TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Eyalekawo muwala wa Mutaasa alaze ssente ng'awasa Omucootala: Abantu abasombedde mu nnyonyi

Eyalekawo muwala wa Mutaasa alaze ssente ng'awasa Omucootala: Abantu abasombedde mu nnyonyi

By Martin Ndijjo

Added 2nd June 2016

EMBAGA agiggye e Kampala n’agikolera Soroti mu Teso. Apangisizza ennyonyi bbiri okusomba abagenyi okubatwala e Teso n’okubazza mu Kampala oluvannyuma lw’okubagabula.

Wasa1 703x422

Abagole nga bawuubira ku bagenyi baabwe ku Soroti Inn ku Lwomukaaga. Lugobe lwe yayanjulwa muwala wa Mutaasa Kafeero, Masitulah mu February w’omwaka oguwedde.

EMBAGA agiggye e Kampala n’agikolera Soroti mu Teso. Apangisizza ennyonyi bbiri okusomba abagenyi okubatwala e Teso n’okubazza mu Kampala oluvannyuma lw’okubagabula.

Hajji Fahad Ibrahim Lugobe, omusuubuzi w’e Nakasero yakubye embaga makeke ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’okwawukana ne muwala wa mugagga munne Hajji Mutaasa Kafeero.

Lugobe ye nnannyini dduuka eritunda ebikozesebwa mu kuzimba erya Kawusara General Hardware e Nakasero okumpi n’akatale.

Ye Minisita wa Kamuswaga w’e Kooki avunaanyizibwa ku Byobusuubuzi n’amakolero. Kamuswaga naye embaga yagibaddeko n’omufuzi w’ennono owa Abagwere.

Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa naye yabadde ku mukolo, Omulangira Kalifani Kakungulu n’omubaka wa Uganda e Saudi Arabia Dr. Rashid Ssemuddu. Lugobe yawasizza Amina Salim.

 bagole nga bawuubira ku bagenyi baabwe ku oroti nn ku womukaaga Abagole nga bawuubira ku bagenyi baabwe ku Soroti Inn ku Lwomukaaga.

 

Baawooweddwa mu muzigiti gwa Soroti International Mosque n’oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe mu wooteeri ya Soroti Inn.

Gwabadde mukolo gwa kitiibwa ogwakoleddwa wakati mu kwerinda okw’amaanyi.

Abagole bakira bakumba bali n’omuserikale w’emmundu. Kyokka Lugobe yategeezezza Bukedde nti talina mpalana na muntu yenna era teyabadde na kwekengera muntu yenna kutaataaganya mukolo.

Yabadde abuuziddwa ekyamutwazizza embaga e Soroti mu kwerinda okw’amaanyi. “Nnina obusobozi obukola embaga mu kifo kye njagala.

 kifo abagole we baatudde kyatimbiddwa kyonna ne kyakaayakana Ekifo abagole we baatudde kyatimbiddwa kyonna ne kyakaayakana.

 

Omukolo ngutaddemu obukadde 300 nsanyuse abagenyi bange ne mukyala wange omugole Dr. Amina Salim Lugobe.” Omugole muwala wa Abdu Salim ow’e Soroti.

N’agamba: Ennyonyi nnazipangisizza ddoola 35,000 nga kuliko n’omusolo (eza Uganda obukadde 110). Ennyonyi zaagudde ku kisaawe kya Soroti Flying School. Zino zaasombye abamu ku bagenyi ate abalala ne bayita ku ttaka.

Abagole baatambulidde mu mmotoka Range Rover ez’ebbeeyi. Omugole omukyala yamukwasizza ekirabo kya mmotoka BMW.

  gye baatonedde omugole BMW gye baatonedde omugole.

 

Ekifo awaabadde eby’okunywa n’okulya kyatimbiddwa ne kitemagana. Abagole baasaze keeki eyakoleddwa mu kifaananyi ky’omugole ng’ayambadde gawuni.

Lugobe alina omukyala omukulu n’amaka okuli agali mu Kikumbi Zooni e Bunnamwaya omwali mubeera muwala wa Mutaasa Kafeero.

 bagole nga bagabula amuswaga ku kkono Abagole nga bagabula Kamuswaga (ku kkono).

 

Mutaasa ye nnannyini Hotel Triangle ku Buganda Road, Mutaasa Kafeero Plaza ku William Street ne Mutaasa Emporium ku Entebbe Road.

Lugobe ayogerwako ng’omusajja omukambwe era bwe yafuna obutakkaanya ne muwala wa Mutaasa yamukuba emiggo ng’amulanga obwenzi, okucakala n’asula mu bidongo n’obutamuwulira.

 dduuka lya ugobe erisangibwa e akasero Edduuka lya Lugobe erisangibwa e Nakasero.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi