TOP

Kirumira ne Omala babongedde amayinja mu Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th February 2016

Sam Omala eyayatiikirira ennyo mu Kampala n’emiriraano, ng’akulira ebikwekweto kati amyuka kamisona, Aaron Baguma DPC wa CPS ali ku musango ne Ssebuufu ogw’okutta omukazi Donah Katushabe yakuziddwa n’afuuka Supulitendanti, Muhammad Kirumira yakuziddwa okuva ku mayinja abiri n’atuuka ku mayinja asatu (ASP) nga mu kiseera kino ali Mpondwe. Kirumira yalwanyisa nnyo obubbi e Nansana.

Kirumira 703x422

Kirumira ne Omala abaakuziddwa

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura akuzizza abaserikale okuli Mohammad Kirumira ne Sam Omara n’abalala 494.

Sam Omala eyayatiikirira ennyo mu Kampala n’emiriraano, ng’akulira ebikwekweto kati amyuka kamisona, Aaron Baguma DPC wa CPS ali ku musango ne Ssebuufu ogw’okutta omukazi Donah Katushabe yakuziddwa n’afuuka Supulitendanti, Muhammad Kirumira yakuziddwa okuva ku mayinja abiri n’atuuka ku mayinja asatu (ASP) nga mu kiseera kino ali Mpondwe. Kirumira yalwanyisa nnyo obubbi e Nansana.

Abakuziddwa ne bafuulibwa abamyuka b’omuduumizi wa poliisi (AIGP) kuliko Dr. Moses Byaruhanga akulira ebyobulamu mu poliisi, Haruna Isabirye akulira ebikwekweto mu poliisi, Ahmed Wafuba Waduwa akulira ekitongole eky’amafuta, Erasmas Twaruhukwa ne Lt. Col Ndahura Atwoki Birakurataki akulira ekitongole ekikessi.

Abakuziddwa okudda ku ddaala lya Siniya Kamisona (SCP) kuliko, Benjamin Namanya eyaliko omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano okumala omwezi gumu, Fadhir Kaali akulira ekitongole kya Field Force Unit , Stephen Tanui amyuka omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Joel Aguma, Christopher Kasalawo nga bakuziddwa ne batuuka ku ddaala lya Senior Kamisona.

Abakuziddwa ne bafuuka ba kamisona (CP) kuliko Hadijah Namutebi, Frank Mwesigwa akulira ettendekero lya Poliisi e Masindi , Olivia Wabwire, Yusuf Ssewanyana n’abalala.

Abamu ku bakuziddwa ne bafuulibwa abamyuka ba kamisona (ACP) kuliko, James Ruhweza aduumira poliisi mu bitundu bya Elgon, Siraje Bakaleke aduumira poliisi mu kitundu kya Kampala East, Denis Namuwoza aduumira poliisi mu bitundu bya Rwenzori East, Hassan Kihanda amyuka akulira ekitongole ekizikiza omuliro, Polly Namaye amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga , Herbert Muhangi akulira Flying Squad, Ricahrd Ecega akulira ettendekero lya poliisi e Yumbe.

Abakuziddwa okudda ku ddaala lya Siniya Supulitendanti (SSP) kuliko Ceaser Tusingwire aduumira poliisi mu kitundu kya Savanah(Luweero, Nakaseke, Nakaasongola) Ashiraf Chemogens, Ibrahim Saiga, Ronald Kamya, Sabira Musani, Peter Nkulega, Edgar Nyabongo ng’ono ye yalwanagana ne kanyama wa Mbabazi, Christopher Aine.

Norman Musinga akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Rusoke Kituuma akulira poliisi ya KCCA, Zurah Ganyana, Maureen Atuhaire akola ng’akulira ekitongole ekikola ku nsonga z’abaana n’amaka, Damali Nachuha, Francis Chemusto aduumira poliisi mu Kampala South, Wesley Nganizi aduumira poliisi mu Kampala North, Mark Paul Odong akulira SIU e Kireka.

Abamu ku bakuziddwa ne basukka ba Supulitendanti kuliko, Moses Nanoka DPC we Sironko, Hashim Kasiga DPC Kawempe, Bernard Mugerwa DPC Kabalagala, Rashida Mugawe, Brian Ampire DPC Wandegeya n’abalala 245 ne bakuzibwa okutuuka ku ddaala lya ASP.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...