TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ziizino ensonga kwe baasinzidde okulonda baminisita abapya

Ziizino ensonga kwe baasinzidde okulonda baminisita abapya

By Kizito Musoke

Added 8th June 2016

ENSONGA zizuuse ezaasinziddwaako okulonda bamanisita abapya mu kabineti eyafulumye ng’abasinga baalondeddwa lwa buwulize, obuganzi mu bantu, n’okwagala okunyweza obuganzi bw’ekibiina mu bantu.

Aaaaaabig70342217 703x422

Okuva ku kkono; Beti Kamya, Hajji Abdu Nadduli ne Lt. Gen Henry Tumukunde

ENSONGA zizuuse ezaasinziddwaako okulonda bamanisita abapya mu kabineti eyafulumye ng’abasinga baalondeddwa lwa buwulize, obuganzi mu bantu, n’okwagala okunyweza obuganzi bw’ekibiina mu bantu.

LT. GEN HENRY TUMUKUNDE, MINISITA W’OBUTEBENKEVU BW’EGGWANGA:

Ono munnamateeka nga yayingira mu magye mu 1982 nga NRM ekyali mu nsiko. Olutalo bwe lwaggwa n’aweebwa ekitiibwa kya Major. Yakulirako ekitongole ekiketta munda mu ggwanga (ISO) n’okubeerako omubaka wa Palamenti ng’akiikirira amagye.

Mu 2005 yafuna obutakkaanya n’ayawukana ne Gavumenti nga bamulumiriza okugenda ku leediyo n’avumirira Gavumenti n’engeri bannamagye gye bakuzibwamu.

Yawerennemba n’emisango mu kkooti omwali n’okulya mu nsi ye olukwe, okutuusa mu 2015 we yaggyibwako emisango. Mu kulonda okwakaggwa, Tumukunde akwenyigiddemu nnyo era nga yalabibwako emirundi ng’atambulira mu nnyonyi. Ono ayogerwako nga kafulu mu by’okuketta.

ROSEMARY SENINDE, MINISITA W’EBYENJIGIRIZA EBYA PULAYIMALE:

Abadde mubaka wa Palamenti omukazi owa Wakiso okuva mu 2001, mu kitundu ekimanyiddwa nga kisingamu bantu ba ludda oluvuganya Gavumenti.

Senninde musomesa era yasomesaako e Wampewo Ntakke era n’addukanyaako n’essomero lya Kide Primary School. Kigambibwa nti, ekyamuweesezza ekifo, Pulezidenti yayagadde okuzza obuganzi bw’abantu b’e Wakiso abaamuwa obululu obutono mu kulonda okwakaggwa.

Mu kiseera kino Senninde ye mukulembeze wa NRM mu disitulikiti ya Wakiso.

JOY KABATSI, MINISITA OMUBEEZI OW’EBYOBULUNZI:

Munnamateeka nga yaliko omuyambi wa Pulezidenti avunaanyizibwa ku byamateeka mu ofiisi ye.

Aludde ng’avuganya ne Anifah Kawooya ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule.

Lumu yalangirirako nga bwe yali avudde mu byobufuzi abirekere Kawooya, kyokka yamala n’akomawo.

Mu kiseera kino era Kabatsi akyalina omusango mu kkooti ng’avunaana Kawooya okubeera nga talina buyigirize bumusobozesa kwesimbawo. Okulondebwa kwe kwatunuuliddwa ng’okumugamba ave ku Kawooya.

YING. NTEGE AZUBA, MINISITA W’EBYENGUUDO:

Yinginiya mulamba ng’ava mu buvanjuba bwa Uganda. Mu April 10, 2014 yalondebwa okutuula ku lukiiko olufuzi olufuga ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo ekya UNRA.

Yakolerako mu Stanbic Bank, nga maneja avunanyizibwa ku by’okulabirira ebintu bya banka. Nga minisitule eno erimu obuvuyo bw’okubulankanya ensimbi nga n’abakungu abamu bali mu kkooti, Pulezidenti yasazeewo okukyusa baminisita abagibaddemu.

DENNIS GALABUZI SSOZI, MINISITA WA KANYIGO KE LUWEERO:

Ye mubaka wa Busiro North, nga ye yawangula eyaliko omumyuka wa Pulezidenti Gilbert Bukenya.

Yakuguka mu byobugagga eby’omu ttaka n’ebyamazzi. Galabuzi yategeezezza nti tayinza kumanya nsonga yamulondesezza, kyokka kye yeekakasa nti ye akulembeza bikolwa okusinga ebigambo.

Okulondebwa kwe kwatunuuliddwa ng’okunyweza NRM mu Wakiso, n’okulaga abantu b’ekitundu nti Pulezidenti akyabalowoozaako wadde yaggyawo Bukenya.

GODFREY KIWANDA, MINISITA OMUBEEZI OW’EBYOBULAMBUZI:

Kiwanda ye mubaka wa Mityana North, era y’abadde ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda.

Kiwanda obukulembeze yabutandikira ku bwakkansala w’abavubuka ku lukiiko lwa disitulikiti e Mubende.

Okulondebwa kwe, kuyambye disitulikiti ye Mityana okusigaza ekifo kya minisita ekibaddemu Vicent Nyanzi.

PERSIS NAMUGANZA, MINISITA OMUBEEZI OW’EBYETTAKA:

Namuganza mumbejja w’e Busoga, era omubaka w’essaza ly’e Bukono mu disitulikiti ye Namutumba.

Abadde mumyuka w’omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti ye Luweero, nga yawangula talina kibiina. Namuganza abadde ayamba Pulezidenti mu kumusisinkanya ababaka ba NRM abaalondebwa nga tebalina bibiina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfiira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...