TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omugagga wa Fuelex aludde ng'akukusa amafuta bamukwatidde Ntebe ng’adduka ne famire

Omugagga wa Fuelex aludde ng'akukusa amafuta bamukwatidde Ntebe ng’adduka ne famire

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2016

OMUSUUBUZI w’amafuta omututumufu nnannyini masundiro ga Fuelex eyakwatibwa olw’obutawa musolo, kyokka poliisi n’emuta, azzeemu n’akwatirwa ku kisaawe ky’e nnyonyi e Ntebe ng’agezaako okudduka mu ggwanga ne famile ye.

Manya 703x422

OMUSUUBUZI w’amafuta omututumufu nnannyini masundiro ga Fuelex eyakwatibwa olw’obutawa musolo, kyokka poliisi n’emuta, azzeemu n’akwatirwa ku kisaawe ky’e nnyonyi e Ntebe ng’agezaako okudduka mu ggwanga ne famile ye.

John Imaniraguha yakwatiddwa ku Ssande ku ssaawa mukaaga ez’emisana ng’ali ne famire ye yonna wakati mu bukuumi wabula kyokka abaserikale ba URA ne bamutaayiza ne bamulemesa okulinnya ennyonyi ne bamukwata.

Sarah Birungi omwogezi wa URA yategeezezza ku Ssande nti John Imaniraguha batutte ekiseera nga bafuna okwemulugunya okuva mu basuubuzi banne ab’amafuta olw’amasundiro ge okusala ebbeeyi bbo ne basigala nga tebatunda ate nga bawa emisolo era nga beebuuza wa gy’agasuubula g’atundira ku bbeeyi eyawansi ennyo.

Okukwata Imaniraguha kyaddirira URA okukwakata lukulana eyali efukumula amafuta mu ssundiro ly’amafuta erya Planet e Bwaise era oluvannyuma lw’okunoonyereza okuva eri omuwandiisi w’amakampuni mu ggwanga kyazuulibwa nga nayo ya John Imaniraguha.

John Imaniraguha

Abadde ayingiza amafuta mu ggwanga mu lukulalana ezisaabaza amafuta g’ennyonyi eziwandiikibwako Jet-A-1 nga gano tegaggyibwako musolo era nga tegabikkulwa kukeberwa kubanga amafuta g’ennyionyi bwe gayiikamu ekintu kyonna gonooneka olwo Imaniraguha n’akozesanga omukisa guno okuyisaawo petulooli ne dizero nga tafasudde musolo.

Agnes Nabwire akulira ebikwekweto mu URA yagambye mu mbeera eno batera kwesigama ku biwandiiko wabula nga bukya kkampuni eno etandikibwawo ebadde yeenyigira mu kakodyo kano era nga baatandise okunoonyereza ku bulabbayi buno obuviira ddala gye baggya amafuta mu mawanga ag’ebweru.

“Agamu ku mafuta agayingizibwa nga mu ggwanga nga tegamaze kwekebejjebwa tegaba ga mutindo gwetaagisa mu yingini z’emmotota naddala ezo enkola empya,” Nabwire bwe yagambye.

maniraguha chats with a relative after his arrest hoto by amadhan bbey

John Imaniraguha ng'ayogeraganya n'omu ku booluganda lwe

Yagambye nti okukusa amafuta y’emu ku nsonga lwaki bbeeyi yaago eyawukana ekisukkiridde okuva ku ssundiro erimu okudda ku ddala uba abatasasula musolo emiwendo gyabwe gisigala nga gya wansi ddala.

URA ng’eyambibwako ekitongole ky’omutindo mu ggwanga ekya UNBS bekebejja amafuta agakwatibwa ku ssundiro lya Planet e Bwaise gye buvuddeko nga kulukulana kuwandiikiddwako ebigambo nti mafuta ga nnyonyi kyokka oluvannyuma bakizuula nti yali dezero.

Lukululana yawambibwa n’etwalibwa ku kitebe kya URA e Nakawa nga wiiki ejja gasuubirwa okutundibwa ku nnyondo nga n’okunoonyereza ku bumenyi bw’amateeka buno bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 220x290

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye...

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina...