TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Yiino ddiiru eyatuusizza Nakiwala Kiyingi ku bwaminisita

Yiino ddiiru eyatuusizza Nakiwala Kiyingi ku bwaminisita

By Ahmed Mukiibi

Added 8th June 2016

DDIIRU eyatuusizza Pulezidenti Museveni okulonda Florence Nakiwala Kiyingi ku bwaminisita, yabaddemu ebikonge mu DP n’Eklezia.

Gabanya 703x422

Omu ku bawagizi ba Nakiwala ng'amuyozaayoza okulya obwaminisita w'abavubuka

DDIIRU eyatuusizza Pulezidenti Museveni okulonda Florence Nakiwala Kiyingi ku bwaminisita, yabaddemu ebikonge mu DP n’Eklezia.

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao yategeezezza eggulo nti ye, ne banne mu DP babadde bakimanyiiko nti Museveni ali mu nteeseganya ne Florence Nakiwala Kiyingi.

“ Nkimanyiiko nti Pulezidenti yatuukirira Eklezia, n’oluvannyuma Eklezia n’etuukirira Nakiwala, naffe mu DP ne tukimanyaako”, Mao bwe yategeezezza Bannamawulire ku kitebe kya DP mu Kampala.

Ensonda zaategeezezza Bukedde nti amangu ddala nga Nakiwala yaakawangulwa ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala, yatuukirirwa abamu ku bakungu mu NRM okumugumya era omu ku bbo kwe kumutegeeza nti wadde wa DP naye mu bitabo by’omukulu (Pulezidenti) amumanyi ng’omukazi omukozi.

Yamubuuza oba bw’aba aweereddwa ekifo ky’Obwaminisita asobola okuweereza era Nakiwala n’ayanukula nti yeetaaga okumala okwebuuza ku bakamaabe mu kibiina ne mu Eklezia.

Kigambibwa nti Nakiwala yafuna ekinyegenyege, ekirowoozo n’akyongeramu amaanyi era Eklezia egenda okusemba erinnya lye nga yamala dda okuyita mu bannaddiini ab’ensonga okubategeeza nti bwe wabaawo okwebuuza kwonna ku nsonga y’okuweereza mu kifo kya Minisita, mwetegefu okuweereza.

Bannakibiina kya DP be yeebuuzaako baali baalubatu nga mwe muli ne Norbert Mao ne Mathias Nsubuga kyokka wadde bonna tebaamusemba kutwala kifo yabategeeza nti kye balafuubanira okuyingira obukulembeze kusobola kuweereza ggwanga mu ngeri esinga obulungi, n’olwekyo omukisa bwe guba guzze oguweereza abantu tewali nsonga lwaki tagezaako.

Yawa eby’okulabirako ebya Bammemba ba DP abazze baweereza mu gavumenti okuli: Dr. Paul Kawanga Ssemogerere, John Ssebaana Kizito, Maria Lubega Mutagamba, n’abagenzi; Evaristo Nyanzi, ne Robert Kitariko.

Baagezaako okumutegeeza nti abamu ku b’ayogerako baayingira gavumenti ng’ekyali ya kintabuli kyokka n’abannyonnyola nti n’omuntu awangulidde ku kkaadi ya DP bw’ayingira Palamenti aba aweerereza wansi wa gavumenti yeemu.

Nakiwala yasooka kukola mu UTODA oluvannyuma n’aweebwa Obwaminisita e Mmengo kyokka bw’atazzibwa mu kabineti ya May 2013, kwe kuyingira ebyobufuzi.

Abadde ku lukiiko lwa Eklezia oluddukanya eby’obulambuzi era kigambibwa nti yasembeddwa abamu ku bakulu mu Ssaza ekkulu erya Kampala.

Ye mukyala w’omubaka Deogratius Kiyingi owa Bukomansimbi South era ye ne bba babadde wakati mu nzirukanya y’ekibiina kya DP ne mu nkambi ya Amama Mbabazi mu kalulu akawedde.

Ate mu kulonda Betty Amongi, kigambibwa nti ddiiru yabaddemu bba Jimmy Akena era gwe baali basoose okulowoozaako okuwa ekifo kyokka n’awabulwa nti bw’akikkiriza agenda kuba yeegobye yekka ku kifo kya Pulezidenti wa UPC ekiriko embiranye.

Baamugattirako nti ekyo kiba kiwadde ekiwayi kya Olara Otunnu omukisa okuddamu okwegazaanyiza ku Uganda House awatali abakuba ku mukono.

Amongi naye ng’omuntu ayogerwako ng’eyayiggira ennyo Museveni akalulu mu bukiikakkono era ne mu kulonda omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah, yayawukanye n’abooludda oluvuganya gavumenti abaabadde bawagira Mohammed Nsereko n’asemba Oluanyah.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima