TOP

Ng’enda kumalawo ebizibu by’ettaka e Bunyoro - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2016

Ng’enda kumalawo ebizibu by’ettaka e Bunyoro - Museveni

Bu2 703x422

Museveni ng’akuba kampeyini e Kiziranfumbi mu muluka gw’e Bulimya mu ggombolola y’e Kiziranfumbi, Buhanguzi County mu disitulikiti y’e Hoima.

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asuubizza okukola ku bizibu bya Bunyoro naddala ekizibu ky’ebyettaka, okubazimbira amalwaliro, amasomero n’enguudo mu kitundu.

Museveni anaatera okufundikira ekitundu kya Bunyoro ng’awenja obululu, yatalaaze disitulikiti ye Kibaale gye yakubye enkuhhaana bbiri okuli; Bungangaizi West ne Kigorobya n’oluvannyuma n’akuba olukuhhaana olunene mu munisipaali ye Hoima.

Yategeezezza nga bw’amanyi ebizibu bya Bunyoro obulungi naddala ekizibu ky’ettaka lye yagambye nti kyaleetebwa Bazungu. Yagambye nti tayinza kwerabira kitundu kino, kuba Omukama Kabalega yakola kinene mu kulwanirira obwetwaze bwa Uganda.

Yasuubizza nti mu kisanja ekiddako essira agenda kuliteeka ku kukola enguudo, okuzimba amasomero, amalwaliro n’okusitula ebyenfuna by’abantu nga bongera ku nnyingiza yaabwe mu maka. Katikkiro w’Obukama bwa Bunyoro, Norman Rukumu yagambye nti ekizibu ekisinga okubanyiga kwe kubeera ng’ettaka lyabwe teririna byapa.

Yagambye nti Abazungu abafuzi b’amatwale be baatandika okubakotoggera bwe bataabawa byapa ku ttaka lyabwe.

Yagambye nti ekyewuunyisa n’ettaka mu masaza agamu nga Bunyoro ne Bungagayizi agaali gazaaye, ebyapa era byasigalira Baganda abaagenda nabyo.

Enguudo eziwerako yalaze nga bwe zigenda okukukolebwa. Olwaleero ku Lwokuna, Museveni lw’atandika okutalaaga ekitundu kya Buganda, kyokka ng’atandika n’olukuhhaana e Hoima mu ssaza lye Bugahya, n’oluvannyuma agende e Ntwetwe mu disitulikiti ye Kyankwanzi gy’anaava okudda e Kiboga. Enkya ku Lwokutaano Museveni agenda kutalaaga disitulikiti y’e Mityana.

Eno agenda kukubayo enkuhhaana nnya ng’atandikira Busujju, Mityana North, Mityana South ne Mityana Munisipaali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...