TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Ababaka muve mu kwefaako mwekka - Ssaabalabirizi Ntagali

Ababaka muve mu kwefaako mwekka - Ssaabalabirizi Ntagali

By Ali Wasswa

Added 24th May 2016

Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanley Ntagali asabye ababaka ba palamenti okuva mu kumala ebiseera ebingi nga balowooza okwekussa ne beerabira okukola ku bizibu by’abantu baabwe abaabalonda.

Stanleyntagali703422 703x422

Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanley Ntagali

Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanley Ntagali asabye ababaka ba palamenti okuva mu kumala ebiseera ebingi nga balowooza okwekussa ne beerabira okukola ku bizibu by’abantu baabwe abaabalonda.

Ssaabalabirizi bino yabyogedde ku Ssande mu Disitulikiti y’e Bushenyi bwe yabadde aggulawo ekkanisa eyazimbibwa Abakrisitaayo nga bayambibwako famire ya Marvin Baryaruha.

Ntagali yeennyamidde nti abantu bangi basula mu mayumba agatemagana kyokka ng’ate bw’otuuka mu masinzizo gye basinziza Katonda tegalaga nti ddala Katonda gwe basinza baamutegeera era ddala ne bamusenga.

Yakuutidde n’abakulira enzikiriza mu Bushenyi okubeera obumu nasiima abadde omulabirizi anaatera okuwummula, Yona Katunene olw’okuba nti agenda kuleka omukululo mu bulabirizi obwo.

Omukolo gwetabiddwaako n’omubaka omukyala owa Bushenyi era minisita w’obutebenkevu, Muky. Mary Karoro Okurut.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo