TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Akozesa muganzi we ne babba n'okutta aba bodaboda bamukutte: Gw'atuma omubanona ku siteegi

Akozesa muganzi we ne babba n'okutta aba bodaboda bamukutte: Gw'atuma omubanona ku siteegi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2016

ABATUUZE b’e Kiti okumpi ne Matugga ku lw’e Bombo, baludde nga beesiimisa Jamar Mudadili Lugudde okubeera omuvubuka omutetenkanya.

Back 703x422

Julie agambibwa okukozesebwa muganzi we Jamar Lugudde (ku ddyo) okunyaga aba bodaboda. Ku kkono, Ssekyewa eyatemulwa.

BYA SHAMILAH NABIDDO

ABATUUZE b’e Kiti okumpi ne Matugga ku lw’e Bombo, baludde nga beesiimisa Jamar Mudadili Lugudde okubeera omuvubuka omutetenkanya. Abataka b’omu kitundu kino, batabani baabwe, Lugudde gwe babadde bawa nga ekyokulabirako nti balina okufuba okwezimba amangu nga ye.

Bano be bamu ku baakubye engalo amakiikakiika nga bawulidde nti Lugudde, abadde yeesala ‘ffiitingi’ n’okukyusakyusa mmotoka, poliisi emuyodde ne mukazi we ku misango gy’okutemula aba bodaboda n’azibba oluvannyuma n’aziguza omugagga w’e Kiryandongo mu Bunyoro.

Poliisi erwanyisa abazigu ab’emmundu (Flying Squad) egudde ku kibondo ky’abakuba aba bodaboda ennyondo ne babatta oluvanyuma pikipiki zaabwe ne bazitunda.

Abaserikale ba Flying Squad abali ku poliisi y’e Kawempe ne Kasangati be baagudde ku bazigu bano oluvannyuma lw’okutemulwa kwa Geoffrey Ssekyewa 20, abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Kira Road okumpi ne poliisi.

Ssekyewa yasangibwa banne gye buvuddeko ng’afuuwa musaayi olw’ennyondo eyamukubwa ku mutwe, ne batemya ku poliisi eyataayiza abazigu n’ekwata Lugudde nga mu mmotoka ye Forester nnamba UAT 137Y mulimu ennyondo ejjudde omusaayi.

LUGUDDE ALONKOMA ABALALA:

Mbega wa poliisi e Kawempe eyagaanyi okumwatuukiriza amannya yagambye nti bwe baakutte Lugudde, yalonkomye banne babiri okuli Michael Ssemuju naye avuga bodaboda ku siteegi y’omu Ndeeba mu Kampala ne Alex Mungoma ng’ono ye ‘kakensa’ mu kukuba aba bodaboda ennyondo.

Ssemuju yasangiddwa avuga pikipiki nnamba UEH 988 emu ku zibadde zinoonyezebwa nga zabbibwa ku bannyinizo nga babasse n’ennyondo era nga yabadde agisomosa kugitwala Kiryandongo.

Mbega wa poliisi yagasseeko nti Mungoma yabakakasizza nti okutta aba bodaboda abadde akolera ku biragiro bya Lugudde.

 mmotoka ya ugudde Emmotoka ya Lugudde.

 

“Bonsatule twabakunyizza ne bategeeza nti aba bodaboda be baakatta bawera 60 mu Kampala n’emiriraano nga pikipiki babadde bazitunda Kiryandongo wakati wa 2,500,000/- ne 3,000,000/-,” mbega bwe yagambye n’agattako nti e Kiryandongo baggyeeyo pikipiki mukaaga kyokka n’agaana okwatula amannya g’omugagga ono akyekukumye nti kijja kugootaanya okunoonyereza n’okukwata abalala abali mu kibondo.

MUKA LUGUDDE Y’ANONA ABA BODABODA

Mbega wa poliisi yagambye nti baawaliriziddwa okuzinda amaka ga Lugudde e Kiti-Matugga ne bakwata muganzi we, Julie oluvannyuma lw’okumulonkoma nti y’abadde asinga okutumwa ku siteegi n’apatana aba bodaboda okumutwala mu bifo bba n’ababaaya be gye babatemulira.

Mu nju ye gy’abadde apangisa, nti baasanzeemu emifaliso 20 gye baaboye nga bagiteebereza okubeera nga nagyo gyabbibwa.

Lugudde oluvannyuma lwabuli omu okumulumirizza nti ye munene waabwe abakozesa, poliisi yalumbye amaka g’abadde apangisa mu Kiti ng’ogenda e Matugga gy’apangisa emitwalo 50 eyasangiddwa emifaliso egipangiddwa mu kisenge ekimu.

Kigambibwa nti Lugudde bwe yalabye ku Julie ku poliisi, yasabye poliisi emukwate bulungi kubanga ali lubuto lwe era oluvannyuma yamusiibudde nti, “Julie, kiyiise naye nkwegayiridde toggyaamu olubuto lwange wadde nze ng’enda Luzira.”

Omusango gwa Lugudde ne banne guli fayiro nnamba CRB 46/2016 kyokka mbega yagambye nti abadde alina n’emisango emirala egyekuusa ku butemu ku poliisi ya Kira Road, Kampalamukadde, Kawempe ne Kasangati nga gino agizzizza mu bbanga lya myaka ebiri egiyise.

Mbega wa poliisi yagambye nti Lugudde abadde ateebwa ku bukalu kyokka ku mulundi guno fayiro y’omusango guno olunaggwa bagenda kumutwala mu kkooti e Kasangati avunaanibwe okubba n’okutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Doreen Kabareebe yeeyubudde.

Kabareebe yeeyubudde. avudde mu by’okukunama kati azze mu bya kuyamba na kuddukirira abantu abatalina mwasirizi....

Naj1 220x290

Avuddeyo okuvuganya Ssemujju Nganda...

Avuddeyo okuvuganya Ssemujju Nganda agabudde Bishop Luwalira ekijjulo

Kit3 220x290

ISO efunye obujulizi ku baayokezza...

ISO efunye obujulizi ku baayokezza abayizi

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...