TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omugagga wa Fuelex avunaaniddwa ogw'obutasasula musolo

Omugagga wa Fuelex avunaaniddwa ogw'obutasasula musolo

By Alice Namutebi

Added 7th June 2016

OMUGAGGA wa Fulex John Imaniraguha asimbiddwa mu kkooti navunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’amafuta g'atasasulidde musolo agabalirwamu obukadde obusoba mu 12.

Para 703x422

Omugagga wa Fuelex John Imaniraguha ng'atwalibwa ku kkooti okuvunaanibwa emisango gy'okusangibwa n'amafuta g'atasasulidde musolo. EKIF: ALICE NAMUTEBI

OMUGAGGA wa Fulex John Imaniraguha asimbiddwa mu kkooti navunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’amafuta g'atasasulidde musolo agabalirwamu obukadde obusoba mu 12.

John Imaniraguha yakwatiddwa ku Ssande poliisi y'oku kisaawe ky’e Ntebe bwe yabadde agezaako okudduka mu Uganda era eggulo ku Mmande yatwaliddwa ku kkooti y’abalyake  n'asomerwa omusango gw'okusangibwa n’amafuta g'atasasuliridde musolo wabula n'ateebwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 6.

Ekitongole ekisoloozo omusolo mu ggwanga, ekya Uganda Revenue Authority (URA) kitegeezezza omulamuzi John Peter Lochomin nti  nga April 15 2016, Imaniraguha yasangibwa ne liita za dizelo 13,250 ku ttabi lya Fuelex erisangibwa e Wakaliga kyokka byonna n'abyegaana.

Balooya be baategeezezza omulamuzi nti Imaniraguha atawanyizibwa endwadde z’olukonguba mu mbeera eno, tasobola kubeera mu kkomera omuli omugotteko era ne baleeta n’abantu 3 abaamweyimiridde, omulamuzi  kwe yasinzidde okumuta.

Imaniraguha era yaggyiddwako paasipoti ye era n'alagirwa nti bw'aba ayagala okufuluma Uganda alina okukola okusaba okutongole mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA