TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssematimba alemeddeko ku bya kkooti okumuggya mu palamenti: 'Ng'enda kujulira'

Ssematimba alemeddeko ku bya kkooti okumuggya mu palamenti: 'Ng'enda kujulira'

By Kizito Musoke

Added 12th June 2016

AYOGERA Oluzungu olulungi naye ebiwandiiko by’obuyigirize byevedde! Yakulirako CBS oluvannyuma n’atandika Super FM kyokka empapula z’obuyigirize kkooti ezisambazze.

Goba1 703x422

Ssematimba lwe yalayira ku bubaka bwa palamenti.

AYOGERA Oluzungu olulungi naye ebiwandiiko by’obuyigirize byevedde! Yakulirako CBS oluvannyuma n’atandika Super FM kyokka empapula z’obuyigirize kkooti ezisambazze.

Wabula Peter Ssematimba tannakkiriza era ategeezezza nti agenda kujulira ng’awakanya eby’okumusingisa omusango gw’obutaba na bisaanyizo bya buyigirize byetaagisa.

Yannyonnyodde nti ku Mmande akeera mu kkooti ejulirwamu, era nga yamaze dda okulagira balooya be okutwalayo okujulira kwe.

Yagasseeko nti balooya be bagenda kuwandiikira Clerk wa palamenti, Jane Kibirige nga bamutegeeza nga bwe yajulidde, asobole obutaggyibwa mu Palamenti mu kiseera kino nga kkooti bwe yabadde eragidde, okutuusa nga kkooti ejulirwamu esazeewo eky’enkomeredde.

Yagambye nti ensobi eyakolebwa akakiiko ak’ebyenjigiriza ebya waggulu (National Council for Higher Education - NCHE) esobola okutereezebwa, era n’agumya abawagizi be nti wakyaliyo essuubi.

Ku mulundi guno, emisango gy’ebyokulonda bwe giva mu kkooti enkulu, omuntu asobola okugyongerayo mu kkooti ejulirwamu wabula awo tegisukkawo.

ENGERI SEMATIMBA GY’AZZE ATOBA N’EBITABO

Ssematimba azze alwana entalo z’ebiwandiiko by’obuyigirize okuviira ddala mu 2010 bwe yali yeesimbyewo ku bwa Loodimeeya ne Erias Lukwago.

Lukwago yali ayagala Ssematimba aleme kuwandiisibwa, wabula ebbaluwa gye yali afunye okuva mu kakiiko ak’ebyenjigiriza ebya waggulu (NCHE) gye yakozesa ku mulundi ogwo era n’awandiisibwa n’avuganya.

Enkambi ya Lukwago yali erinze awangule emutwale mu kkooti kyokka bwe baamuwangula, ebyo tebaabyongerayo.

Obuyigirize bwa Ssematimba obutankanibwa y’ebbaluwa ya S4 eya East African Certifi cate of Education gye yafunira mu King’s College Budo mu 1978 nga yayitira mu ddaala erisooka.

Mu 1986 Ssematimba yayingira ettendekero mu Amerika erimanyiddwa nga Azusa Pacifi c University ng’asoma essomo eryekuusa ku busawo erya Pre - Medicine.

sekigozi ngasituddwa abawagizi be nga baakava mu kkooti Ssekigozi ng’asituddwa abawagizi be nga baakava mu kkooti.

 

Essomo lyali lya myaka 4 kyokka yasomako emyaka 2 n’avaayo mu 1988 ng’ebisale bimulemye.

Mu Azusa, Sematimba yafunayo bbaluwa ekakasa nti yali asomeddeyoko naye n’atamalaako (transcript) ng’eno agamba nti gye yakozesa okugenda mu ttendekero eddala eriyitibwa Pacifi c Coast Technical Institute n’afuna Diploma mu Electronic and Computer Technology nga September 16, 1988.

Eno y’ebbaluwa eriko enkalu. Sematimba agamba nti ettendekero lino lyaggalwawo mu 1989 nga waakayita emyezi mitono ng’amalirizza okutikkirwa.

Akakiiko k’ebyenjigiriza ebya waggulu kaakoma ku kuzuula oba ettendekero lyali libaddeyo kyokka tekaazuula oba Sematimba yasomerayo, ebbanga lye yamala ng’asoma n’obuzito bw’ebiwandiiko bye yafuna, ate ng’awo we wali ekinyusi.

Ebiwandiiko ebirala Sematimba bye yagasseeko okuli bye yaggya mu Amerika mu ttendekero eriyitibwa International College of Excellence nabyo biriko akabuuza.

Ebbaluwa gye yaggyayo eraga nti yafuna Degree of advanced Diploma in Theology nga March 1, 2005 kyokka ng’ettendekero eryo terikakasibwanga kakiiko ka byanjigiriza mu Amerika era n’amasomo agasomesebwayo tegatongozebwanga.

Awo omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe we yasinzidde okusazaamu Sematimba n’alangirira nti ekifo kya Busiro South kati kikalu kubanga obuyigirize bwa Sematimba tebutuukana na bisaanyizo bya S6 ebyogerwako mu tteeka ku mubaka wa Palamenti.

Yalagidde akakiiko k’ebyenjigiriza ebya waggulu (NCHE) kaliyirire Steven Ssekigozi eyawaaba kubanga kaawubisa akakiiko k’ebyokulonda ne kasunsula Sematimba nga taweza bisaanyizo.

Abazze bafi irwa ebifo bya Palamenti olw’obuyigirize kuliko Haji Muyanja Mbabaali, Sauda Mugerwa Namaggwa, Iddi Lubyayi Kisiki n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo