TOP

Museveni, Besigye ne Mbabazi bazze n’amaanyi leero mu Kampala

By Ahmed Mukiibi

Added 16th February 2016

Olwaleero kampeyini z’obwapulezidenti n’ababaka ba Palamenti lwe ziggwa olwo Bannayuganda 15,277,198 abeewandiisa, bagende mu bifo ebironderwamu 28,010 ebisangibwa mu byalo 57,842 ebiri mu Uganda yonna.

Valentine1 703x422

Pulezidenti Museveni, Mbabazi ne Besigye bonna leero bali mu Kampala

Pulezidenti Museveni, Col. Kiiza Besigye ne Amama Mbabazi bonna bali mu Kampala olwaleero mu nkuhhaana ze bategese okukomekkereza kampeyini ezikulungudde ennaku 101.

Olwaleero kampeyini z’obwapulezidenti n’ababaka ba Palamenti lwe ziggwa olwo Bannayuganda 15,277,198 abeewandiisa, bagende mu bifo ebironderwamu 28,010 ebisangibwa mu byalo 57,842 ebiri mu Uganda yonna.

Museveni agenda kukuba olukuhhaana lwe olusembayo mu kisaawe e Kololo. Aba NRM bagambye bakunze abantu kakadde kalamba okulwetabako.

Omwogezi w’akakiiko akanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu, Mike Ssebalu yategeezezza Bukedde nti kandideeti Museveni bw’anaaba tannagenda Kololo, waakusooka Mukono.
Dr. Besigye owa FDC agenda kusooka kutalaaga Divizoni y’e Nakawa ng’ava zooni ku zooni n’oluvannyuma akube olukuhhaana e Nakawa okumpi n’akatale.

Omwogezi wa FDC, Semujju Nganda yategeezezza nti Dr. Besigye yabadde ateeseteese okukuba olukuhhaana lwe olusembayo e Nakivubo kyokka abaddukanya ekisaawe baamwefuulidde ku ssaawa esembayo nga kati basazeewo okutetenkanyiza awalala.

Amama Mbabazi agenda kukeera kutalaaga ebitundu bya Wakiso Town Council gy’agenda okuva adde e Ntebe, ayitemu e Kajjansi, agende e Nateete, Kasubi n’oluvannyuma akube olukuhhaana e Makerere.

Omwogezi w’ekisinde kya Go Forward, Mike Mabikke yategeezezza nti Mbabazi agenda kubeera mu Wakiso ne Kampala n’annyonnyola nti Mbabazi agenda kukeera bukeezi okutalaaga ebitundu by’e Wakiso, Ntebe, Kajjansi, Nateete, Kasubi amalire e Makerere ku Yunivasite.

Abed Bwanika agenze Masaka gy’azaalibwa okufaananako nga ne Polof. Baryamureeba naye ali ku butaka bwe e Ibanda mu Ankole ate Mabiriizi ne Maureen Kyalya bali mu Luuka mu Busoga.

AMAANYI GA MUSEVENI

  • Okunyweza ebyokwerinda n’obutebenkevu bw’eggwanga.
  • Ebyobulamu; Museveni ateeseteese okuzimba amalwaliro amanene mu buli disitulikiti, konsitityuwensi n’amagombola gonna ateekemu eddagala n’abasawo.
  • Okwongera okukola enguudo.
  • Okutondawo emirimu naddala okuyamba okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka.
  • Okussaawo ensawo ya ssente ezisoba mu buwumbi 1,000 ng’ezookugenda ku nsawo y’abakyala ziri buwumbi 234, SACCO ya buwumbi 180, Ssaayansi n’ebyobuyiiya obuwumbi 500.
  • Okunyweza ebyenjigiriza ku mitendera gyonna.
  • Okugulira abaana b’amasomero bonna mu Uganda Yunifoomu.
  • Okugulira abaana abawala ab’amasomero aga Pulayimale ne Ssiniya ‘Ppaadi’ okwesabika nga bali mu nsonga.
  • Okugulira abaana b’amasomero ebitabo, emikebe egikozesebwa mu ssomo ly’okubala egiyitibwa ‘Geometry Sets’, wamu n’ekkalaamu enkalu n’eza bwino.
  • Okuteerawo abakyala n’abavubuka ensawo okwewolamu ensimbi.
  • Abavubuka, Museveni yabasuubizza okwongera obuwumbi 134 mu nsawo yaabwe eyitibwa Youth Fund..
  • Pulezidenti era yasuubizza okugulira ettaka ab’ebibanja mu Buganda.

EBISUUBIZO BYA BESIGYE

  • Okukendeeza omuwendo gwa baminisita.
  • Okukendeeza ku muwendo gw’ababaka ba Palamenti.
  • Okwongeza bajeti y’ebyobulimi okutuuka ku bitundu 15 ku 100 okuva mu bitundu 3 ku 100 eziweebwayo gavumnenti ya NRM.
  • Buli Munnayuganda eyanyagibwako ettaka lye, Besigye yasuubizza okulimuddiza.
  • Abasomesa ba Pulayiale, Besigye yabasuubizza omusaala gwa 650,000 buli mwezi ate abasomesa ba siniya 1,000,000/ buli mwezi.
  • Buli muyizi wa siniya, Besigye yamusuubizza kompyuta.
  • Besigye asuubizza okuggyawo ekifo kya RDC n’ekyabawabuzi ba Pulezidenti.
  • Ab’e Busoga, Besigye yasuubizza okubateera mu bajeti omutemwa ogw’enjawulo okubagulira amabaati.

EBISUUBIZO BYA MBABAZI

  • Abaaziirwanako bonna abakyabanja gavumenti, Mbabazi agamba bagenda kusasulwa.
  • Abasomesa, abaserikale ba Poliisi n’amagye, n’abakozi ba gavumenti abalala, Mbabazi yabasuubizza okubasasula obulungi kyokka teyayogedde misaala gy’agenda kubawa buli mwezi.
  • Mbabazi yasuubizza okuwera emisolo gyonna egibinikibwa ku bantu obutereevu alekewo emisolo egissibwa ku byamaguzi n’ebikozesebwa ebirala.
  • Ebibiina by’obwegassi ebyasasika, Mbabazi yagambye nti agenda kubizzaawo ng’awangudde obwa Pulezidenti.
  • Oluguudo lw’eggaali e Kasese, Mbabazi agamba nti waakuluzzaawo ng’awangudde obwa Pulezidenti.
  • Kabaka w’e Rwenzururu, yamusuubizza okumuzimbira olubiri olw’omulembe ng’awangudde obwapulezidentu.
  • Tewajja kubaawo kukuba ttiyaggaasi mu bantu nga Mbabazi awangudde obwapulezidenti.
  • Museveni, Besigye ne Mbabazi bavuganya n’abalala bataano ng’okulonda kwa nga February 18.


Yasuubizza okussaawo amakubo agayamba abantu okutandikawo emirimu egiyinza okubaggya mu bwavu bafune emerimbe egya namaddala.

ENSONGA EZIGENDA OKUSALAWO AKALULU:

Eggulo lwe zaaweze ennaku 100 eza kampeyini nga bonna omunaana abeesimbyewo ku bwapulezidenti batambudde Uganda yonna nga banoonya obululu.

Wabula ng’oggyeeko Pulezidenti Museveni ne Dr. Besigye abasobodde okumalayo zonna disitulikiti 112, abasigadde balina disitulikiti ezimu ze batatuuseemu.

Pulezidenti Museveni yasobodde okumalayo disitulikiti zonna n’adda ne mu ze yali yamaliriza omuli; Mbale, Jinja, Gulu, Arua, Tororo ne Soroti okuttaanya.

Wakati mu kutalaaga eggwanga, abeesimbyewo bonna ababadde n’ensonga ze basimbyeko essira era ze baagala abalonzi basinziireko mu kulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...