TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ebya Jeff bifuuse nnamulanda....Moze ne Weasel balumirizza obulogo

Ebya Jeff bifuuse nnamulanda....Moze ne Weasel balumirizza obulogo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2016

ABAYIMBI Moze Radio ne Weasel (muganda wa Chameleone) balumirizza maneja w’abayimbi Jeff Kiwanuka amanyiddwa nga ‘Jeff Kiwa’ okwenyigira mu bikolwa eby’obulogo.

Kola 703x422

Jeff . Ku ddyo, Moze ne Weasel

ABAYIMBI Moze Radio ne Weasel (muganda wa Chameleone) balumirizza maneja w’abayimbi Jeff Kiwanuka amanyiddwa nga ‘Jeff Kiwa’ okwenyigira mu bikolwa eby’obulogo.

Bino baabitadde mu katambi ke baakutte ne bagamba nti Jeff Kiwa okubuulirizibwako ku by’okusalako omwana omutwe tekibeewuunyisa kubanga bw’atabuka n’omuntu akozesa nnyo olulimi lwa ‘Nja kukusiraanya odde mu kyalo”.

Bino bizzeewo nga balooya ba Jeff Kiwa balwana bwezizingirire okumuggya ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku bazza emisango egy’amaanyi (SIU) e Kireka gye yaggalirwa nga bamubuulirizaako ku by’okusaddaaka omwana.

Akatambi ka Moze ne Weasal ke baatadde ku mukutu gwa facebook kagenda bwe kati;

“Jeff ne banno, tujje mu kamwa ko, weesiba ku bintu byaffe bye twakola n’ogamba bibyo ne weesiba ku nnyumba n’ogamba yiyo, Jeff wang’amba ogenda kundoga ogenda kunziza mu kyalo naye Jeff twakugamba ekigambo kimu ove ku bintu by’ekirogo ogoberere Mukama Katonda eyakutonda n’akuteeka mu nsi eno era nkimanyi ebigambo bino bye njogera mubiwulira, Jeff ne Allan mubimanyi.

Ebintu by’eddogo twabagamba mubiveeko nga mubyesibako, kakati mukoze ebintu byammwe mumaze okusaaddaka abantu bammwe mukutte emitwe gyammwe ate mutwesibako, Jeff bw’oba ng’oyagala okulya obuzibu bwo bweriire wekka, buli omu ali bibye tulina ebizibu byaffe bitumala okusinga okuddawo nti Jeff yakoze….”

Jeff, yakwatibwa poliisi gye buvuddeko oluvannyuma lw’omuvubuka Herbert Were ow’e Busia okusangibwa n’omutwe gwa muto we, Joel Ogema n’ateegeza nga bwe yali agutwalira ‘Jefu’, ng’amulagidde okugumusanza ku bbaala ya Dejavu e Kansanga.

Ddiiru y’omutwe gw’omwana nti yali egendererwamu kumuyingiza mu kibiina kya ba Illuminati agaggawale.

Balooya ba Jeff bagenda mu kkooti esalewo ku muntu waabwe Looya wa Jeff, Fred Muwema yategeezezza Bukedde wiiki ewedde nga bwe bawandiikidde dayirekita w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CIID nga beemulugunya n’okusaba ku nsonga eziwerako omuli omuntu waabwe okulwa mu kaduukulu ka poliisi era bagala atwalibwe mu kkooti avunaanibwe bw’aba ng’alina emisango gye yazza nti kyokka n’okutuusa kati tewali kyakoleddwa. “Ssemateeka agamba ssaawa 48, naye Jeff kati ali mu nnaku 10.

Olwokutaano lwabadde lunaku lukulu ate ku Lwomukaaga ne Ssande wiikendi kati tumusuubira okuyimbulwa ku leero. bw’atavaayo tugenda mu kkooti ekake poliisi emuleete,” Muwema bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti baagala nnyo okumanya obujulizi poliisi bw’ezudde kubanga eggalidde omuntu waabwe ebbanga ddene nga yeefuula enoonyereza.

Poliisi erinda lipoota y’abakugu okusalawo ekiddako Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga bwe yabuuziddwa ensonga za Jeff we zituuse, yagambye nti balinda lipoota enzijuvu okuva mu kitongole kyabwe ekikola ku kwekenneenya empuliziganya y’amasimu n’okulondoola emikutu gya yintaneti naddala Face book ekya (ICT) ekyaweebwa obuvunaanyizibwa okuzuula ekituufu oba Jeff alina akakwate ku bubaka Were bwe yabalaga ne ku ssimu nti bwamuweerezebwa abantu abalala bamusaba omutwe gw’omuntu okumuyingiza mu kibiina ky’abagagga ekya Illuminati agaggawale.

Enanga agamba amangu ddala nga lipoota efuulumye bagenda kusalawo ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi