TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omulambo gw'omuwala gutabudde bboosi n'omukozi nga buli omu agamba ye kitaawe!

Omulambo gw'omuwala gutabudde bboosi n'omukozi nga buli omu agamba ye kitaawe!

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2016

Bino bibadde mu Kamalimali Zooni, omuwala w’omu kitundu bwe yafudde ddereeva wa bbaasi ne kondakita we ne balumba nnyina nga buli omu asaba omulambo agutwale guziikibwe ku biggya bya bajjajjaabe olwa kye baayise obutazaayisa musaayi.

Lambo1 703x422

AMAWANO gagudde e Bwaise okumpi ne Kampala, bboosi n’omukozi we bwe balwanidde omulambo gw’omuwala nga buli omu amukaayanira nti ye kitaawe omutuufu.

Bino bibadde mu Kamalimali Zooni, omuwala w’omu kitundu bwe yafudde ddereeva wa bbaasi ne kondakita we ne balumba nnyina nga buli omu asaba omulambo agutwale guziikibwe ku biggya bya bajjajjaabe olwa kye baayise obutazaayisa musaayi.

Katemba ono yabaddewo ggulo mu maka ga Madiinah Kisakye 42, eyafiiriddwa muwala we ku Ssande obulwadde bw’omutwe abasajja babiri ne bajja okumubanja nga buli omu yamutuuma amannya agage.

Omusajja omu, Abdul Nazigo yavudde Luweero ng’agamba nti omugenzi mwana we bwoya nga yamutuuma Fizal Nannono.

Omulala, Muhammed Wasswa, nzaalwa y’e Masaka nga yategeezezza nti omugenzi mu kika kye baamuwa lya Mariam Nansamba era yalumye eggiiko nti, “Okufa n’obutanyagwa omulambo ngutwala ku biggya bya bajjajjaffe e Kingo, Masaka.” Wasswa ye yali ddereeva nga Nazigo akola nga kondakita we.

 isakye Kisakye

 

Madiinah Kisakye, nnyina omuto ow’omugenzi, bakoddomi be (abasajja abakaayana) bombi baamulumirizza nga bw’azze abaggyangako obuyambi bw’omwana mukulu we, Sarah Nalwanga (mukazi waabwe) gwe yamulekera omuli fiizi, emmere, obujjanjabi n’ebirala. Omugenzi abadde yafumbirwa Saul Mpinga e Kanyanya mu munisipaali y’e Kawempe.

WASSWA ALUMIRIZA:

Wasswa yagambye nti omuwala eyafudde wuwe bwoya nga ne Nazigo akimanyi bulungi kuba gwe yatumangayo okutwala ssente z’obuyambi.

“Sarah baamumpeera ddala mu butongole ne mmukuba n’embaga, ne tubeera ffembi okumala ebbanga okutuusa ebizibu bwe byatwawula n’adda ewaabwe.

Namwanjula mu kika kyaffe e Masaka n’omuwala gwe namuzaalamu ne tumutuuma Mariam Nansamba. Nneewuunya okulaba nga Nazigo, eyali kondakita wange afunvubira okubba omusaayi gwange kye sijja kukkiriza”

NAZIGO ANNYONNYOLA:

“Okumanya omwana wange, oyo Wasswa wadde ye yali mukama wange, bwe yantumanga okutwala obuyambi nabutuusanga kyokka ng’emikolo gy’ekisajja nze ngimala.

Sarah bwe yafuna olubuto yantemyako ne mmuwanga obuyambi era Wasswa bwe yali amuggyako omwana yamubuulira ekituufu n’agaana okukkiriza nti si wuwe. Enkaayana zino twazituusaako ne ku poliisi y’e Kawempe.”

OLUTALO LW’ABEN'GANDA:

Wakati mu kusika omuguwa n’okuwaanyisa ebigambo kw’ani nnannyini mwana, abehhanda za Wasswa ne Nazigo baatandise okulwanagana era katono ab’oludda lwa Nazigo basinze amaanyi kubanga baabadde bazze ne ssanduuko wamu ne bbaasi bbiri ezaabaddemu abaziisi abaabadde bagutwala e Luweero.

 mugenzi isakye Omugenzi Kisakye

 

Aba Wasswa bazze ngalo nsa kyokka wadde baabadde batono baawagiddwa abatuuze abasinga naddala abaavudde mu Bokassa Zooni, Wasswa mwe yali asula nga bakyayagalana ne Sarah, nnyina w’omuwala eyafudde.

Bano era baagambye nti ssanduuko eyaabwe baabadde bagiguze nga yabadde tennatuuka butuusi Olutalo lw’ani atwala omulambo lwawalirizza Conrad Muzoola, omukwanaganya wa poliisi y’e Kawempe n’omuntu wa bulijjo, okuyitayo abaserikale abalala ku poliisi y’e Kawempe.

Bano bazze nga bakulembeddwaamu atwala poliisi y’e Kawempe, Wilfred Bagenda ne bakkakkanya abehhanda abaabadde beesaze akajegere nga buli ludda luwera nga bwe lulina okutwala omulambo ku biggya byalwo.

Yagubaggyeeko ku mpaka n’agutwala mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okutegeeza enjuyi zombi nti abasajja bombi abagukaayanira bagenda kusooka baggyibweko omusaayi bakeberwe endagabutonde okuzuula kitaawe w’omugenzi omutuufu.

 mulambo obwedda gukuumwa poliisi Omulambo obwedda gukuumwa poliisi.

 

Abasajja bombi (Wasswa ne Nazigo) bakkaanyizza buli omu adde ewuwe akume olumbe okutuusa poliisi lw’eneebayita bakeberwe omusaayi.

Bino byonna okubaawo nga Madiinah Kisakye (nnyina omuto ow’omugenzi) poliisi yamuggyeewo dda n’emukweka abatuuze abaabadde abanyiivu n’okumulangira obukuluppya nti bwe bwamutuusa okusabanga abasajja bombi ssente z’obuyambi.

Bagenda, ofiisa wa poliisi, yakakasizza ng’ensonga z’okukaayanira omwana bwe babadde bazimanyiiko naye nga babadde tebannabatuusa ku kukkaanya.

Yalabudde abakazi okukomya okugattika abasajja n’abasaba boogerenga amazima okwewala ebizibu by’omu maaso.

Akavuvung’ano kano kaaleese ne bannabyabufuzi b’omu kitundu omuli; omubaka Latif Sebaggala (Kawempe North), n’avuganya ku bwameeya bwa Munisipaali y’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi, abaabadde basemba omugenzi aziikibwe mu limbo nti kuba nnyOmufu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kika1 220x290

Abattira ku pikipiki bakubye abawala...

ABAZIGU b'emmundu bayingiridde edduuka eritunda emmere y’ebisolo ne bakuba abantu babiri amasasi, emisanattuku...

Mugimu 220x290

Engeri Poliisi gye yanyaga D.r...

Muganda wa Dr. David Mugimu eyafudde agambye nti bukya Mugimu bamunyagako ssente obukadde 700 abadde ng’eyawunga....

Yogera 220x290

Bakutte Omutabbuliiki ku by'okutta...

Omutabbuliiki ku muzikiti gw’e Nakasero akwatiddwa ebitongole by’Ebyokwerinda nga kigambibwa nti yali ku by’okutta...

Seka 220x290

Abawagizi ba Bobi battunka ne poliisi...

OKUSIKA omuguwa wakati w’abawagizi ba Bobi Wine n’abeebyokwerinda lutandikiddewo, ng’entabwe eva ku nteekateeka...

Kwata703422 220x290

Basabye kkooti ebakkirize okulumiriza...

ABANTU abaakosebwa mu bikolobero bya Jamir Mukulu eyali akulira abayeekera ba ADF basabye Kkooti Enkulu nabo ebakkirize...