TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kabineeti: Disitulikiti eziviiriddemu awo n’abakuba obulatti

Kabineeti: Disitulikiti eziviiriddemu awo n’abakuba obulatti

By Kizito Musoke

Added 12th June 2016

NGA disitulikiti ezimu zikyajaganya okufuna bamanisita, waliwo ezaabadde ne baminisita kyokka nga kabineti empya yazirese mu bbanga.

Sseninde4703422 703x422

Rosemary Ssenninde eyalondeddwa ku bwaminisita w'eggwanga ow'ebyanjigiriza

NGA disitulikiti ezimu zikyajaganya okufuna bamanisita, waliwo ezaabadde ne baminisita kyokka nga kabineti empya yazirese mu bbanga.

KABARORE:

Eno ye yanywedde mu ndala akendo oluvannyuma lw’okuvaamu baminisita basatu, ng’ababiri bajjuvu.

Baafunye Adolf Mwesige, owebyokwerinda n’abaazirwanako. Baafunye William Byaruhanga, nga yaweereddwa ekya Ssaabawolereza wa Gavumenti ne Peace Mutuuzo Madame eyafuuliddwa minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu n’obuwangwa.

Mutuuzo yavuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa palamenti kyokka n’awangulwa.

KIBAALE:

Balina Matia Kasaija ow’ebyensimbi, Kasiriivu Atwooki, eyalondeddwa ku bwaminisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola ebyenfuna ne Adrian Tibaleka ow’abakadde n’abaliko obulemu.

RUKUNGIRI:

Yaviiriddemu awo, oluvannyuma lw’okusuula Jim Muhwezi abadde minisita avunaanyizibwa ku byamawulire n’okuluhhamya eggwanga. Muhwezi yawangulwa Fred Turyamuhweza ku mubaka wa Rujumbura.

GOMBA: Baalekeddwa ttale, oluvannyuma lwa minisita omu gwe babadde naye, Rosemary Najjemba Muyinda obutaddamu kulondebwa.

KATAKWI:

Nabo baaviiriddemu awo anti Jesca Alupo abadde minisita w’ebyenjigiriza teyazzeemu kulondebwa. Alupo yawangulwa ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti ye Katakwi.

KIRUHURA: Omuva Pulezidenti Museveni ku mulundi guno tebaafunye. Minisita John Nasasira abadde minisita w’ebyempuliziganya, kyokka nga mu kulonda okwakaggwa teyakwetabaamu era yalangirira nti annyuse ebyobufuzi.

Kyokka ekyenjawulo ku Kibaale, okutandika ne July wa 2016 egenda kukutulwamu disitulikiti ssatu ez’enjawulo Kibaale awagenda okusigala Kasaija, disitulikiti y’e Kakumiro awagenda okubeera Kasiriivu ne disitulikiti ye Kagadi awagenda okusigala Tibaleka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...