TOP

Omusajja asse bakozi banne 2 n’abanywamu omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2016

GERALD Ndawula yaboggoledde bakozi banne nti ‘munviire’. Mu kaseera katono yakutte effumu n’alifumita munne mu kifuba n’agwa wansi.

Pillar 703x422

Ndawula omutemu. Christine asooka waggulu ne Mugwanya wansi abatiddwa Ndawula

GERALD Ndawula yaboggoledde bakozi banne nti ‘munviire’. Mu kaseera katono yakutte effumu n’alifumita munne mu kifuba n’agwa wansi.

Yamukkakkanyeeko n’atandika okunywa omusaayi. Omuwala eyabaddewo yagenze okutaasa naye Ndawula n’amutabukira n’amusala obulago n’amunywamu omusaayi.

Abakozi baakung'aanye ne bakuba Ndawula, naye eyafudde oluvannyuma, okukkakkana ng’abakozi basatu bonna bafudde.

Ndawula yabadde ne yirizi ennene ku mukono era banne bawanuuza nti amaanyi ga yirizi ge gaamutangidde okumuttirawo kuba baamukubye nnyo kyokka poliisi we yatuukidde oluvannyuma lw’essaawa nnamba yasanze tebannamutta era n’emutaasa.

Wabula oluvannyuma yafudde nga baakamutuusa mu ddwaaliro e Kawolo-Lugazi ku lw’e Jinja. Ekikangabwa kyagudde mu kkampuni y’amajaani ga Garden Tea e Moniko mu Divizoni y’e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe mu ttuntu eggulo.

 badduukirize nga bakutte dawula bamusiba emiguwa Abadduukirize nga bakutte Ndawula bamusiba emiguwa.

Ndawula abadde asula ku mizigo gy’abakozi ba kkampuni ne banne. Omu ku bakozi yakedde kwemulugunya nga ssente ze bwe zibuze.

Olunwe baalusonze ku Ndawula kubanga yalabiddwa ng’ayingira mu muzigo omwabuze ssente. Ndawula yabyegaanyi.

Nnannyini ssente yalese Ndawula ne banne n’agenda okukola (avuga mmotoka ezisomba amajaani).

Ndawula yatadde ku nninga munne Herman Mugwanya Muto amubuulire eyamulabye ng’abba ssente.

 boluganda lwa daru nga bayomba ne poliisi olwokutiitiibya omutemu Ab’oluganda lwa Ndaru nga bayomba ne poliisi olw’okutiitiibya omutemu.

 

N’amuboggolera nti nviira nnyinza okukutta ne nkunywamu omusaayi. Yayingidde mu nju n’afuluma n’effumu n’agoba Mugwanya n’alimufumita. Mugwanya yagudde wansi mu bikata bya lumonde kyokka Ndawula n’amukkakkanako n’atandika okunywa omusaayi ogwabadde gumuvaamu.

Omuwala Christine Ndaru, afumbira abakozi emmere, yabagoberedde mu bikata n’alaya enduulu nti ‘Ndawula lwaki otta munno?’ Ndawula yavudde ku Mugwanya n’agoba omuwala okutuuka mu luggya awaabadde ejjambiya n’agikwata n’amutema, n’agwa wansi.

Ndawula yasaze omuwala obulago n’amukkakkanako n’anywa omusaayi ogwabadde gumuvaamu.

Abakozi abaabadde mu majaani bazze okudduukirira ne basanga nga Ndawula akkakkanye ku muwala anywa omusaayi ne bamuyiikira ne bamukuba. Mugwanya baamuyoddeyodde okumutwala mu ddwaaliro kyokka we baamutuusirizza e Kawolo ng’amaze okufa.

Poliisi yatuuse n’erwanagana n’abakozi okutaasa Ndawula eyabadde takyayogera. Poliisi yamututte e Kawolo kyokka we yatuukidde mu ddwaaliro ng’abakozi bavuze bodaboda ne bagisookayo nga bawera okumumaliriza okumutta.

Poliisi yafunye abaserikale abalala n’esobola okuyingiza Ndawula mu ddwaaliro kyokka baamutuusizzaayo ng’amaze okufa. Mugwanya mutabani wa JB Zimula omutuuze e Kitega okumpi n’e Lugazi. Ndawula yava Mukoko ku lw’e Masaka.

Banne bamwogeddeko ng’atabadde na mutawaana kyokka ng’oluusi anywa enjaga n’atabuka. Abadde atera kuginywa ng’ali ku mulimu nti emwongere amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano

Educationpanel703422 220x290

Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo...

Mulagospecialisedwomenandneonatalhospital3 220x290

Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera...

ABABAKA ba palamenti balaze okutya olw’eddwaliro ly’e Mulago eppya erya gavumenti erijjanjaba abakazi okuba nga...

Gamba 220x290

Ababaka beeyongezza ensimbi mu...

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa...

Kujjukiralubiri1 220x290

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya...

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote