TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ebya Gen. Sejusa biwanvuye: Si waakwetaba mu kulonda kw'Obwapulezidenti

Ebya Gen. Sejusa biwanvuye: Si waakwetaba mu kulonda kw'Obwapulezidenti

By Meddie Musisi

Added 10th February 2016

Ttiimu ya Bannamateeka ba Gen. Sejusa eya balooya mwenda abaakulembeddwaamu, David Gureme Mushabe ne Ladislaus Rwakafuzi, baasoose kusaba Sejusa okuzzibwa mu kkooti ng’olwa 18 February terunnaatuuka asobole okukkirizibwa okweyimirirwa yeetabe mu kulonda.

Yunga1 703x422

Sejusa (wakati) ng’afuluma kkooti.

GEN. David Sejusa si wa kwetaba mu kulonda kwa pulezidenti ku Lwokuna lwa wiiki ejja nga 18 February, kkooti y’amagye bw’eyongedde okumusindika ku Limanda e Luzira yeebakeyo wiiki endala bbiri okutuuka nga February 23, 2016.

Ttiimu ya Bannamateeka ba Gen. Sejusa eya balooya mwenda abaakulembeddwaamu, David Gureme Mushabe ne Ladislaus Rwakafuzi, baasoose kusaba Sejusa okuzzibwa mu kkooti ng’olwa 18 February terunnaatuuka asobole okukkirizibwa okweyimirirwa yeetabe mu kulonda.

Wabula akulira kkooti y’amagye, Maj. Gen Levi Karuhanga okusaba kuno yakugaanyi n’ayabula kkooti okutuusa nga February 23, lw’anaawa ensala ye ku kukkiriza oba okugaana okweyimirirwa kwa Sejusa. Rwakafuzi yasoose kunnyonnyola nti emisango egivunaanibwa Sejusa gyekuusa ku byabufuzi nga si gya nnaggomola egiyinza okumuviirako obuteeyimirirwa.

Yawanuzza Ssemateeka mu katundu 23 (1) (C) akawa omuntu yenna eddembe okweyimirirwa era wano we yayanjulidde Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago n’omusawo mu ddwaaliro lya Case Medical Center, Dr. Deo Kizito Lukyamuzi ng’abagenda okweyimirira Sejusa.

Wabula omuwaabi omukulu owa kkooti y’amagye, Col. Kagoro Sebura yavuluze Lukwago ne Dr. Lukyamuzi nti si be basaanidde okweyimirira Genero omujjuvu owa UPDF kubanga si bajaasi ate ku bombi tekuli alina buyinza kuwaliriza Sejusa kujja mu kkooti.

Col. Kagoro yawadde amagezi Bannamateeka ba Sejusa okunoonya Bannamagye abali ku ddala ng’erya Sejusa okujja okumweyimirira kubanga y’ebadde enkola ya kkooti y’amagye.

Kyokka Mushabe yamusomedde akatundu 219 ak’etteeka lya UPDF akalagira nti kkooti y’amagye bw’eneeba esalawo okukkiriza omuwawaabirwa okweyimirirwa, ejjanga kugoberera amateeka nga bwe gagobererwa mu kkooti ez’abantu baabulijjo.

Rwakafuzi yawadde ensonga mukaaga lwaki Sejusa asaanidde okweyimirirwa:

1. Musajja mukulu attuludde ng’atemera mu myaka 62.

2. Ye muntu yekka asakira famire ye ekyokulya.

3. Alina abaana abato abakyasoma n’abehhanda b’alabirira abanyigirizibwa olw’okusibwa kwe.

4. Tannasingisibwa musango wabula ateeberezebwa buteeberezebwa.

5. Alina amaka ageetongodde.

6. Tasobola kudduka kuba yamanya ku nteekateeka z’okumukwata ng’ebula essaawa ssatu kyokka teyabomba.

Kkooti y’amagye ewadde ensonga lwaki sejusa teyeeyimiriddwa Wabula Col. Kagoro yakubye ebituli mu nsonga ezo n’ategeeza kkooti nti zonna teziriimu ggumba.

Yagasseeko nti n’okunoonyereza ku misango gye kyenkana kuwedde, okuwulira emisango gye kugenda kutandika mu bwangu.

Wano Kagoro yakukunuddeyo ekiwandiiko okuva mu kitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) ekiri mu kunoonyereza ku misango egimuvunaanibwa nga kiraga nti ssinga kkooti ekkiriza Sejusa okweyimirirwa, ajja kutaataaganya obujulizi.

Aba CMI baategeezezza mu kiwandiiko nti Sejusa abadde mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bingi mu magye ne Gavumenti omuli; okukwanaganya ekitongole ekikessi, omuwi w’amagezi owa Pulezidenti, omubaka wa Palamenti owa UPDF, n’ebirala nti akyasobola okutiisa abajaasi abagenda okumuwaako obujulizi kuba abasinga baaliko wansi we.

Mushabe yayambalidde Col. Kagoro nti Sejusa talina ngeri yonna gy’ayinza kutaataaganya kunoonyereza wadde okutiisatiisa abajulizi kubanga emisango egimuvunaanwa busangosango obwetobeseemu ebyobufuzi.

Ssentebe wa kkooti, Maj. Gen. Karuhanga yagambye nti ensala ye wa kugiwa nga February 23, 2016 n’alagira Sejusa azzibweyo ku alimanda e Luzira.

Okusooka kkooti yagobye okusaba kwa balooya ba Sejusa abaabadde bawakanya obuyinza bwayo ku Sejusa nga bagamba nti takyali mu UPDF.

Mushabe yagambye nti enneeyisa ya Gavumenti ne UPDF eri Gen. Sejusa yeeraga lwatu nti yava dda mu magye n’agattako nti Sejusa alina n’omusango gwe yawaaba mu Kkooti Enkulu nga ssinga aguwangula, emisango egimuvunaanibwa mu kkooti y’amagye gibeera gifa.

Kyokka kino. Col. Kagoro yakiwakanyizza nti okuggyako nga Sejusa aleese mu kkooti ebbaluwa y’amagye ekakasa nti yawummula, akyali ofiisa ow’oku ntikko owa UPDF.

EBYO KWERINDA BINYWEZEDDWA

Ebyokwerinda byabadde gguluggulu, ku kkooti e Makindye okuva ku ssaawa 2:00 ez’oku nkya, abantu baabulijjo omwabadde n’ehhanda za Sejusa lwe baatandise okweyiwa ku kkooti okutuuka ku ssaawa 9:30 ez’olweggulo, kkooti lwe yayabuse.

Gen. Sejusa yatuusiddwa ku kkooti ku ssaawa 4:40 mu luseregende lwa mmotoka ttaano okwabadde kabangali za Militale bbiri, bbaasi y’amakomera, mwe yabadde atudde obwomu ng’asibiddwa empingu ku mikono gyombi n’emmotoka endala.

Mu kkooti waasooseewo eyali mbega wa ISO, Capt. Emmy Katabaazi naye avunaanibwa emisango egyekuusa ku kwenyigira mu byobufuzi n’okudduka mu magye. Katabaazi muko wa Amama Mbabazi.

ABA SEJUSA BAKWATIDDWA

Poliisi yakutte abavubuka musanvu abaabadde bazze ku kkooti y’amagye e Makindye nga bambadde ti-saati okuli ebifaananyi bya Gen. Sejusa nga balina n’ebipande.

Baabadde mu kibinja ky’abantu abasoba mu 30 kyokka abalala beemuludde. Abaakwatiddwa baatwaliddwa ku poliisi e Katwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...

Kasubibwafanana2 220x290

'Abaganda temuggwaamu ssuubi, omulimu...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Abaganda obutaggwaamu ssuubi, omulimu gw’okumaliriza Muzibwazaalampanga mu...

Nalwoga2 220x290

Bbebi w'omwaka 1 agudde mu kinnya...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Lweza A, omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu bw’asangiddwa ng’afiiridde mu kinnya...

Sheikhnuhumuzaatangabuulira 220x290

Muzaata alumirizza abakulembeze...

Muzaata yakuutidde Abasiraamu okwewala abantu abaagala okubeeyambisa okuggusa ebyabwe era bakomye n’emize egy’okwekutulamu...