TOP

Bagudde ku butambi bw’abawala abatulugunyizibwa mu Buwalabu

By Ahmed Mukiibi

Added 25th January 2016

Amawanga okuli Saudi Arabia, Iraq ne United Arab Emirates ge gasinga okuyisa obubi abakozi naddala abakola awaka (bahawusigaalo).

Twala1 703x422

Abamu ku bawala abagamba nti baatulugunyizibwa mu Buwalabu. Ku kkono, ye Muky. Celine Kasozi omukungu mu kitongole ekibudaabuda abawala bano.

Ebitongole ebikessi bigudde ku butambi obulaga engeri Abawalabu gye batulugunya abantu abagenda okukolerayo okuli n’abawala Bannayuganda. 

Amawanga okuli Saudi Arabia, Iraq ne United Arab Emirates ge gasinga okuyisa obubi abakozi naddala abakola awaka (bahawusigaalo).

Obutambi buno ne lipoota eziraga ebikolobero ze zaavuddeko Gavumenti okuwera okutwala Bannayuganda e Saudi Arabia okukola ng’abakozi b’awaka.

Minisita w’Ekikula ky’abantu, Wilson Muruli Mukasa yaweze enteekateeka zonna ez’okutwala Bannayuganda e Saudi Arabia okukola ng’abakozi.

Uganda yakola endagaano ne Saudi Arabia nga July 7, 2015 okusobozesa Bannayuganda abasoba mu 3,000 okufunayo emirimu.

Wabula mu bbanga ery’emyezi omukaaga bukya endagaano eno etandika okussibwa mu nkola, Bannayuganda bafuniddeyo ebinuubule mu kifo ky’ensimbi ze baali beesunga okukola.

Ekitongole ky’ensi yonna ekya Human Rights Watch kyafulumizza lipoota eraga nti Saudi Arabia erina abagwiira abasoba mu bukadde mwenda (9) okuva mu Afrika ne Asia nga bano bakola buli kika ky’emirimu omuli egy’awaka, ofiisi, okuzimba, okuweereza mu maduuka, okwetikka emigugu n’ebirala. Bangi bayisibwa ng’abali mu buwambe olw’engeri gye batulugunyizibwa n’okubinikibwa emirimu ate nga basula nga mbwa.

Ebikolobero kuliko

1 Okutta: Abamu ku bakozi b’awaka bazze battibwa omuli n’omuwala Munnakenya Ansila Kafedha eyattibwa mu February 2015 e Saudi Arabia oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa bakama be

 

2 Okutemako emikono: Waliwo omukazi enzaalwa ya Buyindi, Kasthuri Munirathnam, eyatemwako omukono mu October 2015 bwe yabanja mukama we Omuwarabu ssente z’omusaala ezaali ziruddeyo.

3 Okubakaka omukwano: Bangi bakakibwa omukwano abamu ne bafuna n’embuto oluvannyuma ne basuulibwa mu makomero n’abamu okutikkibwa ne bazzibwa mu mawanga gye baava nga tebafunye kulamulwa.

4 Okubakuba emiggo: Ku buli bawala 10, kuliko mukaaga abeemulugunya nti bakubwa bakama baabwe emiggo buli lwe babaako ensobi gye bakoze.

5 Okubakubisa amasannyalaze: Abamu bafuna obulemu ku mirimu ne ku bwongo olw’okubakubisa amasannyalaze.

6 Obutabasasula: Ng’oggyeeko omusaala omutono ogwa doola 200, abasinga tebasasulwa ate abakozi tebalina waakuloopa. Bangi batuuka okutikkibwa okudda nga tebasasulwanga.

7 Okubaggalira: Abakozi abalala bakama baabwe babasibira mu busenge ng’abasibe ne babatulugunya.

8 Okubawambako ebiwandiiko: Abawalabu buli mukozi gwe bafuna bamuggyako ebiwandiiko bye naddala Paasipooti okubalemesa okwetaaya.

9 Okubamma emmere: Abawalabu balina omuze ogw’okumma emmere abakozi baabwe ab’awaka nga kino bakyeyambisa ng’ekibonerezo.

10 Okubabinika emirimu n’okubagaana okwebaka: Abamu ku bakozi b’awaka babinikibwa emirimu emingi ng’omuwala omu ayinza okussibwa mu kikomera omuli famire nga nnya, nga ye yekka abakolera emirimu gy’awaka gyonna.

11 Obusosoze mu langi: Abawalabu boolesa obusosoze ku badduggavu.

12 Okubakaka okwambala n’okweyisa ng’Abasiraamu.

Abaanunuddwa balojja

Abawala Bannayuganda musanvu abaakomyewo balombojja ennaku gye baayiseemu okutuuka okutoloka. Waliwo bannaabwe bangi abakyalemeddwa okutoloka gye baatwalibwa okukola kyokka nga bayisibwa ng’abaddu n’abalala bangi abaasobola okutoloka poliisi n’ebakwata nga bakuumirwa mu bifo ebyekusifu.

 katambi akalaga omusajja ngasamba omuwala Akatambi akalaga omusajja ng’asamba omuwala.

 

Abamu baggyibwako ebiwandiiko, tebalina ssente zirinnya nnyonyi kudda mu Uganda. Abalala balina obuvune era balwadde kyokka tebafunanga bujjanjabi.

Joan 21, ow’e Nabweru- Nansana yatwalibwa kkampuni ya Turkey Business Solutions ey’omukyala Khalima Abadallah omutuuze w’e Makindye nga October 27 2015 okukola obwayaaya mu Saudi Arabia kyokka n’addukayo.

Bwe yatuuka ku kisaawe, waliwo omusajja ayitibwa Muhammad eyamunona n’amutwala okukola ewuwe nga yali asuubiziddwa okulongoosa awaka kyokka bwe yatuukayo ne bamwongera emirimu emirala egitaali mu ndagaano.

Muhammad yalina abantu bangi awaka okwali n’abasajja abaamukaka akaboozi. Yadduka awaka n’agenda ku nguudo okuyambibwa kyokka poliisi n’emukwata ne bamuggalira. Mukama we Muhammad yayitibwa ne bamulagira amuddize paasipooti ye amuwe ne tikiti y’ennyonyi adde ewaabwe.

Nga December 16 yalinnya ennyonyi n’abawala abalala ne batuukira e Cairo mu Misiri gye baava okutuuka mu Uganda.

Prossy, 23 ow’e Kajjansi kyokka nga musomesa wa nnassale (nursery) yatwalibwa November 18 2015, mu kibuga Riyadh okukola obwayaaya.

Ekitongole kya Methaq International ekyamutwala kyamulagaanya omusaala emitwalo 70 buli mwezi naye kyamubuukako bwe yamalirizanga okukola emirimu gye ate nga bamutwala mu maka amalala.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Polly Namaye eyasisinkanye abamu ku bawala abakomyewo kuno yasabye abantu abalina amawulire oba obujulizi obulumiriza omukyala eyakwatiddwa babuweeyo.

Yeebazizza ekitongole kya Kyampisi Childcare Ministries ekiyambye abawala bano ssaako okubabudaabuda okulaba nga badda mu mbeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda