TOP

Omuyimbi Betty Mpologoma anoonya musajja amuwasa

By Josephat Sseguya

Added 27th January 2016

Yannyonnyodde nti akooye embeera ey’abasajja abamukwana ne batya nga bakimuteekako nti muka Dr. Tee, sso ng’ebyo byaggwaawo dda.

Yisa 703x422

Mpologoma

OMUYIMBI Betty Mpologoma yeevuddemu n’asalawo okunoonya omusajja batandike obufumbo. Mpologoma yategeezezza Bukedde nti, anoonya musajja amuwasa kubanga yeetamiddwa abatamanyi kye baagala.

Yannyonnyodde nti akooye embeera ey’abasajja abamukwana ne batya nga bakimuteekako nti muka Dr. Tee, sso ng’ebyo byaggwaawo dda.

Mpologoma ye yayimba ennyimba okuli: Big Deal, Akasimu tugende nkacaajinge, Football n’endala.

Yagambye nti singa afuna omusajja ‘ali siriyaasi’ n’amwanjula ne bakola n’embaga abantu ne bamumanya, kiyinza okumutaasa ne ku bawagizi abamubuuza Dr. Tee (Travis Kazibwe) buli gy’alaga.

Yagambye nti wadde Dr. Tee yawasa omukazi embaga n’ewandiikibwako mu mawulire, abantu bakyamumubuuza mu ngeri eraga nti bakyalina enkolagana, ekitali kituufu.

“Ekinnuma be basajja abaagala okumpasa okuntya nga balowooza ndi mufumbo ewa Dr. Tee ekimmazeeko emirembe,” bwe yayogedde mu nnaku.

Yakkaatirizza nti alina ne b’afubye okunnyonnyola nti ebya Dr. Tee byaggwaawo kati wa busa tebakkiriza.

Mpologoma yasooka kuba muganzi wa Dr. Tee wabula n’awasa nkubakyeyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...