TOP

Ssemaka bamusse omulambo ne bagusuula mu nnyanja

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2016

Omulambo gwe gwasangiddwa guseeyeeyeza ku mazzi era tekyategeerekese oba abaamusse balina ssente ze baasoose okumubbako.

Fuusa 703x422

Nnamwandu, Allen Nina (ku kkono) ne muganda we ku kabangali ya poliisi kwe baatwalidde omulambo gwa Kizito mu katono

ABATEMU bateeze ssemaka ng’adda awaka ne bamutta oluvannyuma omulambo gwe ne bagusuula mu nnyanja ku bbiici ya Water Front e Busaabala.

Eddie Kizito abadde mutuuze e Busaabala ng’alina amaato agavuba ku nnyanja e Busaabala n’emirimu gye emirala.

Omulambo gwe gwasangiddwa guseeyeeyeza ku mazzi era tekyategeerekese oba abaamusse balina ssente ze baasoose okumubbako.

Nnamwandu wa Kizito, Ninah Allen Kizito yategeezezza nti baali baafunamu obutakkaanya ne bba n’anoba n’omwana waabwe ow’emyaka omusanvu nti kyokka yabadde ali waabwe ne bamukubira essimu nti bba attiddwa.

Yagambye nti alowooza nga bba ayinza n’okuba yeesudde mu nnyanja mu bugenderevu kubanga aludde ng’amwetayirira adde mu maka kyokka ye n’agaana olwokuba ensonga ezaabatabula zibadde zikyaliwo.

Wabula ebigambo bya nnamwandu byawakanyiziddwa abatuuze ne poliisi abaategeezezza nti bwe baakebedde omulambo gwasangiddwako ebiwundu akabonero akakakasa nti omugenzi yasoose kuttibwa oluvannyuma omulambo gwe ne gusuulibwa mu nnyanja.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Katwe, Justus Tumusiime yagambye nti omulambo baagututte okwekebejjebwa era bagguddewo fayiro nnamba SD REF 07/28/01/2016 okunoonyereza ku ttemu lino.

Abatuuze mu kitundu baategeezezza nti bbiici eziri mu kitundu kino zeetaagako obukuumi obw’amaanyi olw’abamenyi b’amateeka okuzeeyambisa nga n’omwaka oguwedde batta omuntu ne bamusuulawo nga ne ku bbiici ya Bobi Wine baali basuddeyoko omuntu nga bamusse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda