TOP

Trump ssente zimuweddeko

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2016

NNAGGAGGA Donald Trump azzizza mu kyama abakulira ekibiina kya Republican n’abategeeza nti ensimbi zimuweddeko, akamyufu k’ekibiina kamukalizza, yeetaaga bamukwatizeeko asobole okumegga Hillary Clinton mu kalulu k’Obwapulezidenti.

Trump 703x422

Donald Trump

NNAGGAGGA Donald Trump azzizza mu kyama abakulira ekibiina kya Republican n’abategeeza nti ensimbi zimuweddeko, akamyufu k’ekibiina kamukalizza, yeetaaga bamukwatizeeko asobole okumegga Hillary Clinton mu kalulu k’Obwapulezidenti.

Trump yatumye musajja we fanfe era omuwabuzi we ow’oku ntikko, Paul Manafort eri abakungu ab’ekibiina kya Republicans okubategeeza nti ensimbi ze ezisinga ziggweeredde mu kamyufu, takyalina ssente z’agenda kussa mu kampeyini okweng'anga Clinton ow’ekibiina kya Democrats.

Manafort yasoose mu ba Republicans ababaka ba Palamenti eyitibwa Senate n’abategeeza nti ensimbi Trump ze yali yabalirira okussa mu kampeyini ze zaggweeredde mu kamyufu era talina nteekateeka za kwongeramu ssente ze.

Bwe yalangirira mu June 2015 nti agenda kuvuganya ku bwapulezidenti bwa Amerika, Donald yalangirira nti okwawukanako nga bannabyabufuzi abalala abeesimbawo nga ssente za kampeyini bazisuubira mu mikwano, abagagga, ebitongole n’amakampuni, ye ssente za kampeyini waakukozesa zize.

Yalangirira nti ategeseewo doola akawumbi kalamba (bwe buwumbi nga 3,400 mu ssente za Uganda ) nga zino z’agenda okusaasaanyako ebbanga lyonna ery’akamyufu k’ekibiina ky’aba Republicans akagenda okukomekkerezebwa mu July 2016 wamu ne Kampeyini ezObwapulezidenti lwe zinaggweerako mu November 2016.

Trump y’omu ku basajja abasinga obugagga mu Amerika ng’akwata ekifo kya 121 ku lukalala lwa babijodolo, abalina ebyobugagga ebyanaamiriza n’ensimbi ze bawugamu obuwuzi.

Ku lukalala lw’abagagga ffuge abasingayo mu nsi yonna, Trump akwata ekifo kya 405. Obugagga bwa Trump, bubalirirwamu doola obuwumbi buna n’ekitundu (mu za Uganda obuwumbi obusoba 15,300) okusinziira ku katabo akayitibwa Forbes, akasengeka abagagga mu nsi yonna.

Wabula Trump yagambye nti mu kampeyini ze ne Clinton, yeetaaga aba Republican okumukwatizaako okusobola okufuna ensimbi kubanga ye ezizze ziweddewo. Eggulo baabadde tebannamwanukula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...

Kabuta2 220x290

‘Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku...

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya...

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...