TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Sisinkana Pulezidenti wa Butuluuki omukambwe ng’ennumba akyalidde Museveni

Sisinkana Pulezidenti wa Butuluuki omukambwe ng’ennumba akyalidde Museveni

By Ahmed Mukiibi

Added 2nd June 2016

Oluvannyuma lwa Pulezidenti wa S. Korea , Geun-hye okukyaluka, Pulezidenti Yoweri Museveni ate akyazizza munne owa Butuluuki ( Turkey), Tayyip Erdogan. Kalondoozi wa Bukedde alaze Pulezidenti Erdogan bw’ali omukambwe atanyigirwa mu nnoga.

Ntebe 703x422

Pulezidenti Museveni ng’ayaniriza Erdogan. Mu katono nga bw'afaanana

Oluvannyuma lwa Pulezidenti wa S. Korea , Geun-hye okukyaluka, Pulezidenti Yoweri Museveni ate akyazizza munne owa Butuluuki ( Turkey), Tayyip Erdogan. Kalondoozi wa Bukedde alaze Pulezidenti Erdogan bw’ali omukambwe atanyigirwa mu nnoga.

PUTIN ne gye buli eno akyewuunya omusajja Tayyip Erdogan! Teebereza yali yaakamala okumukyalira,ne balya bombi ebittafuttafu, yamusasula kumukubira nnyonyi n’agisesebbula nga tamaze na kwebuuza ku muntu yenna!

Pulezidenti Tayyip Erdogan eyazze ku bugenyi mu Uganda tatera kutankuula ntalo, kyokka si ye muntu gw’olinnyako n’otambula nga takuwuunye.

Awakanya kino asooke abuuza Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin amunyumize ekyatuuka ku nnyonyi ye ennwaanyi Su-24 eyali esindikiddwa e Syria kyokka n’esaatuukira mu bwengula bwa Turkey.

Amagye ga Erdogan nga tegalina gwe geebuuzizzaako gaayungula ennyonyi ez’ekika kya F-16 ne zisindirira ennyonyi ya Russia ebikompola n’etuntumuka, awatali azikiza muliro! Bannamagye ababiri abaali mu nnyonyi, baafuuka vvu!

Putin yatabuka n’ateeka Erdogan ku nninga ng’ayagala yeetonde olw’okukuba ennyonyi eno mu kiro kya November 24 omwaka oguwedde nga Russia eyagala n’okuliyirirwa. Erdogan yayanukula kimu nti: Obwengula bwa Turkey (Butuluuki) tebusaalimbirwamu; tusobola okubeera ab’omukwano mu bintu ebirala naye bwe kituuka ku byokwerinda, Turkey y’ekulembera.

Basajja ba Putin bejjusa n’obudde bwe baamala mu December wa 2014 nga bakyalidde Erdogan okussaawo enkolagana ey’obwasseruganda wakati wa Turkey ne Russia. Eno y’ennyonyi ya Russia eyasooka okukubwa mu lutalo Putin lwe yali alangiridde ku Pulezidenti Bashar al-Assad mu September 2015.

Mu kwogera teyeerya ntama, emikutu gya yintanenti gimuwunyira ziizi olw’okwetamwa abamuvumirako era gwe baakwatako ng’amuvumira ku Facebook za nnaleero, osibira mu kkomera ne bakumalamu akajenjegule akazinisa atanywa mwenge!

 rdogan owa urkey Erdogan owa Turkey.

 

Tom Voltair Okwalinga ayogera kuno na kuli, aba kuba ng’ali mu Turkey osanga bandibadde baamukwata dda ne bamugatta ku nnalulungi w’e Turkey Merve Buyuksarac 27, eyasingisiddwa emisango gy’okuvuma Erdogan ng’akozesa omukutu gwa yintaneeti ogwa Instagram ne bamukuba ekiggi.

Yayisa etteeka mu 2014, nga liwa Gavumenti ye obuyinza okuggyako omukutu gwa yintaneeti gwonna mu kiseera kyonna we balabidde obwetaavu.

Etteeka lyatandika okuluma mu September wa 2014 bwe yaggyako You Tube ne Twitter lwa kufulumirako katambi akaali kaanika amaloboozi ge baalumika nga Erdogan ayogera ne mutabani we Bilal ku bikwatagana n’okubba ensimbi mu kittavvu kya gavumenti.

 aakingi yezimu ku nnyonyi za urkey eza 16 Paakingi y’ezimu ku nnyonyi za Turkey eza F16.

 

YAGOBA ENKOLA YA KIZAALAGGUMBA

Oli bw’amuyita Nadduli w’e Turkey taba mukyamu kuba tayagala kugerera bantu nzaalo. Okumira obukerenda obwa kizaalaggumba musango gwa naggomola era wadde ab’eddembe ly’obuntu bamulaajanidde enfunda eziwera nga baagala etteeka eriwera ekizaalaggumba liveewo, wabula yeerema!

Omubala gw’akuba guli gumu, “Muzaale mwale…… yaaaaa!”, wadde nga ye abaana alina bana bokka! Bwe bamubuuza lwaki alina abaana batono ate nga bwe kituuka ku bantu abalala abakunga kuzaala nnyo, ayanukula kimu nti; “Allah abo b’akyampadde”.

Omusajja ono eyakammula Putin akatuuyo, kati y’ali mu Uganda ku bugenyi obw’ennaku essatu okuwayaamu ne mukulu munne Pulezidenti Yoweri Museveni. Enguudo zaasibiddwa kumpi mu ngeri y’emu gye baazisibyemu nga tukyazizza Pulezidenti wa South Korea Park Guen-hye.

 lubiri lwa rdogan lulimu ebisenge 1150 Olubiri lwa Erdogan lulimu ebisenge 1,150.

 

TEYEEGUYA MIKWANO

Bamaze ebbanga nga bakolagana ne Russia era mu 2010 baateeka omukono ku ndagaano ez’enjawulo mu by’okuzimba ekkolero ly’ebyokulwanyisa nnamuzisa, okukola piyipu ya ggaasi n’enkolagana endala. Naye omukwano gwa Russia ne Turkey gwajjamu omukoosi olw’olutalo lwe Syria.

Russia eyogerwako ennyo mu kuweesa ebyokulwanyisa eby’amaanyi etiisa n’ensi zi kirimaanyi nga Bungereza ne America mu by’okulwana, kyokka Erdogan naye yawera obutatiirira nsi ye era yamaliriza akubye Putin awaluma n’amutunuza ng’omusajja asudde ‘waleti’! Okuva olwo, Putin ne Erdogan beeyogerera ebisongovu.

Okumanya Erdogan alina akasunguyira ate teyeeguya, mu 2011 ng’akyali Katikkiro wa Turkey, yakulembera eky’okusazaamu endagaano z’amagye zonna ze baalina ne Yisirayiri olw’abakungu ba Yisirayiri okugaana okwetondera Turkey olw’okutta bannansi baayo e Gaza.

Ekiseera kye yamala nga Katikkiro, Armenia y’ensi y’oku muliraano gye yagaana okukyalira ng’agamba kimu nti talina ky’agyeguyaako.

Kino kiviira ddala ku kittabantu mu Ssematalo asooka era ekigobererwa ennyo n’okuteekawo akakuku wakati wa Turkey ne Armenia wadde nga Turkey emaze emyaka egikunukkiriza 100 nga yeegaana nti teyeenyigira mu kutta bannansi ba Armenia. Talima kambugu na bakulembeze ba Iraq era yasigala kubalaba bulabi!

 nalulungi wa urkey ali mu kkomera Nnalulungi wa Turkey ali mu kkomera.

 

TASSA KITIIBWA MU BAAMAWULIRE

Buli mukutu gwa mawulire ogwogera ky’atayagala kuwulira guba mubi. Erdogan tayagala kumugamba ku nsobi z’akola okuggyako okumusuusuuta kyokka.

Amawulire agamu agamuwandiikako by’atayagala agawera ng’ayita mu biragiro bya kkooti.

Wadde bamugambyeko enfunda eziwera ne Amerika yatuuka okumuwandiikira ekiwandiiko naye byonna bimuyita ku mutwe.

Kkooti esembye okuwera olupapula lwa Zaman. Era enfunda nnyingi bannamawulire okuva mu Cihan News Agency ne Zaman bagaanibwa okwetaba mu nkuhhaana za Gavumenti, kuba ebalumiriza okuwandiika ebintu byayo ekifuulannenge.

Kino kimuyambye kubanga emikutu gy’amawulire egisinga obungi kati giweereza ebyo ebisanyusa Erdogan.

Kino kyeyoleka mu 2013, ku kwekalakaasa kw’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Republican People’s Party, bwe baali beekalakaasa ku bitagenda bulungi mu gavumenti ya Erdogan, abaamawulire mu Turkey baagaanibwa okulaga ebifaananyi by’abeekalakaasi era CNN International yokka ye yalaga ebifaananyi bino.

Alina ennyonyi mutasubwa ezitiisa buli nsi Ayogerwako ng’omusajja omumalirivu ate atakyusibwa bwe kituuka ku nsonga gy’akkiririzaamu ne bw’aba agisigaddeko ng’ali bwomu bw’ati.

Bwe yazimba Olubiri lw’Obwapulezidenti ku kibira mu kibuga Ankara nga lutudde ku yiika 50 era kw’okomya amaaso.

 rdogan ulezidenti wa urkey ngayogerera mu luklungaana lwa bannamawulire Erdogan Pulezidenti wa Turkey ng'ayogerera mu luklung'aana lwa bannamawulire

 

Yeemulugunyizibwako nnyo oludda oluvuganya gavumenti nti ky’akola tekiri mu mateeka kuba ekibira kino kyali tekikkirizibwa kuzimbibwako, era yafuna ebiragiro bya kkooti eby’enjawulo ebiyimiriza okuzimba kyokka byonna yabiziimuula era yagendanga mu maaso n’okuzimba okutuusa lwe lwaggwa! Ate mu kusooka wano baali bagenda kuzimbawo ofiisi za Katikkiro, naye bwe yalya obuyinza n’akikyusa n’agafuula amaka g’Obwapulezidenti.

ALABIKIDDE MU BY’OKUBBA OBULULU

Mu 2009, nga ye mukulembeze w’ekibiina kya AKP ayogerwako okubeera mu mivuyo gy’okukukusa obubookisi obukubyeko obululu. Kyokka era kigambibwa ne mu 2011, era bamuteekako olukongoolo okubba obululu mu kulonda abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu.

Bwe yamala okulinnya mu buyinza, Erdogan okulaga abantu nti ye taliiko nziro ya kubba bululu yateekawo enkola ya kompyuta okulondebwako waleme okubaawo yeekwasa, wabula bannansi abamu bakyogerako ng’okutimba bbula.

Kyokka era enfunda nnyingi awagira abali b’enguzi ng’agamba buno butego obubategebwa Amerika ne Yisirayiri. Bino azze abyogera buli lwe bakwata ku bakungu be n’abaana baabwe ku by’enguzi!

 rdogan yeeyita mwoyo gwa ggwanga Erdogan yeeyita mwoyo gwa ggwanga.

 

KU BYOBULAMU AFIIRAWO

Okuva lwe yafuuka Katikkiro wa Turkey mu 2003, akoze enkyukakyuka mu byobulamu, ezoogerwako ng’ez’ebyafaayo. Yaggyawo enkola y’abakungu ba gavumenti n’ebitongole eby’amaanyi mu Turkey okufunanga obujjanjabi obwa waggulu ne baleka abanaku nga basimba layini empanvu.

Kkaadi eya kiragala abanaku kwe bafunira obujjanjabi e Turkey yagyongera amaanyi, nga kati omuntu yenna aweza emyaka 18 afunira obujjanjabi mu malwaliro ge gamu n’abanene awatali kusasulayo wadde omunwe gw’ennusu! Ate mu 2008 yawera okukommontera ssigala mu lujjudde.

Ebifa ku Erdogan

  • Yazaalibwa February 26, 1954 era wa myaka 62.
  • Ye Pulezidenti wa Turkey owa 12 nga yabulya mu 2014.
  • Yaliko Katikkirio wa Turkey okuva 2003-2014.
  • Yaliko omuzannyi w’omupiira mu kiraabu ya Kasimpasa Spor era ttiimu ya Fenerbahçe yali emukansa, kitaawe n’amugaana.
  • Ebyobufuzi yabitandika akyasoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi