TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Pulezidenti Museveni olumaze okulayira n'ategeeza nti kati tewakyali kusaaga kino ekisanja ky'akukola

Pulezidenti Museveni olumaze okulayira n'ategeeza nti kati tewakyali kusaaga kino ekisanja ky'akukola

By Ahmed Mukiibi

Added 12th May 2016

Pulezidenti Museveni olumaze okulayira n'ategeeza nti kati tewakyali kusaaga kino ekisanja ky'akukola

Ko1 703x422

NZE Yoweri  Museveni Kaguta, ndayira mu linnya lya Katonda, nja kubeera mwesigwa,  nja kubeera muwulize eri eggwanga lya Uganda, nja kukuuma n’okulwanirira  Konsitityusoni, Mukama nnyamba .

 Bwatyo Gen. Museveni bw'akubye ekirayiro  eky’Obwapulezidenti  naatandika mu butongole ekisanja  ekirala eky’emyaka etaano nga Pulezidenti wa Uganda okutuuka 2021.

 Zibadde essaawa 5:55 ez’oku makya  mu maaso ga ba Pulezidenti 14  n’ababaka okuva mu mawanga amalala agasoba mu 20  wakati mu nkumi n’enkumi z’abantu omubadde n’ebikonge bya Gavumenti, ab’ebyokwerinda, bannadiini, n’alala  Museveni abadde n’owuwe Janet n’akuba  ebirayiro bibiri.

 Olwo, ssentebe w’akakiiko k’Ebyokulonda Ying. Dr. Badru Kiggundu, asoose kwanjula ebyava mu kalulu ak’Obwapulezidenti aka 18 February 2016 n’alaga engeri Museveni gye yawangulira n’amuyita ne mukyala we okulinnya ku kituuti ekibadde kyetoloozeddwa endabirwamu ezitayitamu masasi Enduulu n'esaanikira ekisaawe ky’e Kololo, Museveni abadde annekedde mu ssuuti enzirugavu, awanise bayibuli mu maaso ga Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Magunda Katureebe n’alayira ng’ayambibwa Omuwandiisi wa kkooti.

 Ebirayiro bitutte eddakiika ttaano, ku Ssaawa 6:00 zennyini ez’omu ttuntu, Ssaabalamuzi Katureebe n’akwasa Museveni  ebintu ebikola obuyinza bwa Pulezidenti okwabadde; bendera y’eggwanga, bendera ey’Obwapulezidenti, Oluyimba lw’eggwanga, Akabonero k’eggwanga ne Ssiiru y’eggwanga.

 Omuduumizi wa UPDF, Gen. Edward Katumba Wamala   naya akwasizza Pulezidenti obubonero obw’okufuga amagye okwabadde Ekitala n’Engabo , era byonna Pulezidenti Museveni  nga yenna abugaanyi essanyu abiwanise waggulu kimu ku kimu nga bwabiraga abantu ng'eno bwe basaakaanya nti “ Kiggwa leero, Saabalwanyi….” Museveni olumaze okukwasibwa obubonero bw’obuyinza  yavudde ku kituuti n’asembera okumpi n’enniyiri z’amagye olwo n’akubirwa emizira 21 wakati mu bbandi ya y’amagye, Poliisi n’Ekitongole ky’Amakomero.

 Emizinga 21 bwejiwedde okukubwa,  Pulezidenti ng’awerekerwako abakulira ebitongole ebikuuma yalambudde ennyiri z’amagye , nga kino kitutte eddaakika nga nga 15 era bwe kyamaze n’addayo mu ntebe n’atuula olwo ng’afuuse Pulezidenti omupya Guno gwe mulundi ogwomukaaga nga Pulezidenti akuba ekirayiro eky’Obwapulezidenti  okukulembera eggwanga  lye yatandika okufuga mu 1986 lwe yawamba obuyinza oluvannnyuma lw’emyaka ettaano ng’alwanyisa gavumenti ya  Milton Obote .

 Bannadiini  baasabidde omukolo nga baakuliddwa Ssabalabirizi Stanley Ntagali, Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, Mufti Shaban Mubajje,  Rev Peter Matovu  ow’Abasodiki ne Robert Kayanja owa  Miracle Centre.

Abantu bakyaze ennyonnyi za UPDF okubadde n’ez’omutawaana ennyo eziyitibwa Sukhoi bwe  zaayisizza ebivvulu mu bwengula nga bwe zeebonga abantu ne bakuba enduulu. Museveni bwe yatuuse okwogera, enyonyi ezo yayise ‘Mafumo’ ge yagambye nti bye bimu ku by’okulwanyisa aba Russia bye batuguza awatali bukkwakkulizo ne kyeyayise  omwepankopako.

 Yagambye China nayo okufaananako nga Russia  telina mwepankopanko n’okussa obukwakkulizo mu mawanga amalala n’agugumbula amawanga ge yagambye nti abakulembeze baago balowooza nti  bajja kufuga n’amawanga ga Afrika.

“ Buli omu afuge ennyumba ye…. Tetwagala kutubuulira kye tulina kukola kubanga tuli bantu abategeera ensonga zaffe”, Museveni bwe yagambye awatali kunokolayo ggwanga ki  ky’ayogerako.

 Museveni agambye nti ekisanja ekijja kya kukola ebyo “ Okulambaala” ng’Abasoga bwe bagamba  bikomye mu kisanja kino. “ Mbakakasa bannayuganda,  kino ekisanja ekijja kya kukola, sigenda kukkiriza by’abakulembeze abadda mu ttulo  ne balemesa eggwanga  okugenda mu maaso” Museveni bwe yagamye.

 Ategeezezza nti ayagala omwaka 2020 we gunaatuukira  nga Uganda evudde mu luse lw’amawanga amankuseere ng’ezze ku ssa erya ‘Middle Income’,  ng’abantu abasinga obulungi bali bulungi era ng’eggwanga likulaakulanye.

 Okutuuka ku kino, Museveni yagambye nti ayagala gavumenti esse essira ku kutunda eby’amaguzi  mu mawanga agebweru nti embeera eriwo kati nga tuyingiza ebintu ebingu songa tutunda bitono ebweru eteekwa okukoma.

 “Olaba tutuuka n’okugula enviiri mu mawanga ag’ebweru!, ebintu ebisinga ng’emotoka,  Kapeti,  engatto, engoye ne kalonda omulala byonna tubifuna kuva bweru, kino kiteekwa okukoma , tulina okubeera nga bye tutunda ebweru bye bingi ku bye tuyingiza olwo eggwanga  lituuke ku mutenera ogwa  Middle Income”, bwe yagambye.

 Awadde Bannayuganda obweyamo  nti kino kijja kusoboka kasita obulamu bubaawo era yabajjulizza olugero “ Ekitatta Muyima…” Museveni yagambye nti Uganda erina obusobozi okutuuka ku kwesiima kubanga erina eby’obugagga  n’agamba nti Ebyobugagga bya Uganda tebijja kutundibwa bweru okuggyako nga bimaze okugattibwako omugaso bisobole okuvvaamu ssente ezeegasa era wano  we yagambidde nti waliwo abaali baagala okumukwata obujega nga baagala abaguze ekimu ku by’obugagga eby’omu ttaka  nga bawolooza nti Uganda temanyi muwendo gwakyo kyokka n’abatebuka.

 


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mugimu1 220x290

Eby’omugagga poliisi gwe yatwalako...

DOKITA omugagga w’omu Kampala abadde attunka ne poliisi emuddize ssente ze baamunya­gako asangiddwa ng’afudde mu...

Lyagondamarketinghisbamboocharcoalwebuse 220x290

Engeri ennyangu gy'okola amanda...

Kola amanda mu mabanda ofune ekiwera nga bw'okuuma obutonde bw'ensi

Kita 220x290

Kitatta waakumala wiiki endala...

EBYA Abudallaha Kitatta okuva mu kkomera byongera oku­wanvuwa buli olukya n’eggulo byagaanyi oludda oluwaabi bwe...

Kawooya2 220x290

Kitaawe wa Kirumira agobye abaserikale...

“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa...

Bobius1 220x290

Tewali Muzungu ampa ssente okutabula...

“Tusabire eggwanga lyaffe Katonda ayongere okuggula amaaso n’emitima gy’abatukulembera bamanye nti baliwo kuweereza...