TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ebbanja lya buwumbi 8 lye livuddeko ebbula lya paasipooti- Minisita Akol

Ebbanja lya buwumbi 8 lye livuddeko ebbula lya paasipooti- Minisita Akol

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2016

Minisita w’ensonga z’omunda, Rose Akol Akullu yagambye nti kkampani ya De La Rue okuva e Bungereza ekola paasipooti zino ebanja ssente za myaka ebiri ezisukka ku ssente obuwumbi 7 gavumenti z’ewa ekitongole kya paasipooti mu bajeti.

Roseakolokullu703422 703x422

Minisita Akol ng’annyonnyola.

MINISITULE y’ensonga z’omunda mu ggwanga eri mu kattu olw’ebbanja lya buwumbi 8 n’obukadde 700 (8,700,000,0000/-) erya kkampuni ekola paasipooti.

Minisita w’ensonga z’omunda, Rose Akol Akullu yagambye nti kkampani ya De La Rue okuva e Bungereza ekola paasipooti zino ebanja ssente za myaka ebiri ezisukka ku ssente obuwumbi 7 gavumenti z’ewa ekitongole kya paasipooti mu bajeti.

Yagambye nti baagala okuteekayo okusaba kwabwe mu minisitule y’ebyensimbi ebongere ku ssente z’ebawa mu mbalirira y’omwaka 2016/2017.

Yagasseeko nti essaawa eno paasipooti balinawo ez’abo abalina ensonga ez’okukolwako amangu ebweru w’eggwanga n’ez’ekikungu wabula n’agamba nti mu bbanga ttono, bagenda kutuusa obutabo bwa paasipooti 100,000 n’oluvannyuma bongereyo obulala 200,000.

“Mu bbanga lya myezi ena gyokka tukoze amagoba agataliiko musolo ga buwumbi 44. Naye ssente zino zigenda mu gavumenti, ffe ze tukozesa ezituweebwa mu mbalirira y’eggwanga ntono nnyo ezitasobola kusasula bbanja lye tulina,’’ Akol bwe yategeezezza.

Akol yagobye abantu ababadde beefuula bakayungirizi n’agamba nti omuntu ayagala paasipooti alina kugyegoberako ye kennyini.

Ataddewo emmeeza mu ofiisi ye ekola ku beemulugunya ku bya paasipooti n’atekako abakozi babiri okuli SP Daniela Adiru ne Amanda Mugabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...