TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow’emyaka 7 yeesimattudde ku yamuwambye n’atemya ku poliisi

Ow’emyaka 7 yeesimattudde ku yamuwambye n’atemya ku poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

Poliisi e Nyenga ekutte omusajja agambibwa okuwamba omwana omuwala n’ebigendererwa ebitannategeerekeka.

Dunga 703x422

Omwana Mbabazi. Ku ddyo ye Nsubuga gwe yeesimattuddeko

Poliisi e Nyenga ekutte omusajja agambibwa okuwamba omwana omuwala n’ebigendererwa ebitannategeerekeka.

John Nsubuga, 30, kigambibwa nti yawamba omwana Patience Aine Mbabazi, 7, eyali atunda bbogoya ku luguudo, akawungeezi wiiki ewedde mu kabuga k’e Bukaya.

Nsubuga okukwatibwa kyaddiridde omwana okutoloka awaka we e Ssunga mu ggombolola y’e Nyenga - Buikwe n’atemya ku poliisi.

Omwana yannyonnyodde poliisi nti Nsubuga yasooka kumusanga ku mulimu n’amugulako bbogoya kyokka mu kumusasula n’amuwa kapapula ka mitwalo 5 aggyeeko 500/.

Nti bwe yamutegeeza nti talina ssente za bbalansi zimala, kwe kusaba Nsubuga bagende ku dduuka eryali okumpi bamuvungisirizeemu.

Yamuweeka ku ggaali ye nti kyokka bwe baatuuka we baalina okufuna ssente yayitawo buyisi engeri gye kaali kaserengeto.

Omwana yagasseeko nti oluvannyuma ate yamutwala n’amugulira engatto nga’amutegeeza nti ye yali kitaawe nga yali amutwala Kampala.

Poliisi bwe yazinzeeko amaka ga Nsubuga, awaka yasanzeeyo abawala abato babiri; Zipra Namugaya(17) ne Moreen Nambooze (19) be yali yafuula abakyala.

Abawala baategeezezza nga Nsubuga bwe yabaggya e Mbale ne Busia ng’abalimbye okubatwala e Kampala abafunire emirimu.

Nsubuga mu kwewozaako yategeezezza nti omwana yabadde tamubbye kyokka nga yamulabikidde ng’owuwe gwe yazaala edda.

Atwala poliisi y’e Nyenga , Asp Micheal Ndidde yategeezezza nga Nsubuga bwe yagguddwaako emisango ebiri okuli okukabassanya abaana abato n’okuwamba omuntu.

Kyategeerekese nti Nsubuga alina omukyala e Gayaza n’abaana basatu okuva mu bakyala ab’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...