TOP

Mwewale obulimba bw'abooludda oluvuganya Gavt. - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2016

Bino Museveni yabyogeredde mu lukug’aana lw'akubye ku kisaawe ky’omuzannyo gwa Cricket mu disititulikiti y'e Mbale gy'abadde ng'ajjukiza abalonzi ku bubaka bw'azze abatuusaako mu nnaku 89 z'amaze ng'akuba kampeyini y'akalulu k'Obwapulezidenti akagenda okukubwa ku Lwokuna lwa wiiki eno nga 18.

Tororo2 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogerera mu lukung'aana mu disitulikiti y'e Tororo

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni akubirizza abalonzi obutawuliriza bulimba bwa bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya gavumenti.

Bino Museveni yabyogeredde mu lukug’aana lw'akubye ku kisaawe ky’omuzannyo gwa Cricket mu disititulikiti y'e Mbale gy'abadde ng'ajjukiza abalonzi ku bubaka bw'azze abatuusaako mu nnaku 89 z'amaze ng'akuba kampeyini y'akalulu k'Obwapulezidenti akagenda okukubwa ku Lwokuna lwa wiiki eno nga 18.

Pulezidenti Museveni asoose kunnyonnyola ensonga emukomezzaawo mu kifo kino n'ategeeza nti lwe yasooka okuggya e Mbale obudde bw'ali bugenza, n’olwekyo teyasobola kutuusa bubaka bwe nga bwe yali asuubira nga kino kye kyamuwalirizza okukomawo.

Museveni yategezzeza nti bannabyabufuzi bano bazze babalimba ku nsonga nnyingi nga kino era kye kyamuwalirizza n’okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okw'abeesimbyewo ku bukulembeze bw'eggwanga ku Lwomukaaga oluwedde okusobola okuggyawo obulimba buno.

Wabula omukulembeze w'eggwanga yanenyezza John Patrick Amama Mbabazi owa Go Forward n'agamba nga eyali ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, anenyezebwa olw'okunafuya ekitebe kya NRM ne kiremererwa n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwakyo obw’okunnyonnyola abantu ku pulogulaamu za NRM.

Mu lukug’aana lwe lumu, Museveni ajjukizza abalonzi ebyo ebituukiddwaako ekibiina kye naddala mu nsonga z’eby'enkulaakulana mu kitundu kino omuli okuzimba obutale obupya, okussa ensimbi mu kibiina kyabwe eky’obwegassi ekya Bugisu Cooperative Union nga kuno kw'otadde n’enteekateeka ez’okubazimbira ekifo ky'amakolero.

Bya Joyce Nakato

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...