TOP

Museveni agobye Nsereko mu lukiiko e Ntebe

By Ahmed Mukiibi

Added 16th May 2016

Ensonda mu babaka ba NRM zaategeezezza nti Pulezidenti yayise olukiiko luno okwongera okufalaasira ababaka okulonda Jacob Oulanyah ku kifo eky’omumyuka wa Sipiika ekiriko okuvuganya okw’amaanyi wakati wa Oulanyah ne Muhammad Nsereko owa Kampala Central.

20129largeimg203sep2012140828713703422 703x422

Omubaka Muhammad Nsereko

PULEZIDENTI Museveni akubye enkata ababaka ba NRM abapya ya bukadde butaano buli omu zibayise mu kulayizibwa okutandika okwaleero.

Museveni era yasuubizza okussa omukono ku tteeka erisonyiwa ababaka emisolo lye yabadde asoose okugaana okussaako omukono n’alizzaayo mu Palamenti.

Bino byabadde mu kafubo ka NRM Pulezidenti ke yeevumbye ng’ebula ennaku ssatu okulonda kwa Sipiika n’omumyuka we kutuuke ku Lwokuna nga May 19, 2016.

Ababaka bonna abapya abasoba mu 450 leero ku Mmande lwe batandise okulayizibwa okuggwa ku Lwokusatu.

Museveni yasisinkanye ababaka ba NRM abasoba mu 280 mu kafubo e Ntebe wamu n’ababaka abatalina bibiina kyokka nga n’abawagizi ba NRM baayitiddwa ne babeeramu.

Ensonda mu babaka ba NRM zaategeezezza nti Pulezidenti yayise olukiiko luno okwongera okufalaasira ababaka okulonda Jacob Oulanyah ku kifo eky’omumyuka wa Sipiika ekiriko okuvuganya okw’amaanyi wakati wa Oulanyah ne Muhammad Nsereko owa Kampala Central.

Mu kafubo, kano, ensonda zaategeezezza nti Pulezidenti yazzeemu okusaba Nsereko alekere Oulanyah kyokka Nsereko n’agaana, Pulezidenti n’amugoba mu lukiiko.

Museveni yasooka okutuuza akabondo k’ababaka aba NRM nga May 5, 2016 ne kisalibwawo nti NRM esimbyewo Kadaga ku bwasipiika ne Oulanyah ku bumyuka ate nga May 9, 2016 n’asisinkana ababaka abatalina ludda mwe yasinziira okuperereza Nsereko okulekera Oulanyah kyokka ne yeerema.

Okuva lwe baava e Ntebe, Oulanyah ne Nsereko bataddewo okuvuganya okw’amaanyi nga buli ludda luwera okuwangula kyokka Nsereko yeeyongedde okukuηηaanya abawagizi mu babaka omuli n’abajjira ku kkaadi ya NRM n’abanyiize olw’etteeka ly’emisolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi