TOP
  • Home
  • Agookya
  • Museveni akuzizza bannamagye 5 okuli ne Muhoozi

Museveni akuzizza bannamagye 5 okuli ne Muhoozi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2016

PULEZIDENTI Museveni mu bukulu bwe ng’omuduumizi ow’oku ntikko ow’amagye akuzizza bannamagye bataano okuli ne Muhoozi Kainerugaba.

Aaaaaabig70342211 703x422

Maj. Gen. Muhoozi

PULEZIDENTI Museveni mu bukulu bwe ng’omuduumizi ow’oku ntikko ow’amagye akuzizza bannamagye bataano okuli ne mutabani we Muhoozi Kainerugaba.

Muhoozi nga y’akulira eggye erikuuma Pulezidenti (Special Forces Group) avudde ku ddaala lya Brigadier n’afuulibwa Major General.

Eddaala lya Brigadier alimazeeko emyaka esatu n’ekitundu era ennyota ezo baazimuwa mu August 2012.

Abalala abakuziddwa kuliko Maj. Gen. Joram Mugume afuuliddwa Lieutenant General, Col. Charles Lutaaya akuziddwa n’afuuka Brigadier, Col. James B. Mugabe nga naye afuuliddwa Brigadier wamu ne Col. Stephen Muzeeyi Sabiti nga naye atuuse ku kitiibwa kye kimu ekya Brigadier. Sabiti naye ofiisa mu ggye erikuuma Pulezidenti.

Muhoozi yayingira amagye mu 1999 era bwe yamala okutende kebwa mu ttendekero ly’amagye ery’amaanyi eriyitibwa Royal Military Academy Sandhurst mu 2000 n’asindikibwa mu kibinja ekikuuma Pulezidenti era oluvannyuma kyagaziyizibwa era y’akiduumira kati.

Ebitonotono ku Maj. Gen. Muhoozi

  • Yazaalibwa April 24, 1974 era omwezi oguwedde yakuzizza amazaalibwa ag’emyaka 42.
  • Yasomera Kampala Parents, King’s College Budo, St. Mary’s College Kisubi era yeeyongerayo n’emisomo e Tanzania ne Sweden n’atikkirwa mu 1994.
  • Mu byafaayo bye, Muhoozi yagamba nti yatandika okutendekebwa mu by’ekijaasi mu 1996, kyokka kyamutwalira emyaka esatu okuyingira amagye mu butongole.
  • Mu 2001 yakuzibwa n’afuulibwa Major ate bwe yamaliriza okutendekebwa mu ttendekero ly’e Leavenworth mu 2008 n’akuzibwa n’afuulibwa Lieutenant Colonel era n’aweebwa n’obuduumizi bw’ekibinja ekikuuma Pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte