TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Besigye akwatiddwa n'atwalibwa e Kasangati mu makaage: Awera kudda mu kibuga akube enkung'aana ze

Besigye akwatiddwa n'atwalibwa e Kasangati mu makaage: Awera kudda mu kibuga akube enkung'aana ze

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2016

Dr. Kizza Besigye, akwatidde FDC bendera okuvuganya ku Bwapulezidenti poliisi emukutte n'emutwala mu makaage e Kasangati.

Went1 703x422

Besigye ng'ali n'abawagizi be ku Jinja Road oluvannyuma lw'okugaanibwa okuyingira ekibuga . Ebifaananyi bya Kenedy Oryema

Dr. Kizza Besigye, akwatidde FDC bendera okuvuganya ku Bwapulezidenti poliisi emukutte n'emutwala mu makaage e Kasangati.

Besigye akwatiddwa aduumira poliisi ya CPS mu Kampala, Aron Baguma.

Besigye okukwatibwa kiddiridde okugenda ku Nasser Road okukuba olukug'aana ng'enteekateeka ya kampeyini ye bw'ebadde kyokka bw'atuuse ku Jinja Road ku bitala poliisi n'emusaba okuyita ewa Mukwano.

 

Besigye kino akigaanye era olutuuse ku Kitgum House Poliisi n'esalako mmotoka ye n'asalawo okutambuza ebigere ekiviriddeko polisi okukuba mu bawagizi be tiyaggaasi okubagumbulula.

W'osomera bino ng'asimbudde okuva mu maakage e Kasangati okuddamu okwolekera ekibuga akube enkung'aana ze mu Kampala.

Bya Cissy Namugerwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...