TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • ‘Nagwa okuva ku kkalina eyookuna nga ndi ku kyeyo ne nkutuka enkizi’

‘Nagwa okuva ku kkalina eyookuna nga ndi ku kyeyo ne nkutuka enkizi’

By Musasi wa Bukedde

Added 8th February 2016

Akabenje kano akaamukutula omugongo yakafuna agezaako kutoloka ku bakama be abaali bamutulugunya kwekuwanuka ku kalian n’agwa wansi kate afe era bwe yatwalibwa mu ddwaaliro abasawo gye bakizuulira nti yali akutuse enkizi.

Mati1 703x422

Nabbanja eyatulugunyizibwa mu Oman n’akutuka enkizi ng’ali mu bulumi mu ddwaaliro e Mulago.

Irene Nabbanja yava mu Uganda okugenda mu Oman okupakasa ng’alina ekirooto ky’okukola ssente adde ku butaka abeere bulungi, kyokka kino tekyatuukirira kuba w’osomera bino yakutuka omugongo ali Mulago ku kitanda apooca.

Akabenje kano akaamukutula omugongo yakafuna agezaako kutoloka ku bakama be abaali bamutulugunya kwekuwanuka ku kalian n’agwa wansi kate afe era bwe yatwalibwa mu ddwaaliro abasawo gye bakizuulira nti yali akutuse enkizi.

Nabbanja, eyasangiddwa ku kitanda e Mulago agamba nti bwe yatuula S.4 ssente ezimwongerayo ne zibula, omuntu omu kwe kumukwata ku mukono n’amupangira okugenda mu Dubai okukola mu 2014, gye yafunira omulimu gwa bwayaaya.

Yali yaakagukolako ekiseera kitono, n’alumbibwa obulwadde bw’omutwe obwamuwaliriza okusaba bakama be n’adda mu Uganda okumujjanjaba.

Bwe yawona, yaddamu n’apanga ebirala n’agenda mu Oman era eno nayo ne bamufunira omulimu gwe gumu gwa bwayaaya.

Nagwo yagukolako ebbanga ttono obulwadde bw’omutwe ne bumuddamu bakama be kwe kumukwata ne bamuzza mu kkampuni eyali ebamuwadde.

Wano obuzibu bwe we bwatandikira kubanga ekifo we baamusuzanga kyali kibi nnyo nga liringa kkomera.

Olunaku lumu yasalawo okutoloka ku bakama be adduke agende ku poliisi yeekubire enduulu alabe engeri gy’ayinza okudda mu Uganda.

Yeesiba essuuka n’ayita mu ddirisa n’atandika okukka mpola ng’akkira ku ssuuka gye yalanga ng’omuguwa.

Kyokka ebyembi yali yaakakkako kkalina ssatu, omuguwa ne gusumulukuka n’agwa wansi omugongo ne gufuna obuzibu.

Poliisi yajja n’emuyoolayoola ne bategeeza bazadde be abaatandika okunoonya ssente okumuggyayo okumuzza mu Uganda.

Ab’oluganda lwa Nabbanja banenya Akram Kitandwe, gwe balumiriza nti ye yatwala muwala waabwe nti kyokka bwe yafuna obuzibu teyabayamba wadde nga baamukubiranga essimu eziwerako nga takyabafaako okutuusa lwe baalwana ne bakomyawo omwana waabwe mu Uganda ng’ali mu mbeera mbi.

Omusawo mu waadi yab’emigongo e Mulago, Beatrice Nandege agamba nti Nabbanja akyali mu mbeera mbi era yeetaaga okulongoosebwa mu bwangu kubanga ekitundu kye ekya wansi kyasannyalala ng’omusulo gumuyitamu buyisi.

Yeetaaga okusibamu nnatti mu mugongo gusobole okutereera nga buli nnatti emu egula ddoola za Amerika 80 9eza Uganda ng’emitwalo 28) nga yeetaaga natti mukaaga, kyokka ensimbi zino ab’oluganda lwe tebazirina.

Munnayuganda omulala, Hassan Mayanja naye yazze mu ofiisi za Bukedde n’attottola engeri gye yabonaabonamu ng’ali mu Saudi Arabia n’akoma ku mugo gw’entaana.

Mayanja agamba nti omusajja ayitibwa Sulaiman Katende yatuukirira kitaawe n’amumatiza nti alina omuntu e Saudi Arabia ayinza okumutwala n’amusomesa Oluwalabu nga bw’alunda n’endiga ze n’amusasula ssente.

Baagenda mu wooteeri emu ne basangayo omusajja Omuwalabu ayitibwa Adallah Said ne boogeraganya ne bakkiriziganya okutwala Mayanja e Saudi Arabia amusomese.

Mayanja agamba nti bwe baatuuka e Saudi Arabia, omusajja eyamutwala yamala ekiseera kitono n’amwefuulira nga takyamusasula n’amutwala ne ku poliisi ng’amutaddeko omusango nti yatomera omwana we ow’awaka n’amutta.

Oluvannyuma Mayanja yatuukirira ekitebe kya Uganda mu Saudi Arabia, ekyamuyamba okumukolera ku nsonga ze n’asobola okudda mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfiira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...