TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Yali nsobi Buganda okutta omukago ne Obote atakkiririza mu buwangwa - Dan Muliika

Yali nsobi Buganda okutta omukago ne Obote atakkiririza mu buwangwa - Dan Muliika

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2016

AMAGYE ga Obote we gaalumbira Olubiri lwa Kabaka e Mmengo mu May wa 1966, eyaliko Katikkiro wa Buganda, Dan Muliika yali abeera wa jjaajjaawe Bakaluba eyalina amaka emabega w’enju Basiima.

Muteesa1 703x422

Ssekabaka Muteesa (owookubiri ku ddyo) ku mukolo gw’abasikawutu.

AMAGYE ga Obote we gaalumbira Olubiri lwa Kabaka e Mmengo mu May wa 1966, eyaliko Katikkiro wa Buganda, Dan Muliika yali abeera wa jjaajjaawe Bakaluba eyalina amaka emabega w’enju Basiima.

Anyumya bwe yawulira amasasi nga geesooza mu masanso g’emiti.

NG’OBWETWAZE bulwanirirwa, enkiiko nnyingi zaateekebwawo okulaba buli kitundu bwe kigenda okuyingira mu Uganda Empya.

Omuzungu yateekawo okulonda kwa 1961 kyokka olw’okuba abantu ba Buganda baali tebamanyi ngeri gye bagenda kutambulamu mu nsi mpya, akalulu tebaakajjumbira, abantu 3 ku buli 100 bokka be baakeetabamu.

Awo we waava ekirowoozo ky’okukkirizisa Obote akolagane n’Obwakabaka era Abaganda bennyini be bamutwala ewa Kabaka Muteesa e Baamunaanika.

Yeefuula omugonvu era n’ategeeza nga byonna Buganda by’erafuubanira okuli ne Federo- abiwagira.

Bakkiriziganya okukola omukago kyokka Abaganda ne beekengera kwe kukola ekibiina kya Kabaka Yekka era kino kye kyegatta ne UPC mu mukago.

Kye bataamanya nti kyali kya kabi okukola omukago n’omuntu atalina buwangwa na nnono by’akkiririzaamu. Okulonda okulala kwategekebwa mu 1962, omukago gwa UPC/KY ne guwangula DP. Baagenda e Bungereza mu London Conference okutegeka endagaano ya 1962 (Ssemateeka).

Mwalimu akawaayiro ku masaza agaabula okuli Buyaga ne Bugangaizi nga Buganda ne Bunyoro bagakaaya- Yali nsobi Buganda okutta omukago ne Obote atakkiririza mu buwangwa - Dan Muliika nira, ne kikkiriziganyizibwako nti ensonga zaago ziritunulwamu oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tufunye obwetwaze.

Mwassibwamu akawaayiro akalala akagamba nti Pulezidenti bw’abeera tatadde mukono ku bivudde mu kalulu k’ekikungo ku nsonga eno, Katikkiro wa Uganda, asobola okuguteekako. Ekirungi ekyali mu ndagaano ya 1962 kyali nti twalina okuddamu okugitunuulira oluvannyuma lw’emyaka ena.

Mu kutambuza endagaano ya 1962, ebibiina byobufuzi byali bye bifuga abakulembeze okusinga abakulembeze okubyetikka.

Kale obukulembeze bwa UPC/KY ne butambuza emirimu, eggwanga ne likulaakulana okusinga n’ensi mu Buwalabu ezimu.

Akalulu k’ekikungu kaakubwa mu 1964, amasaza ago ne gasalawo okudda e Bunyoro, Kabaka Muteesa II teyassa mukono ku tteeka erigaggya e Buganda okudda e Bunyoro kyokka tewali yayomba kubanga Ssemateeka bwe yali agamba.

Wabula Obote yatandika okufi irwa obuwagizi mu UPC kye ng’abamu mu kibiina kye batandise okuwakanya obukulembeze bwe.

Ekyokubiri, Obote yatandika okuyingiramu obubbi e DR Congo era kino ne kireetera omubaka Daudi Ochieng ensonga zino okuzireeta mu Palamenti, Obote annyonnyole n’engeri Idi Amin eyali omuduumizi okusindikibwa e Congo.

Bali baagala okumanya Amin yeewaggula yekka okuyingira mu nsonga z’e Congo oba Obote yazirimu,naye avunaanibwe.

Obote ne Amin kwe kusala amagezi okuzikwata mu ngeri yaabwe mu February wa 1966 ng’aggyawo Ssemateeka okwewala ensonga zino.

Omusajja omu mu Lukiiko lwa Buganda, Kaggwa n’asinziira mu Lukiiko nti engeri Obote gy’aggyeewo Ssemateeka atugatta, aggye gavumenti ye ku ttaka lya Buganda kubanga avudde ku musingi eggwanga kwe lyatandikira.

Buganda yakola endagaano okuyingira mu Uganda era endagaano Buganda gye yakola n’Omungereza era ye yasaba Omungereza okugiddiza obwetwaze.

Mu byakkiriziganyizibwako waaliwo kkooti ey’okugendangamu okutawulula enkaayana eza bannamukago abakola Uganda ng’eno ye y’Obuvanjuba bwa Afrika.

Mu musango ogwali guvunaanwa Obote ne basajja be gwali gusobola okugenda mu kkooti eyo. Baggyawo Ssemateeka n’okuwera okugenda mu kkooti eyo kubanga tolina tteeka mw’oyinza kuwaabira.

Embeera yagenda eyonooneka, Obote ne basajja be abaakulemberwamu omuduumizi w’eggye Idi Amin gwe yali akuzizza amangu ago baasalawo okulumba Olubiri nga beekwasa nti mu Lubiri waliyo ebyokulwanyisa, nti Mmengo yali emugobye ku ttaka lya Buganda ate nti Muteesa II yagaana okussa omukono ku tteeka ly’akalulu k’ekikungu eryazzaayo amasaza agaabula- Buyaga ne Bugangaizi!

OKULUMBA OLUBIRI

 an uliika Dan Muliika

 

Twatandika okuwulira amasasi ag’amaanyi okuva ku ssaawa 11:00 ez’oku nkya ga May 24,1966 ne twebuuza wa gye gavugira. Okugenda okwetegereza nga gali ku Lubiri lwa Kabaka.

Ekiseera ekyo nali awo wansi w’enju gye bayita Basiima kubanga waliwo enju za jjajjange Bakaluba Musoke era twagawuliranga mu miti.

Baamenya omulyango Kaalaala ne bayingira okutandika okukola layini zaabwe, baayokya obusiisira obwalimu, ndowooza tebaali batendeke bulungi kubanga kye kyayamba ne Muteesa okubalaba okulwana ne kunyiinyittira.

Oluvannyuma lw’enjega eno, Obote yaggyawo Ssemateeka wa 1962 n’ateekawo eyiye ey’omu kamooli ng’eno yagiteeka mu busanduuko bwa babaka ba Palamenti.

Muno teyaggyawo Bwakabaka kyokka yatandika okutambula mu bitundu ebirala ng’agamba nti mbawonya Buganda ebatuddeko, baagala Federo ate mmwe temulina Federo, Federo ebeera na bagagga.

Abamu baasooka ne bamuwagira kyokka ate okwekyusa, abaamuwagira nabo yabeekyusizza era bonna ebisumuluzo nbe babimutwalira ng’amaze okubawera.

Naye tulowooza nti Omungereza yali atutegekedde embeera eno kubanga yali atadde omukono ku ndagaano ne Ssemateeka wa 1962, lwaki yakkiriza Obote okukola bwatyo? Naye oluvannyuma Abangereza baaneneηηana ne Obote n’abalemerera olwo ne batinzika ne Amin nga bamulaba ng’omunafunafu.

Okussa ekitiibwa mu Ssemateeka kyavaawo. Obuyinza bwava mu bantu ne budda mu bakulembeze nga bwasigala mu biwandiiko.

Buli mukulembeze azze addawo ng’aleeta Ssemateeka wuwe. Ebibiina byaggwaamu amaanyi, abakulembeze ne babeera nga be bali waggulu waabyo.

Obote bwe yalaba ng’obuwagizi bw’ekibiina kye bukendedde, yasalawo okuggyawo Ssemateeka w’ekibiina kino wakati mu kuvuganya okw’amaanyi okuva mu basajja be Grace Ibingira ne Kakonge.

Ebibiina okufuuka eby’abantu ssekinoomu kibiziηηamya. Y’ensonga lwaki olaba mutabani wa Obote ali mu ntalo ne banne nti ekibiina kyali kya kitaawe!

Ebyenfuna byakyuka, okugeza ebitundu byonna eby’eggwanga byalina ebibiina by’obwegassi. Bino byayamba okutumbula obulimi n’obulunzi ate nga biriko akatale naye eby’obufuzi ebibi byatta omulamwa gw’ebibiina bino okutuusa lwe byasaanyizibwawo.

Obote yafuula eggwanga eritalina nnono. Kati abantu balowooleza mu bubbi. Bwe bakulonda mu kifo ogenda kubbayo ky’obbye.

Ekisaanidde okukolebwa, eggwanga liddemu okutunuulira bannannyini ggwanga Kigezi, Ankole, Buganda,Acholi, Teso, Busoga, Sebei, Bunyoro, Toro, Lango, Karamoja n’ebirala.

Disitulikiti zitwerabiza ebyaffe. Mmengo efube okufuuwa omukka ogw’omulamu mu bibiina by’obwegassi nga Kabaka bw’akola olwo abantu ba Buganda bajja kukulaakulana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...