TOP

Gavumenti esibye Gen. Sejusa lwa kugyanika - Besigye

By Musasi wa Bukedde

Added 4th February 2016

Besigye yategeezezza nti Gavumenti okusiba munnansiko munne (Sejusa) emulanga kwanika bibi by’ekola omuli ne bulijjo by’agirumiriza eby’okubba obululu.

Besigye 703x422

Kiiza Besigye

DR. Kiiza Besigye, avuganya ku bwapulezidenti, yasinzidde e Mbarara n’alangira Gavumenti obutiitiizi olw’okukwata Gen. Sejusa.

Besigye yategeezezza nti Gavumenti okusiba munnansiko munne (Sejusa) emulanga kwanika bibi by’ekola omuli ne bulijjo by’agirumiriza eby’okubba obululu.

Besigye yagambye nti bwe yali akyali mu magye, yayogera obuzibu obwali bwolekedde Uganda nga mu NRM abamu batandise okuva ku mulamwa omuli okubba ensimbi z’eggwanga okutunda ebintu bya Gavumenti n’ebirala.

Yagasseeko nti baali basazeewo okumutwala mu kkooti y’amagye olw’ekiwandiiko kye yali afulumizza era ekyefaananyirizaako kino kye kituuse ku Sejusa olw’okuvaayo okulaga ensobi za NRM olwo ne bamuggulako emisango, egimusibisizza e Luzira.

Besigye, munnamagye eyawummula, yagambye, mu nkuhhaana ze mu bitundu by’e Rubindi, nti ssinga agenda mu buyinza, mwetegefu okulaba ng’abasomesa bongerwa mu masomero ate bafune omusaala ogwegasa n’abayizi baweebwe ekyemisana n’ekyenkya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?