TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Stella Nyanzi eyeeyambula bamuyise mu kakiiko akakwasisa empisa akangavvulwe

Stella Nyanzi eyeeyambula bamuyise mu kakiiko akakwasisa empisa akangavvulwe

By Benjamin Ssebaggala

Added 6th June 2016

AKAKIIKO akassibwawo okunoonyereza ku Dr. Stella Nyanzi Omusomesa w’e Makerere eyeeyambula kasembye atwalibwe mu kakiiko akakwasisa empisa akangavvulwe.

Drnyanzireport1 703x422

AKAKIIKO akassibwawo okunoonyereza ku Dr. Stella Nyanzi Omusomesa w’e Makerere eyeeyambula kasembye atwalibwe mu kakiiko akakwasisa empisa akangavvulwe.

Akakiiko kasembye nti Dr. Nyanzi yakola nsobi okugaana okusomesa nga mukama we Polof. Mahmood Mamdani bwe yali amulagidde kubanga kiri mu ndagaano emuwa omulimu era okugaana okukikola yamenya endagaano gye yakola ne Makerere.

Akakiiko kano akaatondeddwawo April 22, 2016 akaliko: Hajjat Sharifah Buzeki owa minisitule ya Public Service, Polof. Sarah Kiguli w’e Makerere, Dr. Sarah Ssali ne Jude Mbabaali okuva mu Uganda Law Society.

Kekenneenyezza ensonga okuli: Engeri gye batambuzaamu emisomo gya PhD, Engeri gye batambuzaamu okunoonyereza, Akakwate akaliwo wakati w’abakola okunoonyereza n’enteekateeka z’okusomesa abayizi ba PhD, Abakozi abaliyo n’ani nnampala abavunaanyizibwako, engeri ssente gye zikwatibwamu ku MISR.

 ajjat harifah uzeki owa minisitule ya ublic ervice ngakwasa ruce alaba abaasa sentebe wolukiiko olugaba emirimu e akerere eggulo semba ku ddyo ye ude babaali okuva mu ganda aw ociety bifaananyi bya enjamin sebaggala Hajjat Sharifah Buzeki owa minisitule ya Public Service ng'akwasa Bruce Balaba Kabaasa sentebe w’olukiiko olugaba emirimu e Makerere eggulo. Asemba ku ddyo ye Jude Mbabaali okuva mu Uganda Law Society. Ebifaananyi bya Benjamin Ssebaggala

Bino byonna okujja kyavudde ku kikolwa kya Dr. Nyanzi okweyambulira e Makerere ku ntandikwa ya April ng’agamba nti awakanya okutulugunyizibwa Polof. Mamdani kwe yali amuyisaamu.

  • Akakiiko kaazudde era ne kasemba ensonga ez’enjawulo okuli:
  • Dr. Nyanzi okutwalibwa mu kakiiko akakwasisa empisa akangavvulwe kubanga yatyoboola ekitiibwa kya Makerere ng’avvoola erinnya lyayo.
  • Okumala emyaka etaano tewaddewo kubalirira bitabo ku MISR ne kasemba kikolebwe ne ssente zonna eziyingira n’okufulumizibwa ku ttendekero lino ziyisibwe mu mikono gya baasa wa yunivasite.
  • Lipoota yasembye akulira ekitongole ekirabirira abakozi atwalibwe mu kakiiko akakwasisa empisa kubanga talina kye yakolawo nag Dr. Nyanzi. Polof. Mamdani n’abalala abakwatibwako bututteyo okwemulugunya kwabwe.
  • Lipoota enenya omumyka wa Cansala wa Makerere Polof. John Ddumba Sentemau okutuula n’azingira emikono ng’obuvuyo buno bwonna bugenda mu maaso.
  • Dr. Nyanzi teyasomesa nga bw’ateekeddwa okukola era okunoonyereza kwe yali akukolera ku ttendekero ly’amateeka ne ofiisiye n’abayambibe gye biri.

Hajjat Sharifah Buzeki abadde sentebe w’akakiiko lipooti yagikwasizza Bruce Balaba Kabaasa ssentebe w’olukiiko olugaba emirimu e Makerere eggulo.

Kabaasa yagambye nti akakiiko kano tekaanoonyerezza ku kweyambula kwa Dr. Nyanzi wabula ekikolwa kye yali mmanduso okulaba nga bazuula emivuyo egivunzizza Makerere.

Yategeezezza nti olukiiko lutuula ku Lwakutaano ku makya okusalawo ekiddako ku byasembeddwa mu lipooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...