TOP

Omuyizi asse munne e Kyambogo

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2016

OMUYIZI wa Yunivasite y’e Kyambogo ayingidde mu kisulo ng’atamidde n’afumita munne era nga y’akikulira n’amutta.

Kyambogouniversity577388 703x422

OMUYIZI wa Yunivasite y’e Kyambogo ayingidde mu kisulo ng’atamidde n’afumita munne era nga y’akikulira n’amutta.

Felix Mutayi 24, yakomyewo ku ssaawa musanvu ez’ekiro ekyakeesezza Mmande ng’atamidde n’ayingira ng’awogganira waggulu.

Yabadde akutte ekiso ekyawalirizza akulira African Hotel, Sedrick Sia 24 okuvaayo amukkakkanye era wano we yamufumitidde ekiso mu kifuba n’amutta.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti Sedrick Sia yatwaliddwa mu kalwaliro e Banda ng’embeera mbi ne bamwongerayo mu ddwaaliro e Nsambya gye yafiiridde nga yaakatuusibwayo.

Mutayi ne Sia bombi babadde basoma amasomo ge gamu (Economics and Statistics ) omwaka ogwokubiri. Poliisi ya Jinja Road yakutte Mutayi n’emuggalira nga bw’enoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....