TOP

Omuzzukulu atemye jjajjaawe lwa kibanja

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2016

OMUVUBUKA alumbye jjajjaawe ow’emyaka 80, n’amutemaatema ng’amulanga okugaana okumuwa ebiwandiiko by’ekibanja kye yamusaba ng’ate kw’alimira.

Pala 703x422

Nakafeero ng’ali ku kitanda .

OMUVUBUKA alumbye jjajjaawe ow’emyaka 80, n’amutemaatema ng’amulanga okugaana okumuwa ebiwandiiko by’ekibanja kye yamusaba ng’ate kw’alimira.

Abatuuze nabo bamuzingizza ne bamutema okugulu kyokka poliisi yayanguye okutuuka n’emutaasa nga tebannamumizza musu.

Fred Ssentume, 19, ye yatemye jjajjaawe Maria Nakafeero,80, ow’e Buwere mu ggombolola y’e Buwama e Mpigi ng’entabwe yavudde ku kumusaba kibanja n’agaana okukimuwa ng’ate abantu abadde abalaga nti kikye.

Nakafeero yakubye enduulu ng’omuvubuka amutema era abatuuze baayanguye okutuuka. Bwe yabalabye n’agezaako okudduka kyokka ne bamugoba okutuusa bwe baamukutte.

Abatuuze baatandise okukuba Ssentume era bwe baalabye Nakafeero ng’avaamu omusaayi mungi nabo kwe kuggyaayo ebijambiya ne batandika okumutema.

Omu ku batuuze yagambye nti Ssentume baabadde baakamutema okugulu poliisi eyayitiddwa okutwala Nakafeero mu ddwaaliro n’etuuka era ye yamutaasizza.

Ssentume yagambye nti ekibanja ky’akaayanira jjajjaawe yali yakiwa kitaawe Gligory Ssentamu era bwe yafa n’akimulekera.

N’agamba nti jjajjaawe aludde ng’amusaba ebiwandiiko ebimukakasa nga nnannyini kyokka n’agaana okubimuwa nga kye kyamuggye mu mbeera n’amutema.

Wabula abatuuze bagamba nti Ssentume akozesa nnyo ebiragalalagala nga birabika bye byamuwaze okutema jjajjaawe.

Baagambye nti tebamwagala ku kyalo kyabwe era ateekeddwa okubaviira ku kyalo kuba tebasobola kubeera na mutemu.

Nakafeero yagambye nti ye yakuza Ssentume okuva nga muwere nga kitaawe afudde kyokka okuva lwe yamuwa ku kibanja n’azimbako akayumba yatabuka nga buli olukya abuuza olunaku lwendifa.

“Alabika bw’alabye siffa kwe kusalawo okuntema asigaze ekibanja kuba kye kumuli obubi, “ Nalafeero bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...