TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Abavubuka beekobanye ne batta omuwala eyabagattise: Bamulesezza bbebi ayonka

Abavubuka beekobanye ne batta omuwala eyabagattise: Bamulesezza bbebi ayonka

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2016

Omu amwambuddemu engoye z’abaddemu n’akima n’ezibadde eka nga kwatadde n’okukinagguka nti: “agende ayambale ez’abasajja abalala b’aganza.”

Funa1 703x422

Tibeesigwa gwe basse ne bamulesa ebbujje.

ABAVUBUKA babiri beekobaanye ne batta omuwala gwe bavunaanye okubagattika. Omu amwambuddemu engoye z’abaddemu n’akima n’ezibadde eka nga kwatadde n’okukinagguka nti: “agende ayambale ez’abasajja abalala b’aganza.”

Abadde muwala alabika obulungi era amanyi okwekolako, kyokka amaze ennaku nga talabikako, olwo omuyiggo ne gutandika.

Abatuuze olugudde ku mulambo oluvannyuma lw’ennaku mwenda, nga guli bukunya ate nga kigambibwa nti gwasobezeddwaako, ne balumba amaka ge bateebereza nti ge gaamusaddaase enju ne bagikumako omuliro.

Muganzi we eyamusse akkirizza n’agamba nti, yeegasse ne munne bwe babadde bamwagala ne bamutta nga bakooye okubagattika.

Abagabaddemu badduse ne beekweka mu nsiko nga batya abatuuze okubookya kyokka poliisi eyanguye okutaasa amayumba amalala obutagookya

Gwe bateeberezza okumutta akkirizza nga bwe yamutta olw’obusungu nti abadde amugattako abavubuka abalala nti, kyokka ebitundu by’omubiri ebirala abavubuka balala be baabisala ku mulambo.

Bino byabaddewo ku Mmande akawungeezi ku kyalo Kamuli ekisangibwa mu muluka gw’e Ssunga mu ggombolola y’e Nyenga mu disitulikiti y’e Buikwe.

Omugenzi abadde ayitibwa Edisa Tebeesigwa 25, ng’abadde mukozi mu saluuni ng’abeera ne jjajjaawe omukadde Katarina Mbwali era ng’abadde alina omwana omuto gwe baamulusezza.

Omuwala ono abadde alina omulenzi gw’ayagala era ng’ebiseera ebisinga asula wa mulenzi nga ne lwe yasembayo okulabikako omulenzi ono Yakubu Mwandha ye yamunona ewa jjajjaawe ekiro ne bagenda okusula nga bulijjo bwe babadde bakola.

Namukadde Mbwali agamba nti, omulenzi yajja ne basooka okunyumya wabula n’abagamba bazikize ettaala ye nti kuba amafuta gaali gaggwaamu ne basalawo okugenda bamugulire amafuta kyokka yakanda kubalinda nga tebadda.

Wabula oluvannyuma yawulira enduulu ng’omuntu alaajana, “munzitira bwereere” ate n’asirika omulundi gumu ye ne yeebaka.

Omukadde agamba nti obudde bwali bukya omulenzi n’ajja n’amugguzaawo n’akwata mu nsawo y’omuwala mw’abadde atereka engoye n’aggyamu engoye zonna n’amugamba nti, “muzzukulu wo alina abasajja abalala nze mutadde abalala kabamutwale naye engoye ze namugulira nzitutte abamusigudde bamugulire ezaabwe.”

Abatuuze bagamba nti baliko akaviiri k’abakyala ke baasanga mmita nga 100 nga mu kifo ekyo waliwo ensiitaano ne balowooza nti waliwo abaalwaniddewo ne babivaako.

 

Wabula oluvannyuma nga Edisa takomawo, ensonga jjajja yazitwala mu batuuze abaazitwaala ku LC nga batya nti ennaku essatu ezaali ziyiseewo nnyingi nga Edisa abadde takikolangako.

Poliisi y’e Nyenga yayitiddwa, Mwandha n’akwatibwa kyokka n’asooka okwegaana nti ye tamanyi Edisa gy’ali kyokka era poliisi n’emutwala ng’abatuuze baagala okumutuusaako obulabe.

Oluvannyuma abantu baatandise okunoonya mu bikajjo ne basanga ekifo ekyabadde kiwunya ennyo nga waliwo enviiri n’eggumba kyokka ng’omulambo teguliiwo.

Poliisi okuva e Njeru eyabadde eduumirwa DPC Christopher Katumba yatuuse n’egaana abantu okuddamu okutuukawo bamale okuleeta embwa abatuuze ne bakkiriza kyokka obudde bwe bwawungedde nga embwa tezituuka, abatuuze ne bakkaanya ne poliisi bafuuze ebikajjo byonna era baabadde baakatambulako katono ne bagwa ku mulambo gwa Edisa.

Teyabadde na mikono, yasalwako ebbeere erimu nga ne wansi walabika yasalwayo n’ebirala.
Kino kyatabudde abatuuze ne balumba amaka ga mukyala Rehema Ndagire azaala Mwandah era okutaasa obulamu bwe yaggyiddwaawo poliisi.

Obusungu baabumalidde ku nju y’omuvubuka gwe balumirizza okutta omuwala ne bagiteekera omuliro. Oluvannyuma DPC Katumba yayise abatuuze n’abakubiriza obutatwalira mateeka mu ngalo. Poliisi yatutte omulambo mu ggwanika ly’eddwaaliro e Jinja, kyasaliddwaawo poliisi esigale ng’ekuuma amaka ago okutuusa ng’okuziika kuwedde

Mwandah ayogedde ensonga eyassizza Edisa

Omuvubuka ono akakasizza nti ye yatuga Edisa n’amuggyamu engoye ze yali ayambadde n’azitwala nti nga mwenzi.

Agambye nti bamaze emyaka musanvu nga baagalana kyokka yafuna olubuto n’amugamba nti, si lulwe ne kimunyiiza. Ayongeddeko nti abadde atambula nga tamubuulidde n’asulayo ate nga kuno kw’atadde okuganza abavubuka ku kyalo.

Agambye nti mu kutta yayambibwako omuvubuka omulala bwe babadde baaganza omuwala ono naye eky’okumusalako ebitundu by’omubiri ebirala kyakoleddwa balala kubanga ye yakoma okumulabako nga yaakafa ng’amwambuddemu n’engoye omulambo ne gusigala bukunya ng’okuguyingiza mu bikajjo kyakolebwa munne ye ng’asigadde ku luguudo okuketta.

Omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Deo Obura agambye nti bagenda kukwata bonna abeetabye mu butemu lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...