TOP

Obulwadde bugwiridde Kenzo ne bamuddusa mu ddwaaliro ng'ataawa

By Martin Ndijjo

Added 1st March 2016

Ku ssaawa 4:00 mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri, Kenzo eyabadde yaakadda mu ggwanga okuva e Kenya olwavudde ku kisaawe e Ntebe yagenze butereevu mu ddwaaliro lya Malcom e Kibuye gye yaweereddwa ekitanda ng’awulira obulwadde bumunnyinnyitidde.

Kenzo1 703x422

Rema Namakula ng'abudaabuda bba Eddie Kenzo mu ddwaaliro. EKIF: MARTIN NDIJJO

Omuyimbi Eddy Kenzo (Edirisa Musuza) aweereddwa ekitanda oluvannyuma lw’obulwadde okumugwira ng’agenze okuyimba e Nairobi mu Kenya ekyewanisizza abawagizi be emitima.

Ku ssaawa 4:00 mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri, Kenzo eyabadde yaakadda mu ggwanga okuva e Kenya olwavudde ku kisaawe e Ntebe yagenze butereevu mu ddwaaliro lya Malcom e Kibuye gye yaweereddwa ekitanda ng’awulira obulwadde bumunnyinnyitidde.

Mukyala we, omuyimbi Rema Namakula eyasangiddwa mu ddwaaliro yategeezezza nti Kenzo yabadde teyeewulira bulungi nga tamanyi kimuluma era mu kifo ky’okusooka eka, kwe kusalawo asooke mu ddwaaliro afune ku bujjanjabi kyokka eno abasawo bagenze okumwekebejja ng’atawanyizibwa ‘alusa’ ate ng’alina n’omusujja gw’omu byenda.

Abasawo baamuwadde amagezi bamuwe ekitanda asobole okufuna obujjanjabi obumala.

Eggulo Rema yategeezezza nti oluvannyuma lw’obujjanjabi n’okumuteekako eccupa z’eddagala n’amazzi, embeera yagenze erongooka era basuubira ekiseera kyonna waakusiibulwa.

Waliwo omu ku mikwano gya Kenzo eyagambye nti babadde balowooza nti obuzibu buvudde ku Kenzo okumala ebbanga ng’ayimba mu bivvulu eby’okumukumu ate nga tawummula.

Wiiki ewedde Kenzo yagimaze mu bivvulu e Adjumani, Koboko ne Arua gye yavudde okugenda e Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...