100 kkampuni zombi kyokka nga gino giri ku buvunaanyizibwa bw’okusasula ssente era singa tulemererwa okusasula ebbanja lino buli kkampuni esasula ky’enkanyi ate singa omulimu gutambula bulungi ne tukola amagoba era tugabana kyenkanyi.

Omukago gwaffe gwa myaka esatu gyokka nga guggwaako mu 2018. Bwe tunaaba tumalirizza nga twagala okuzimba akatale Ebituli mu ddiiru Kayongo gye yakoze n’Omuzungu tunoonye abalala be tusobola okukwatagana nabo oba okukola enteeseganya endala ne KETZA.

BAMUFUNAMPOLA BAZZEEMU

"Abeekibiina kya ‘Bamufunampola’ era beemulugunyizza nti endagaano ekibiina kyabwe gye kyakola ne SSLOA okukolera wamu ku nsonga ez'okukulaakulanya akatale, Kayongo yazivvaako dda.

Ssozi yagambye nti, bafubye nga Bamufunampola ku nfunda eziwera okusaba alage ensasaanya y'ensimbi ezikuhhaanyizibwa mu katale kyokka nga buteere.

Yagambye nti, bo nga Bamufunampola tebawakanya kuzimbibwa kwa katale wabula baagala obwerufu n'okukuuma ettaka n'akatale abasuubuzi bonna baganyweremu so si bantu ssekinnoomu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp1 220x290

Hasan Mubiru asindidde omugagga...

Hasan Mubiru asindidde omugagga Bryn White ebizibu ebyamuggya ku mupiira

Don2 220x290

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga...

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Pub1 220x290

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye...

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Byandala2 220x290

Byandala bamulagidde yeewozeeko...

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza...

Hab1 220x290

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome