TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Enkaayana zaabebibanja ne bannannyini ttaka zaakufuuka lufumo - Museveni

Enkaayana zaabebibanja ne bannannyini ttaka zaakufuuka lufumo - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2016

Museveni leero atandikidde mu Busiro South mu disitulikiti y'e Wakiso okunoonya akalulu ng'olukug’aana alukubye ku kisaawe kya Nakawuka mu ssaza ly'e Ssisa gy'ayaniriziddwa abawagizi ba NRM mu mizira.

Yongeza1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'awenja akalulu e Busiro South

Ng'ebula ennaku 8 zokka Bannayuganda okukuba akalulu k'Obwapulesizidenti, akwatidde NRM bendera, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okusaggula ebitundu bya Buganda (Wakiso) ng'anoonya akalulu.

Museveni leero atandikidde mu Busiro South mu disitulikiti y'e Wakiso okunoonya akalulu ng'olukug’aana alukubye ku kisaawe kya Nakawuka mu ssaza ly'e Ssisa gy'ayaniriziddwa abawagizi ba NRM mu mizira.

Pulezidenti ng'ayogerako eri abalonzi ababadde bamulindiridde yagambye nti waakugonjoola ekizibu ky'ebbula ly'amasanyalazze gatuuke mu mu bitundu ebitannagafuna okuli; Kikaaya, Kasange Primary School, Kasuku, Owino, Nankonge, Nampeera n’ebitundu ebilara.

Museveni era akkaatirizza nti gavumeenti yaakusasula ba landiloodi bonna mu ggwanga okusobola okuyamba abantu b’ebibanja okufuna ebyapa by'ettaka okumalawo enkayaana z'ettaka mu ggwanga wabula n’awera eky’okusenda abantu ku ttaka mu kiseera kino.

 

Bya Joyce Nakato


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Eriksen 220x290

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.