TOP

Kino kika! Abakazi bayonsa ebisolo ng'abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2016

Kino kika! Abakazi bayonsa ebisolo ng'abaana

Bak1 703x422

Omukazi ng’ayonsa kakaamuje. Ebisolo babiraga omukwano ng’abaana.

ABATUUZE b’e Nansana gye bakaabira enkima ezibamazeeko emirembe nga zirya emmere yaabwe ate laba lino eggwanga ly’abantu abatta omukago n’ebisolo ng’abakazi ne batuuka okuggyayo amabeere ne babiyonsa.

Eggwanga lino liyitibwa Awa nga basangibwa mu Brazil mu bibira bya Amazon mu ssaza ly’e Maranhao ku ssemazinga wa South Amerika. Abantu beeyisiza ddala ng’ebisolo ng’era obulamu bwabwe businga kuwangaalira ku bintu bya butonde.

Bwe balaba omugenyi bamutwalira ddala ng’ekyobulambuzi. Eggwanga lino eryolekedde okusaanawo olw’okuyigganyizibwa baali emitwalo 10 emyaka 500 emabega kyokka nga kati basigadde nga 300. Lye limu ku mawanga g’abayizzi amatono agasigadde ku nsi nga bayimiriddewo ku nnyama y’omu nsiko.

Eno abaana bava buto nga bazannya n’ebisolo ebikambwe eby’omu nsiko okuli: kaamuje, embizzi n’enkima. Okumanya nga battira ddala omukago n’ebisolo, nabyo bibakolerako emirimu omuli okubasusiza ebinyeebwa, okubawanulira ebibala ku miti emiwanvu n’okubawa obukuumi.

 mukazi ngayonsa omwana ku bbeere erimu nakabuzi ku bbeere eddala no wa mu ganda Omukazi ng’ayonsa omwana ku bbeere erimu n’akabuzi ku bbeere eddala. Ono wa mu Uganda.

 ENGERI ABA AWA GYE BAWANGAALAMU N’EBISOLO

Munda mu bibira bya Amazon mu buvanjuba bwa Brazil, abantu bano batambula n’ebintu byabwe byonna omuli abaana, ebyokulwanyisa n’ebisolo bye baafuula baganda baabwe.

Eno kaafuuka kalombolombo buli maka okufunayo ebiwuka n’ebisolo by’omu nsiko bye babeera nabyo.

Okumanya abantu bano balina laavu eri ebisolo byabwe, abakazi batuuka n’okubiyonsa amabeere gaabwe nga bikyali bito okutuuka lwe bikula.

Engeri gye beeyisaamu omuli obutayambala ngoye, okulya ebibala by’omu nsiko n’okubeera n’ebisolo kyongera okubaawula n’abantu abalala. Omuntu omukulu kasita yeebikkako mu bitundu by’ensonyi nga kiwedde, awasigadde ayita bwereere. Leero bwe gutuuka ku baana abato, bo bayita bute nga tewali kye beebisseeko.

Abaana bammwe gye mubagulira ddole ez’okuzannyisa, eno obasanga bazannyisa mmese n’enkima. Tewali atuusa ku munne bulabe kubanga beetwalira ddala nga baaluganda. l Okusanga omukazi ng’ayonsa kaamuje ebbeere kya bulijjo kasita baba nga baamuyingiza mu famire yaabwe.

Ssinga basembeza ekisolo oluvannyuma ne kibad- Laba eggwanga mu Brazil dukako ne bwe bakisanga tebakirya.

Bawoomerwa nnyo omubisi gw’enjuki n’okuwuga. Bamanyi okukuma ebyoto mu bibira ne bayota awamu n’okwokerako ennyama gye babeera bayizze. Kyokka olw’okuba ebisolo balyamu bimu, kibayamba obutabimalaawo.

Waliwo obukeeka obulinga entuula bwe baluka ne basiba ku miti nga munno mwe bawummulira. Balina n’omugga oguli mu kibira nga guno bagweyambisa okunaabiramu n’okuwuga era abakazi bagenda n’abaana baabwe.

 mwana ngaweese emmese ennene adda awaka Omwana ng’aweese emmese ennene adda awaka.

 EBIYIGGANYA ABA AWA l Abafuzi b’amatwale okuva mu Portugal bwe bajja mu ggwanga lino baasalawo kubafuula abaddu ne babakozesa mu masamba gaabwe.

Abaportugal baaleeta endwadde okuli: Namusuna, mulangira ne zitta abantu bano abasinga olwo abasigaddewo ne babakozesa obuddu ku masamba g’ebikajjo n’amasanda.

Kuno kw’ogatta abantu abaasenga ku ttaka lyabwe ne balimirako n’okulundirako. Kati olw’okuba baali baakyawa abantu, buli lwe baabalabanga nga beeyongerayo mu bibira.

Abaamawanga amalala babalabira ddala ng’ebisolo era bangi be bakwatiriza bazze babakolako ettemu.

Ekitongole kya Indigenous Missionary Council (CMI) ekya Brazil kyategeeza nti wakati wa 2003 ne 2010, abantu b’eggwanga lya Awa abawera 450 be baatemulwa. Baayiga okuzimba obuyumbaobwangungu obutali bwa buwangaazi bwe basobola okubeeramu ekiseera ekitono ne bamala ne basenguka ne basenga awalala.

Mu 2011 waliwo omuwala ow’emyaka 8 eyafiira mu muliro ogwakumibwa abantu abaali baagala okwezza ettaka lya ba Awa. Wabula mu 1982, banka y’ensi yonna ng’eri wamu n’ekibiina ekigatta amawanga ga Bulaaya baawola Gavumenti ya Brazil (doola obukadde 600) okukuuma ettaka ly’abantu bano .

Wadde Gavumenti yalangirira okusengula abantu bonna abeesenza ku ttaka lya ba Awa mu bukyamu ne batuuka n’okumenya amayumba g’abeesenza n’amasomero, ekizibu kikyaliwo.

 baana nga bava mu kibira okuyigga embizzi zomu nsiko Abaana nga bava mu kibira okuyigga embizzi z’omu nsiko.

 OMUKUBI W’EBIFAANANYI ALUTENDA Domenico Pugliese, omukubi w’ebifaananyi y’omu ku bannamukisa abaali basisinkanye abantu bano. Yasooka kubasisinkana mu 2009 ng’ali ne banne abalala babiri era baamalayo ennaku bbiri.

Domenico yeewuunya okulaba abantu bano nga baweese ebisolo n’okubizannyisa ng’ate ebimu byamutawaana nnyo ate nabo ne beewuunya okulaba ku muntu atabafaanana. Beewuunya okulaba omusajja omukulu atambula nga talina famire wadde ebisolo ng’ate bo obulamu bwabwe tebabeera bokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai