TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bamukutte n’omwana ng’agenda kumusaddaaka: Baamuwadde emitwalo 50

Bamukutte n’omwana ng’agenda kumusaddaaka: Baamuwadde emitwalo 50

By Ponsiano Nsimbi

Added 12th June 2016

OMUSAJJA gwe baakutte n’omwana mu kitoogo awuniikirizza abantu bw’attottodde engeri gye baamupangisizza ku mitwalo 50 atwale omutwe gw’omwana.

Wada 703x422

Lukwago ng’aggyibwa ku poliisi y'e Nkokonjeru okutwalibwa e Nateete n’ekiveera omwabadde ejjambiya. Mu katono ye mwana Namiiro eyasimattuse okusaddaakibwa

OMUSAJJA gwe baakutte n’omwana mu kitoogo awuniikirizza abantu bw’attottodde engeri gye baamupangisizza ku mitwalo 50 atwale omutwe gw’omwana.

Ibrahim Lukwago 22, omutuuze w’e Nsambya - Kiganda zooni ng’akola bwakondakita mu takisi ku luguudo lw’e Ntebe yakwatiddwa abaserikale ba poliisi ennawunyi amatumbibudde ng’ali n’omwana Fazila Namiiro 11, gwe yabadde awambye mu maka ga bazadde be e Mutundwe mu Kabaawo Zooni.

Lukwago bwe yalabye emmotoka ya poliisi ennawunyi, kwe kwesogga ekitoogo kyokka abaserikale baabadde bamulabye ne bayambibwako abantu baabulijjo okusaggula ekitoogo ky’e Kyengera okukkakkana nga bamukutte ne banunula Namiiro eyabadde agenda okusaddaakibwa.

AYOGEDDE ABAAMUPANGISIZZA ABALEETERE OMUTWE GW’OMWANA

Lukwago yagambye nti: Bandeetedde ddiiru ya kufuna mutwe gwa mwana era omugagga agwagala yabadde agenda kusasula obukadde 3 kyokka nga nze ng’enda kufunako emitwalo 50.

 alumu eyakwatiddwa ngaggyibwa ku poliisi ye kokonjeru Nalumu eyakwatiddwa ng’aggyibwa ku poliisi y’e Nkokonjeru

 

Yasoose kugaana kwogera be yakolaganye nabo mu ddiiru eno kyokka bwe baamukunyizza ennyo kwe kulonkoma Sharifah Nalumu amanyiddwa nga “Maama Kapi”. Kyazuuliddwa nga Nalumu amanyi famire mwe baabadde babbye omwana.

Sarah Ndagire ne bba Adam Mukasa abazaala omwana Namiiro baagambye nti Nalumu muliraanwa waabwe era kyabeewuunyisizza ng’omusajja eyakwatiddwa n’omwana ayogedde linnya lya Nalumu.

Lukwago yagambye nti Nalumu ye yamuwadde ne pulaani efuna omwana ono era yagenze n’engoye mu kaveera n’ayita omwana Namiiro kubanga n’erinnya baabadde balimugambye.

Yalimbye omwana nti nnyina y’amutumizza agende yeegeze mu ngatto akime n’emmere ya batoobe era omwana n’agoberera; olwo n’amwetoolooza ebitundu ebiriranyeewo okutuusa obudde lwe bwazibye.

Ekiveera kye yabadde nakyo mwabaddemu engoye n’ejjambiya nga kiteeberezebwa nti ejjambiya ye yabadde egenda okukozesebwa okusalako omwana omutwe ate engoye ze yabadde agenda okwambala ng’amaze okusalako omwana omutwe okwewala okutambulira mu ngoye eziriko omusaayi.

Mwabaddemu n’obugoye bw’abaana bwe yakozesezza okumatiza Namiiro nti nnyina y’abumugulidde.

Namiiro yanunuddwa mu kiro ky’Olwokuna era ku makya g’Olwokutaano poliisi y’e Nkokonjeru – Kyengera yakulembeddwaamu Lukwago n’abatuusa ku Nalumu n’akwatibwa n’aggalirwa ku poliisi y’e Nateete ku musango gw’okugezaako okutta omwana oguli ku fayiro SD:68/08/06/2016.

 

Wabula Nalumu yagambye nti talina ky’amanyi ku ddiiru Lukwago gy’ayogerako n’ategeeza nti bamuwaayiriza olw’ebigendererwa by’atamanyi.

Atwala poliisi y’e Nateete, Joseph Nsabimana yagambye nti bakyakung’aanya obujulizi kwe banaasinziira okweyongerayo n’omusango guno.

Bazadde ba Namiiro omuyizi wa P.4 mu Kitebi Primary School baasabye poliisi ekole ekisoboka okukakasa nti abaabadde mu ddiiru eno bonna bakangavvulwa kiyambe okukendeeza ebikolwa by’okusaddaaka abaana.

Ku nkomerero y’omwezi oguwedde, omuvubuka Herbert Were 21, baamukutte n’omutwe gwa mutoowe Joel Ogema 8, ng’agutadde mu kisawo ng’anoonya abantu abeeyise aba Illuminati abaagumutumye nti bamuwe obugagga.

Were nga kati ali ku limanda omwana yamusalirako omutwe ku mugga gw’e Namasere mu Busia n’ajja nagwo e Kampala n’asula e Kajjansi ewa mukwano gwe ng’ayagala okumulagirira ku bbaala ya Maneja w’abayimbi, Jeff Kiwanuka eya Dejavu e Kabalagala we baali bamugambye okuguleeta.

Jeff yakwatibwa era oluvannyuma ne bakwata n’omuvubuka Moses Katende nga kigambibwa nti yeeyita owa Illuminati n’atuma Were omutwe gw’omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja