TOP

Engeri Paapa gye yakyusa Namugongo

By Edward Sserinnya

Added 3rd June 2016

EKIGGWA ky’Abakatoliki e Namugongo n’eky’Abakristaayo e Nakiyanja birabika bulungi mu kiseera kino olw’okuyooyootebwa mu ngeri ezitali zimu.

Kyusa 703x422

Paapa, Ssaabalabirizi Ntagali ne Ssaabalabirizi eyawummula, Livingstone Nkoyoyo nga basaba.

EKIGGWA ky’Abakatoliki e Namugongo n’eky’Abakristaayo e Nakiyanja birabika bulungi mu kiseera kino olw’okuyooyootebwa mu ngeri ezitali zimu.

Newankubadde nga waaliwo entegeka okukulaakulanya Namugongo, wabula okukyala kwa Paapa Francis okwaliwo ku nkomerero ya November wa 2015 kwayongeramu ggiya.

Msgr. Charles Kasibante, Vica General wa Kampala agamba: Paapa Francis yafuula okuyooyoota Namugongo okuba okwangu, okumukyusa pulaani n’endabika era oba oli awo ssinga yali si waakujja mu Uganda omulimu gw’okuddaabiriza Namugongo tegwanditambudde ku misinde nga bwe gwali.

 ndabika yekiggwa kyabajulizi e amugongo Endabika y’ekiggwa ky’abajulizi e Namugongo.

 

Eby’okumunyiriza ng’obitadde ku bbali, yayongera okulaga abantu obukulu bwa Namugongo n’Abajulizi.

Emu ku nsonga ekulembera Bapaapa okujja kuno ya Bajulizi, noolwekyo olw’okuba ekiggwa ekikulu kiri Namugongo abantu basigala bamutaddeko amaaso n’okukkiriza.

Namugongo yasigala mu kifaananyi ekisikiriza abalambuzi, era omuwendo gwabwe ku mulundi guno gweyongedde.

Okujja kwa Paapa kwayongera erinnya Namugongo okuvuga ne lisensera mu bantu n’abaana. Paapa yagatta abantu ab’enjawulo, twalaba ne Pulezidenti Museveni ng’akwata Besigye mu ngalo!

 balamazi nga bakuhhaanidde ku kijjukizo kya alooli e amugongo Abalamazi nga bakuhhaanidde ku kijjukizo kya Kalooli e Namugongo.

 

Wabula waliwo okusoomozebwa Paapa kwe yatulekera, okw’okulaba nga twongera okwagala n’okutegeera Abajulizi baffe n’okumanya nti baatufi irira kuba olaba omuntu ow’ekitiibwa nga Paapa ategeera bulungi obukulu bw’Abajulizi ba Uganda naye ate ffe be bali ku nnyindo!

Kale okukkiriza kwaffe kulina okunywera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...