TOP

Kiggwa leero

By Ahmed Mukiibi

Added 18th February 2016

Ebyo byakomye nga February 16, 2016 ku ssaawa 6:00 ez’omu ttumbi, ekisigadde be balonzi okusalawo ani gwe bawa akalulu!

Leaders703422 703x422

ZIBADDE ennaku 101 ez’okwogera, ng’abavuganya ku ntebe y’Obwapulezidenti n’ababaka ba palamenti baperereza abalonzi.

Ebyo byakomye nga February 16, 2016 ku ssaawa 6:00 ez’omu ttumbi, ekisigadde be balonzi okusalawo ani gwe bawa akalulu!

Era ddala kiggwa leero. Abavuganya ku bwapulezidenti abaatandika okutalaaga eggwanga nga November 9, 2015 kuliko; Yoweri Kaguta Museveni (NRM), Dr. Warren Kiiza Besigye Kifeefe (FDC), John Patrick Amama Mbabazi (talina kibiina), Dr. Abed Bwanika (PDP), Maj. Gen Benon Biraaro (UFP), Polof. Venansius Baryamureeba (talina kibiina), Elton Joseph Mabirizi (talina kibiina) ne Maureen Faith Kyalya (talina kibiina).

KIGGUNDU AKKIRIZZA ESSIMU WE BALONDERA

Ssentebe w’akakiiko k’Ebyokulonda, Ying. Badru Kiggundu addirizza ku nnatti n’akkiriza abantu okugenda n’essimu zaabwe mu bifo ebironderwamu kyokka baziggyeko nga batuuse mu layini n’oluvannyuma bazizzeeko nga bamaze okukuba akalulu nga bali mu mmita 50 okuva awalonderwa.

Ying. Kiggundu era alagidde abalonzi nti bwe bamala okukuba akalulu, baddeyo ewaabwe bakole ebyabwe , balinde akawungeezi ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo baddeyo okubaawo ng’obululu bubalibwa n’okulangirirwa.

Bino yabitegeezezza mu bubaka bwe obusembayo eri abalonzi nga beetegekera okulonda ku Lwokuna, okwa Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti 402, okuli abakyala 112 aba disitulikiti n’abakiikirira Konsitityuwensi 290.

Kiggundu yagambye nti ebikozesebwa byonna mu kulonda byatuuse dda ku magombolola gonna 1,403 agali mu Uganda era zinaagenda okuwera essaawa 1:00 ey’oku makya nga byatuusiddwa dda wonna mu bifo 28,010 awalonderwa.

AWANGUDDE ALANGIRIRWA KU LWAMUKAAGA

Okukuba akalulu kutandika ku ssaawa 1:00 ez’oku makya kukomekkerezebwe ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo wonna mu ggwanga.

Kiggundu yakakasizza Bannayuganda nti ebijjuvu ebinaava mu kulonda kwa Pulezidenti ajja kubirangirira nga essaawa tezinnasukka 10:00 ez’olweggulo ku Lwomukaaga kubanga etteeka limulagira obutasussa ssaawa 48 okubifulumya.

Yannyonnyodde ku birina okugobererwa mu biseera ebyokulonda n’oluvannyuma ng’okulonda kuwedde n’agamba nti etteeka limuwa obuyinza obwenjawulo bw’asobola okukozesa singa embeera ebeera yeetagisizza.

“ Abantu baddembe okugenda n’amasimu gaabwe mu kifo ebyokulonda,. kye twagaanye be bantu okukozesaa essimu zaabwe okukuba ebifaananyi abantu abali mu kulonda oba okwogerera ku ssimu mu kifo awalonderwa,” Kiggundu bwe yategeezezza Bukedde eggulo.

Ab’ebyokwerinda abalabirira ebifo ebironderwamu, Ying. Kiggundu yagambye baweereddwa ebiragiro, okukakasa nti buli muntu atuuka mu kifo awalonderwa, essimu ye aggiggyako, n’alyoka asimba layini okulonda oluvannyuma n’agizzaako ng’ali mita nga 50 okuva awalonderwa.

Kiggundu yagambye nti abantu bokka abakkirizibwa okukozesa amasimu gaabwe be balabirira ebyokulonda ne Baagenti ab’abeesimbyewo kyokka nabo tebakkirizibwa kukuba balonzi bifaananyi kubanga okwo kubeera kumalako balonzi ddembe lyabwe nga bakuba akalulu.

“Baagenti b’abeesimbeyo tubakkirizza okubeera n’essimu kubanga bayinza okwagala okwogera ne bakama baabwe kyokka tubagaanyi okukuba abalonzi ebifaananyi,” Kiggundu bwe yagambye.

Kiggundu yakakasizza Bannayuganda nti ebyokwerinda biri gguluggulu kubanga ku buli kifo ebironderwamu, byonna 28,010, bataddeko omuserikale wa Poliisi n’agattako nti wajja kubaawo n’amagye nga galawuna okwahhanga embeera yonna eyinza okubalukawo.

Ku buli kifo awalonderwa, Kiggundu yagambye nti akakiiko k’ebyokulonda kataddewo abantu bataano (5), ekitegeeza nti akakiiko kapangisizza abantu abasoba mu 140,000 okulabirira ebyokulonda.

Kiggundu yalabudde abeesimbyewo obutagezaako kwerangira oba okufulumya omugatte gw’ebivudde mu kulonda n’alabula nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga kiri bulindaala okuggalawo omukutu gw’Empuliziganya ogunaamenya amateeka g’ebyokulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...