TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abajulizi be bafuula Uganda okuba ey’enjawulo - Paapa

Abajulizi be bafuula Uganda okuba ey’enjawulo - Paapa

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2016

OMWAKA mulamba bukya Paapa Francis akyala e Namugongo wabula Uganda teyinza kumuva ku mutima olw’ekkula ly’Abajulizi abaagifuula ensi ey’enjawulo.

Kiri1 703x422

Paapa Francis ng’afukamidde ku kiggwa ky’Abajulizi e Nakiyanja ng’abasabira.

OMWAKA mulamba bukya Paapa Francis akyala e Namugongo wabula Uganda teyinza kumuva ku mutima olw’ekkula ly’Abajulizi abaagifuula ensi ey’enjawulo.

Nga yaakamaliriza obugenyi bwe yatandikira e Kenya n’adda mu Uganda nga November 27, 2015 olwo n’awunzikira mu Central African Republic, Paapa yayogerako ne bannamawulire era yamala ekiseera ng’ayogera ku Uganda n’enjawulo gy’erina ku mawanga amalala.

Bwe baamubuuza by’alabye mu mawanga asatu, Paapa yayanukula bw’ati: Mu nsi essatu, bannyanirizza nnyo era baabadde n’essanyu eriviira ddala ku ntobo y’emitima gyabwe era nakakasizza nti balina ekifo kya njawulo mu kwaniriza abagenyi.

Buli nsi erina by’eyawukanya ku ndala; Kenya eri wagguluko mu nkulaakulana. Uganda erina ekkula ly’Abajulizi: Bannayuganda Abakatoliki n’Abapolotesitante bonna wamu bassa nnyo ekitiibwa mu Bajulizi.

Nagenze ku biggwa byombi era nasookedde ku ky’Abapolotesitante oluvannyuma ne ηηenda ku ky’Abakatoliki era okujjukira Abajulizi kye kimu ku bifuula Bannayuganda ab’enjawulo. Obuvumu omuntu bw’aba nabwo okutuuka okuwaayo obulamu bwe ng’alwanirira ensonga entuufu gy’akkiririzaamu tulina okukitenda n’okukibakoppako.

Ate Central African Republic bayaayaanira mirembe, okutabagana n’okusonyiwagana bafuuke basseruganda wadde nga balina enzikiriza ez’enjawulo.”

Paapa yagamba nti ekimu ku birina okulowoozebwako mwe muli enjawulo ennene wakati w’abagagga n’abaavu mu mawanga ga Afrika omuli n’ebigambibwa nti ebyobugagga 80 ku 100 biri mu mikono gy’abagagga ate ng’abagagga abo bali 17 ku buli 100 bokka.

Yayongerako nti okuggyako ng’ekyo kikyuse, kaweefube w’okukyusa embeera z’abantu n’okulwanyisa obwavu tasobola kutambula bulungi.

Yakubiriza amawanga ga Afrika okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, eddembe lya bannamawulire basobole okwanika abali b’enguzi n’abakozesa obubi ofi isi okunyigiriza abantu n’okumenya amateeka.

Yagattako nti amawulire nago galina okutwala obuvunaayizibwa okwewala kyekubiira, okuggyayo ensonga mu bulambulukufu n’obutasiiga nziro bantu mu bugenderevu nga tebalina nsobi.

Yagamba nti bannaddiini okwogera ku nsonga z’ebyobufuzi tekyewalika naddala nga babuulira ku nneeyisa n’enkola entuufu ezizimba abantu mu mubiri ne mu mwoyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte