TOP

M7 akwasizza Abasiraamu ekyapa kya William

Added 13th February 2016

Omukiziti guno oguyitibwa ‘Masjid Noor’ ogusangibwa ku Plot 30 ku William Street n’amaduuka agali ku Plot. 102 mu Kampala wakati bye bimu ku mmaali y’Obusiraamu, ab’ekiwayi ky’e Kibuli bye balumiriza obukulembeze bwa Mufti Shaban Mubajje okutunda mu ngeri ey’amancoolo mu March 2005 era kwe baasinziira okumutwala mu kkooti mu 2006.

 Pulezidenti Museveni ng’akwasa Mufti Sheikh Ramathan Mubajje ekyapa ky’omuzikiti gwa William ogusangibwa ku Plot 30. Baabadde mu kusaala Juma e Kampalamukadde eggulo. Ekyapa kye kimu yakiraze n’ab’e Kibuli be yasisinkanye e Naggalama.

Pulezidenti Museveni ng’akwasa Mufti Sheikh Ramathan Mubajje ekyapa ky’omuzikiti gwa William ogusangibwa ku Plot 30. Baabadde mu kusaala Juma e Kampalamukadde eggulo. Ekyapa kye kimu yakiraze n’ab’e Kibuli be yasisinkanye e Naggalama.

PULEZIDENTI Museveni akwasizza Abasiraamu ekyapa ky’omuzikiti gwa William Street n’agamba nti yabadde atuukiriza bweyamo bwe yakola oluvannyuma lw’okumusaba abanunulire omuzikiti gwabwe ogwali gutundiddwa.

Omukiziti guno oguyitibwa ‘Masjid Noor’ ogusangibwa ku Plot 30 ku William Street n’amaduuka agali ku Plot. 102 mu Kampala wakati bye bimu ku mmaali y’Obusiraamu, ab’ekiwayi ky’e Kibuli bye balumiriza obukulembeze bwa Mufti Shaban Mubajje okutunda mu ngeri ey’amancoolo mu March 2005 era kwe baasinziira okumutwala mu kkooti mu 2006.

Pulezidenti Museveni yali yasuubiza Abasiraamu mu kalulu ka 2011 okununula omukiziti gwabwe ogwali gwaguzibwa kkampuni ya Haks Express Limited eya Nnaggagga Hassan Basajjabalaba n’oluvannyuma n’aguguza omugagga Drake Lubega.

Museveni yasinziira Mpigi nga February 1, 2011 n’asuubiza nga bwe yali agenda okusasula omugagga Lubega, okununula omukikiti gw’oku William wamu n’amaduuka era eggulo, lwe yatuukirizza obweyamo.

Yasoose Nakifuma n’akwasa ab’ekiwayi ky’e Kibuli ekyapa n’oluvannyuma n’agenda e Kampalamukadde n’akwasa Mufti Mubajje ekyapa kye kimu.

Omukolo gw’e Naggalama, Museveni yagukoledde ku ttendekere lya Bamaseeka erisangibwa e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono.

Pulezidenti Museveni ng’alaga ekyapa kino e Naggalama.

 

Ekyapa yakikwasizza Sheikh Obedi Kamulegeya ng’ali wamu n’omu ku bamyuka ba Supreme Mufti w’e Kibuli, Sheikh Mohmood Kibaate.

Abakungu ba Gavumenti ab’enjawulo baabaddewo ku mukolo guno ogwabadde omumpimpi nga ku bo kwabaddeko minisita avunaanyizibwa ku by’amateeka, Fred Ruhindi, Prof. Tarsis Kabwegyere avunaanyizibwa ku guno na guli, abakungu ba Muvumenti mu disitulikiti y’e Mukono n’abamu ku bakulembeze b’Obusiraamu mu Mukono.

Pulezidenti yategeezezza nti ekyapa kino baasooke kukitereke mu bbanka nga bwe bakola ku butakkaanya obuliwo.

Bwe yavudde e Nakifuma, Pulezidenti yakutte ekyapa kye kimu n’akitwala e Kampalamukadde n’akikwasa Mufuti Shaban Mubajje ku mukolo ogwategekeddwa munda mu mukiziti gwa Gadaffi Mosque oluvannyuma lw’okusaalaJ uma.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa amaka g’Obwapulezidenti eggulo kyategeezezza nti Pulezidenti Museveni yakwasizza Mubajje ekyapa ky’oku William n’amutegeeza nti “ Kiikino ekyapa ky’ettaka ly’oku William, nkisasulidde”.

Museveni ng’ayogera eri Abasiraamu mu muzikiti gwa Kampalamukadde. Ku ddyo ye Mufti Shaban Mubajje.

 

Omu ku beetabye ku mukolo gw’e Kampalamukadde yategeezeza nti Pulezidenti yannyonnyodde nti ekyapa kigenda kuterekebwa mu bbanka gye kigenda okukuumibwa okutuusa ng’enkaayana mu Basiraamu zinogeddwa eddagala Lubega agamba nti Poloti okuli omuzikiti guno yagisasula ddoola za Amerika obukadde bubiri (mu za Uganda obuwumbi busatu n’obukadde 200 mu 2005) kyokka nga tekyategeerekese oba Pulezidenti Museveni okumusasula alina ssente ze yayongeddemu ng’amagoba.

Olukiiko olufuga Obusiraamu e Kampalamukadde lwatuula ne luyisa ekiteeso eky’okutunda omuzikiti guno ensimbi ezivaamu zeeyambisibwe okussaawo ebintu omunaavanga ensimbi ezeeyambisibwa okukola emirimu egitali gimu ku kitebe ky’Obusiraamu n’okulabirira omuzikiti omukulu mu ggwanga.

Omugagga Hassan Basajjabalaba yagula omuzikiti guno mu kusooka oluvannyuma n’aguguza omugagga Drake Lubega era wano enkaayana ez’amaanyi mu Basiraamu we zaatandikira ng’abamu bawakanya eky’okutunda omuzikiti guno.

Enkaayana zino zaagenda wala ab’e Kibuli ne batuuka n’okwerondera Supreme Mufti owaabwe nga bagamba nti baali tebayinza kukulemberwa Mufti Shaban Mubajje eyatunda ebintu by’Obusiraamu.

Museveni ng’abuuza ku Tindyebwa eyeesimbyewo ku ky’omubaka wa Lubaga North. Ku ddyo ye Raga Dee.

 

Abatabuliiki nga bakulemberwamu Bamaseeka okuli omugenzi Hassan Kirya, Bahiga, Sadiq, Maj. Mohamad Kiggundu n’abalala beegatta ku Kibuli okuwakanya okutundibwa kw’omuzikiti guno era baagenda mu kkooti nebawaaba omusango. K

yokka omusango Lubega yagusinga n’asigaza ekyapa n’akalambira nti okukibaddiza baali bateekeddwa okumusasula ensimbi ze yali ayagala.

Wano Pulezidenti we yabiyingiriramu n’asuubiza okuyamba ku Basiraamu okununula omuzikiti guno n’akituukiriza olunaku lw’eggulo n’abakwasa ekyapa omuzikiti ne gubaddira.

Pulezidenti Museveni yasiibye atalaaga ebitundu bya Kampala eby’enjawulo nga yasookedde ku kitebe ekikulu eky’Obusiraamu e Kampalamukadde, n’agenda e Kawaala ku St. Peters, n’adda ku Bahai, n’amaliriza n’olukuηηaana mu Yunivasite e Makerere. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...