TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bw’oba olamaze lwa kinyumu olunaku lukufudde - Bp. Luwalira

Bw’oba olamaze lwa kinyumu olunaku lukufudde - Bp. Luwalira

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2016

LEERO kulamaga Namugongo, olunaku Abajulizi ba Uganda lwe battibwa. Namugongo alimu ebitundu bibiri, eky’e Nakiyanja eyattirwa Abajulizi 23 Abapolositante, n’e Bulooli eyattirwa Abakatoliki 22.

Gongo1 703x422

Omulabirizi w’e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira

LEERO kulamaga Namugongo, olunaku Abajulizi ba Uganda lwe battibwa. Namugongo alimu ebitundu bibiri, eky’e Nakiyanja eyattirwa Abajulizi 23 Abapolositante, n’e Bulooli eyattirwa Abakatoliki 22.

Ku ludda lw'Abakulisitaayo okusaba kw’omulundi guno kutegekeddwa obulabirizi bw’e Namirembe obukulembedde omukolo. Peter Saava yasisinkanye omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Wilberforece Kityo Luwalira n’ayogera ku Bajulizi ba Uganda, lwaki Abakulisitaayo bakyakoobedde mu kubakuza n’ebirala.

Obutafaananako n'enteekateeka ezibaddewo, okuva nga May 28, obulabirizi bubadde n’emikolo egy'enjawulo egikulembera omukolo gw’olwaleero.

Wiiki ewedde, obulabirizi bwasisinkanye abaana abato ne bannyonnyolwa ebyafaayo by'Abajulizi, ku Ssande baabadde ku mwalo gw'e Mulungu e Munyonyo, Omujulizi Musa Mukasa gye yattirwa okumujjukira.

Ku Mmande n'Olwokubiri, ekibiina ky'abakyala abafumbo wamu nky'abakkiriza mu Kkanisa(CWF) ne bagenda okusiiba ku kiggwa e Namugongo nga babuliira ekigambo kya Katonda, okuzzaamu abantu essuubi ate ku Lwokusatu, olusiisira lw'ebyobulamu lwatandise nga lukomekkerezebwa leero.

 booluganda bano abana okuva e usia baatandika okulamaga e amugongo mu 1978 e ku luno e amugongo baagobye dda Abooluganda bano abana okuva e Busia baatandika okulamaga e Namugongo mu 1978. Ne ku luno e Namugongo baagobye dda.

 

Ekiro ekikeesezza olwaleero, waabaddeyo enjiri eyakulembeddwa abavubuka eyayingizza Abakristaayo mu lunaku lw’Abajulizi. Omulabirizi Luwalira addamu ebibuuzo:

Pulogulamu eyimiridde etya olw’okulamaga nga June 3?

Emikolo gyakutandika ku ssaawa 3:00 ez'oku makya era Ssaabalabirizi Stanley Ntagali y’agenda okukulembera okusaba kuno. Kwakuggwa ku ssaawa 7:00.

Ku mulundi guno tuleese omubuulizi w'enjiri okuva e Nigeria mu bulabirizi bw’e Ogubaro, Rev. Samuel Izofo agenda okuyisa abakkiriza mu njiri. Omulamwa guli nti: Balina omukisa abayigganyizibwa olw’okubeera abatukuvu era tusuubira nti bangi tebajja kusigala kye kimu.

Emikolo egibadde e Namugongo tubadde tusanga obuzibu mu byuma ebikozesebwa, ku mulundi guno tusuubire ki?

Nga bulijjo ebyuma bimanyi okucankalana naye nga bwe kiri nti obulabirizi bw’e Namirembe bwe butegese,ekitongole ekibuulizi ky'enjiri kyaguze ebyuma ebipya. Twesanze ng'abavubuka bangi badduse mu Kkanisa era mu kino tugenda kubabuulira ebigambo ebibagumya n'okwagala ekkanisa.

Okuva Namugongo lwe yatandika okuyooyootebwa, ebyobulambuzi byeyongeddeko bitya?

Mu kiseera kino bw'otunuulira embeera ekulaga nti abalambuzi beeyongedde obungi ate ne ku lunaku lw'okulamaga tusuubira nti bajja kuba bangi kuba ekifo kyamala dda okuyooyotebwa.

 balamazi ku kibumbe kya ukaajanga e akiyanja Abalamazi ku kibumbe kya Mukaajanga e Nakiyanja

 

Lwaki Ssaabalabirizi eyawummula, Nkoyoyo ye yaweebwa obuvunaanyizibwa ku kuyooyoota Namugongo?

Mu buli kitongole wabaawo obuvunaanyizibwa obuweebwa abantu ku mirimu egy'enjawulo era ng'Ekkanisa ya Uganda, omukisa gw'okuyooyoota Namugongo yaguwa Bp. Nkoyoyo okusinziira ku ngeri gy'akolamu emirimu.

Ekkanisa ya Uganda esaze magezi ki okulaba ng'ekkanisa y’e Namugongo egaziyizibwa?

Mu 1982 we nasomerayo, ekifo awali etterekero ly'ebyedda we twali tusabira okutuusa Rev. Valson Mugwerwa eyaliwo mu kiseera ekyo we yazimbira ekkanisa era mu kino tusuubira nti essaawa yonna ekirowoozo ky'okuteekawo ennene kijja kujja kuba abakkiriza beeyongedde. Waaliwo enteekateeka okukola amazzi g’okunywa okuva mu luzzi mwe battira Abajulizi ezaali zaaletebwa.

Zaakoma wa?

Ensonga zino zaatwalibwa mu ofiisi y'okuteekateeka n'okukulaakulanya Ekkanisa era tusuubira nti mu bbanga ttono enkola eno ejja kutandika.

 kifo omukuumirwa ebintu byebyafaayo ebikwata ku ajulizi ekyazimbiddwa e amugongo akiyanja Ekifo omukuumirwa ebintu by’ebyafaayo ebikwata ku Bajulizi ekyazimbiddwa e Namugongo- Nakiyanja.

 

Emyaka 130 egy'Abajulizi, ekifo Namugongo kikyuse kitya?

Namugongo kati bw'omutunuulira kye kifo ekirina ettendekero ly'abaawule n'abasumba, etterekero ly'ebyedda ate nga kkuhhaaniro ly’abantu ab'enjawulo okujjukira Abajulizi abaafirira eddiini. Kino ky’ekikyuse, kizimbiddwa nnyo, kigaziyiziddwa ate kikung'aanyizza.

Kusoomooza ki Ekkanisa kw’efunye mu myaka 130 egy'Abajulizi?

Mu 1977, Ekkanisa ya Uganda yali ekuza emyaka 100 egy'okubeerawo era ku lunaku luno twafuna amawulire amabi ag'okuttibwa kwa Ssaabalabirizi Janan Luwum.

Wabaddewo ebizibu bingi, naye nze ndowooza enjawukana ezibaddewo mu Kkanisa n’amakanisa ag’enjawulo kye kizibu ekisinze.

Okutambuza ebigere okulamaga e Namugongo mu Kkanisa ya Uganda kweyongedde, kulina amakulu?

Okutambula kuno kwava dda naye bw'obaliriramu olaba nga mu biseera bino abantu beeyongedde obungi ekiraga nti abantu bangi bakyali mu Kkanisa.

Okutambula okufuna empeera kisinziira ku ngeri omuntu gye yeegayiriddemu Katonda we. Osanga bangi abatambudde naye nga tebatuukirizza mulamwa gwa kutambula kwabwe, ng'abamu babadde mu kinyumu. Noolwekyo oyinza okutambula n’otofuna mpeera, bw’oba teweekwasizza Mukama.

Bubaka ki bw’owa abalamaze leero?

Mu kulamaga kuno nsuubira nti abantu bandirowoozezza ku kukkiriza, obuvumu mu bye bakola, okwewaayo mu nsonga ezimu, okwagala Katonda n’okumusuuta kubanga lino ly’essomo Abajulizi ba Uganda lye baatulekera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lyagondamarketinghisbamboocharcoalwebuse 220x290

Engeri ennyangu gy'okola amanda...

Kola amanda mu mabanda ofune ekiwera nga bw'okuuma obutonde bw'ensi

Kita 220x290

Kitatta waakumala wiiki endala...

EBYA Abudallaha Kitatta okuva mu kkomera byongera oku­wanvuwa buli olukya n’eggulo byagaanyi oludda oluwaabi bwe...

Kawooya2 220x290

Kitaawe wa Kirumira agobye abaserikale...

“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa...

Bobius1 220x290

Tewali Muzungu ampa ssente okutabula...

“Tusabire eggwanga lyaffe Katonda ayongere okuggula amaaso n’emitima gy’abatukulembera bamanye nti baliwo kuweereza...

Cham 220x290

Chameleone yeegaanye eby’okwawukana...

Jose Chameleone avuddeyo ku by'okwawukana ne mukyala we Daniella, abyegaanye era agamba sikitufu Daniella gy'ali...