TOP

Ebizuuse mu Poliisi bitiisa

By Herbert Musoke

Added 27th April 2016

Ababbi baamukakasa nti mu buli kitongole balinayo abantu baabwe nga n’ekikwasisa empisa mu poliisi (PSU) mw’okitwalidde; era bino bimweraliikiriza nnyo kati.

Kayihurab 703x422

Kayihura akulira poliisi ya Uganda

 

OFIISA wa poliisi omulala akoze lipoota mw’asinzidde okwanika abakungu ba poliisi abakolagana n’ababbi.

Alaze ebibinja by’ababbi n’engeri gye bifunamu emmundu ate bwe wabaawo abirondoola nga bamutta oba okumulwanyisa n’agobwa mu kifo mw’aba asinziira okubalwanyisa.

ASP Steven Mugarura nga kati ali ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu lipoota ssatu ze yakoze alaga nti, ekimu ku bibinja eby’omutawaana kikulirwa Musinguzi ng’olumu yeeyita M. Magoola.

Ekibinja kino nti kirimu omubbi omulala ow’olulango ayitibwa Asiimwe wabula ng’olumu yeeyita Ismael Kamugisha wabula nga bakolagana butereevu n’abamu ku bakungu mu poliisi.

Balina enfo bbiri okuli e Nansana ne Fort Portal we basinziira okutegeka ennumba nti era abamu ku bapoliisi bamanyi bulungi enfo ezo kyokka buli agezaako okubayingirira agwa ku kyokya.

Mugarura agamba nti y’omu ku baagezaako okulwanyisa ababbi bano era n’abasuuza n’emmundu kyokka omu ku mubbi yamukubira essimu n’amutegeeza nti; “Bulijjo weepanka, genda mu ofiisi yo olabe ebbaluwa gy’onaasangayo. Oddangamu n’otumanyiira.

” Nti yagenderawo mu ofiisi era ebbaluwa n’agisangawo ng’emukyusa okuva mu kifo kye yalimu ng’emusindika ku kitebe kya poliisi kyokka nga terina mulimu gw’emulaga gw’agenda kukolayo.

 ugarura eyakoze lipoota ku bubbi buno Mugarura eyakoze lipoota ku bubbi buno

 

ABAKUNGU BA POLIISI  ABAKUBIRA ABABBI ESSIMU

Mugarura yannyonnyodde nti okuva mu 2013 lwe yagwa mu bibondo by’ababbi bano, taddangamu kufuna mirembe era omu ku babbi yamukubira essimu n’amulabula okubeesonyiwa nga bw’agattako nti; “Kasajja ggwe otumazeeko emirembe, naye oyinza okulowooza nti olwanyisa ffe, naye ojja kukitegeera mpola nti olwanyisa bakamaabo.

”Omubbi oyo yamugamba agezeeko anoonyereze enkolagana gye balina ne ba ofiisa ba poliisi bana (omu ali mu kifo kya RPC mu ttundutundu lya Kampala erimu; omulala yaduumirako ebikwekweto mu ggwanga, owookusatu ali mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Katonga Region ate omulala ali ku kitebe kya bambega ba poliisi - Bukedde amannya egeesigalizza).

Mugarura yafuna ennamba z’amasimu g’abakulu abo n’agenda mu MTN n’afuna olukalala lw’amasimu agabakubirwa ne ge bakuba era agenda okulaba ng’ennamba z’amasimu g’ababbi be yali azudde nga zikubwa ntakera ku nnamba z’abakungu ba poliisi ate nga n’abakungu nabo olumu bakubira ku babbi bano.

Kino kyamukuba wala era waayita akaseera katono ne bamuteeka ku ‘katebe’ kw’amaze emyaka kati esatu be ddu, ng’asasulwa wabula nga talina mulimu gwonna gumuweebwa okuggyako okukeera ku kitebe kya poliisi n’atuula!

Mugarura agamba nti bakamaabe baasooka kumutegeeza nti alina okutwalibwa okwongera okutendekebwa, wabula buli lutendeka olujja lw’erumiyitako era olumu yababuuza ekigenda mu maaso ne bamutegeeza nti fayiro ye yabula.

Bazze bamukolera fayiro empya kyokka okusunsula amannya ag’abatwalibwa mu kutendekebwa bwe kutuuka nga fayiro zibula.

Bwe yalemeddeko ennyo, ne bamutegeeza nti alina emisango gy’alina okusooka okugonjoola nga mulimu ettamiiro (wadde nga Mugarura agamba nti mu bulamu bwe tanywa mwenge), okweyambisa obubi emmundu, okukozesa obubi ofiisi n’okukozesa eryaanyi erisukkiridde ku bantu abatalina musango.

Nti afubye okutegeeza bakamaabe bamutwale mu kakiiko akakwasisa empisa yeewoozeeko oba okumutwala mu kkooti kyokka ekyo baakigaana. 

Yagambye nti embeera mw’ali kati yamujjukizza omu ku babbi eyamutegeeza nti:  Bw’onaayagala okukola ebintu nga bwe wabisoma, poliisi egenda kukulema.

Ababbi baamukakasa nti mu buli kitongole balinayo abantu baabwe nga n’ekikwasisa empisa mu poliisi (PSU) mw’okitwalidde; era bino bimweraliikiriza nnyo kati.

Yawunzise agamba nti: Ekisinga okunnuma kwe kubeera nti omulimu gwa poliisi gwa kukuuma Bannayuganda n'ebintu byabwe kyokka ate abamu ku bandikulembedde mu kukuuma abantu n’ebyabwe ate be bakolagana n'ababbi okusuza bannansi nga bakukunadde, okutwala ebyabwe n’okusaanyaawo obulamu!

Ayagala Kayihura ayingire mu nsonga zino kubanga ekiwundu kyasamba dda eddagala.

DPC wa Old Kampala Mohammed Kirumira ye yasooka okutegeeza nti ababbi bangi bakolagana ne poliisi era n’alumiriza nti kye kimu ku bisibye obubbi n’obutemu mu Kampala n’ebitundu bya Uganda ebirala.

Kirumira ng’akyali Nansana yakola ebikwekweto bingi ku babbi era n’alwanyisibwa ne bamuteekako n’emisango gy’okukozesa eryaanyi erisusse ku musajja Majwega eyakissa ku Kirumira nti yamutulugunya n’amukutulako engalo!

Oluvannyuma Majwega baamuttira mu bubbi ku luguudo lw’e Gayaaza.

 fande irumira bweyali akyali e ansana nga afuuza ababbi Afande Kirumira (ku kkono) bweyali akyali e Nansana nga afuuza ababbi

 

BAKOLAGANA NE POLIISI OKUBBA EMMUNDU KU BASERIKALE

ASP Mugarura mu lipoota ze yaweerezza omuduumizi wa Gen. Kale Kayihura yannyonnyodde nti ebibinja bino byenyigira mu bubbi obw’emmotoka, okukozesa emmundu ne bateega abalina ssente, okulumba amaduuka okuli Supermarket, Mobile Money, okukuba ebicupuli, era buli kika kya bubbi kibeera n’omuntu akivunaanyizibwako mu gubinja ogwo.

Okugeza, obubbi obw’okukozesa emmundu mu kibinja kya Musinguzi nti bukulirwa omusajja amanyiddwa nga Ruyonga ng’ayambibwako Ategeka.

Wabula ekisinga okwennyamiza y’engeri ba ofiisa ba poliisi gye bapangamu n’ababbi okutta abaserikale naddala abo be babeera baagala okunyagako emmundu oba abo ababeera babalemeddeko.

Yanokoddeyo ofiisa wa poliisi okusindika abaserikale ab’amadaala aga wansi okulawuna ekiro nga tebasukka babiri nga bamaze okuluka olukwe n’ababbi ne babataayiza ne bababbako emmundu era olumu abaserikale abo bamala na kubatta ate olulala babatta bafunye okutya nti bandiwa obujulizi obuyinza okuleetera ekibinja kyonna obuzibu.

Yanokoddeyo omupoliisi Lauben Okurut eyattibwa oluvannyuma lw’okumubbako emmundu.

Okurut yali akolera ku poliisi y’e Njala mu Kamwenge era emmundu baagimubbirako mu kibira ky’e Kamwenge ng’agenze okulawuna.

Mugarura agamba nti yanoonyereza ku musango guno era n’asobola okukwata ababbi babiri okuli Katongole ne Kato be yasanga n’emmundu eyabbibwa ku Okurut era n’akwatirako n’emmundu endala eyali yabbibwa e Rwengoma.

Nti yabakwata n’emmotoka ttaano enzibe okwali eya Paddy ow’e Katwe, Alinaitwe omuvuzi wa takisi e Kireka, Mulefu nga naye wa takisi e Fort portal n'abalala.

Mu ngeri y'emu yakwata ne Kasaija era kkooti n'emusalirwa emyaka 6.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....

Kiiza 220x290

Omubaka Kiiza yeeraliikiridde abamulondoola...

Kiiza omubaka omukazi owa Kasese mu Palamenti yeegasse ku babaka abalala abavuddeyo ne bategeeza nti obulamu bwabwe...

Mifumi 220x290

Kkooti ewadde abasajja omwagaanya...

KKOOTI etaputa Ssemateeka eyongedde okuwa abasajja omwagaanya ogusajjalaata bw’egobye omusango ogubadde guluubirira...

Bobipress 220x290

Bobi Wine avumiridde ekya Pulezidenti...

OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddeyo ku ssente gavumenti z’etandise okugabira abavubuka b’omu...